Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Wofiisi yakulira oludda oluvuganya bagyongere ssente

Bya Prossy Kisakye Abadde akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Betty Aol Ocan akubye omulanga nti wofiisi eno, eyongerwe ku ssent okusobola okukola obulungi emirimu gyayo. Ocan nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti ye Gulu, agambye nti wofiisi eno nkulu nnyo mu kunyweza enfuga eya democrasiya mu gwanga, aye erowozebwako kitono. Ono yabeera akulira gavumenti eyekisikirize, ewabula gavumenti…

Read More

Lukwago agenda kulayira olwaleero

Bya Prosy Kisakye Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago, olwaleero agenda kulayira neba kansala bwebagenda okutuula ku lukiiko lwekitongle kya Kampala Capital City Authority. Lukwago nga yavuganya ku kaada yekibiina kya FDC yawangula okulonda okuwedde, bweyamegga abantu abenjawulo abaali mu wokaanoi luno. Lukwago yafuna obululu emitwalo 19 mu 4,592 ate Nabillah Nagayi Sempala owa NUP nafuna obululu emitwalo…

Read More

Oulanyaha awandikidde abe’bibiina

Bya Damalie Mukhaye Omukubiriza wa palamenti omugya Jacob Oulanya ategezezza nga bwamaze okuwandikira ebibiina byobufuzi byonna, okusindika amannya gababaka baabwe abalina okutuula ku kakiiko akasunsula abalondeddwa ku bifo, aka appointments committee. Kino kitekeddwa okukolebwa ng aba minisita mu gavumenti empya tebanalondebwa. Okusinziira ku Oulanya, wetwogerera pulezidenti we’gwanga waali wabula talina lukiiko lwaba minisita. Kati amangu ddala ng’omukulembeze we’gwanga amaze…

Read More

Abawagizi ba NUP 17 bayimbuddwa ku kakalu

Bya Ruth Anderah, Abawagizi békibiina kya NUP 17 kwabo 36 abali mu kkomera leero bawereddwa okweyimirirwa kkooti ya maggye e Makindye. Bano balagiddwa okusasula akakalu ka kkooti ka bukadde 2 obwensimbi ezitali za buliwo ate ababeyimiridde obukadde 50. Balagiddwa okweyanjulanga mu kkooti buli luvanyuma lwa nnaku 14 ate bagaaniddwa okutambula okusuka kampala. Wabula bannabwe 18 okuli kuli Eddy Mutwe…

Read More

DP erambise Oulanya byalina okukola nga Sipiika

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kyé byóbufuzi ekya Democratic Party kisabye sipiika wa palamenti omugya Jacob Oulanya nómumyukawe okukola nóbukugu bwebaba nga bakutukiriza ekibasuubirwamu. Bano basabiddwa nókuleetawo okukwatagana mu babaka basobole okuwereza nga tebeekutuddemu. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, ssenkagale wa DP Norbert Mao, agambye nti sipiika alina okuba ku mulamwa, nga atukikako ate nga…

Read More

Oulanyaha alambudde abakulira bitongole bya palamenti

Bya Damalie Mukhaye Sipiika wa palamenti omugya, omubaka we Omoro Jacob Oulanya olwaleero atandise okulambula zzi wofiisi ezabakulira ebitongole bya palamenti. Ono yalondeddwa olunnaku lwe’ggulo ku kifo kya sipiika wa palamenti empya ey’omulundi ogwe 11. Kati okukyala kwe muzi wofiisi zino kubadde kwakibwatukira nga tewali abadde amusubira ku palamenti mu kiseera kino. Oulanya atandikidde mu wofiisi ya kalaani wa…

Read More

Aba FDC bagenda kuyita Kadaga abegatteko

Bya Juliet Nalwooga, Damalie Mukhaye ne Ritah Kemigisa Banakyewa batenderezza abadde sipiika mu palamenti eyomulundi ogwe 10, Rebecca Kadaga olwemirimu gyakoledde egwanga ate basabye ne sipiika omugya okukola ennyo okulwanyisa abakiise abebulankanya nokwosa. Olunnaku lweggulo owa NRM Jacob Oulanyah bamulonze kubwa sipiika mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11, ngono agenda kumyukibwa Anita Among. Oulanyah yafunye obululu 310 namegga…

Read More

Oulanya yawangudde obwa Sipiika bwa palamenti eyómulungi ogwe 11

Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya Omubaka wa Omoro county mu palamenti Jacob Oulanya yawangudde obwa sipiika bwa palamenti mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11. Ono afunye obululu 310, ate munne omubaka omukyala wa kamuli Rebecca Kadaga abadde muntebe eno afunye obululu 197 ate omubaka wa Kira municipaali Ssemujju Nganda afunye obululu 15. Okulonda kukubiriziddwa ssabalamuzi weggwangaAlfonso Owinyi…

Read More

Okulonda kwa sipiika kutandise

Bya Ritah Kemigisa Okulonda kwa sipiika wa palamenti empya ey’omulundi ogwe 11, kutandise era kugenda mu maaso. Abantu 3 bebavuddeyo okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti empya eyomulundi ogwe 11. Kuno kuliko Rebecca Kadaga, Ssemuju Nganda ne Jacob Oulanya. Bino biri mu lutuula olusokedde ddala, olugenda mu maaso ku kisaawe e Kololo, nga Ssabalamuzi we’gwanga Alfonso Owinyi Dollo,…

Read More

Okubala ebisolo kutandise olwaleero

Bya Ivan Ssenabulya Ekitongole kyebibalo mu gwanga, Uganda Bureau of Statistics olwaleero bagenda kutandika okubala amagana, okwetoloola egwanga lyonna. Kati aba UBOS bakolaganye ne minisitule yebyobulimi, obuvubi nobulunzi mu ntekateeka eno, okusobola okukakasa omuwendo gwabyo omutuufu okubitegekera nokubiddukanya obulungi. Okusinziira ku Edgar Mbahamiza, akulira ebyamawulire mu UBOS agambye nti okubala kwakukegenda mu maaso kukomekerezebwe nga 4 omwezi ogwomukaaga. Ku…

Read More