Waliwo munnamateeka agobeddwa mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’enguudo, lwakugezaako kulagirira omujulizi engeri gyebaddamu ebibuuzo.
Allan Mulindwa y’agobeddwa, akulira akakiiko kano omulamuzi Catherine Bamugemereire, oluvanyuma lw’okumulabula nga tawulira.
Mulindwa abadde agenze kuwolereza Richard Ssempagala, eyalagiddwa okukeberebwa endaga butonde.
Wabula oluvanyuma Ssempagala ategeezezza akakiiko nga bweyafuna ettaka e Nakigalala ewayitta oluguudo lwa Entebbe express Highway okuva ku…
Abakozi abatali basomesa mu matendekero agawaggulu, okuli Makerere, Mbabara ne MUBs e Nakawa bagaanye okudda ku mirimu okutuusa nga gavumenti emaze okubongeza emisaala.
Mu lukiiko wakati wa gavumenti n’abakulira abakozi bano, gavumenti yabadde esuubizza okwongera abakozi bano omusaala mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja,kyokka abakozi bwebaatudde bonna olunaku olwaleero bino babigaanye.
Akulira abakozi bano Jackson Betihama agambye nti abakozi…
Poliisi ye Kawaala eggalidde omuwala eyasudde omwana ku mizigo n’agenda okwetunda.
Sharon Najjemba ow’e Kawaala Zooni 2 yakwatiddwa poliisi ye Kawaala oluvannyuma lwa baliraanwa be okugenda ku poliisi n’omwana ono gwe bagambye nti yamusudde obudde bukya.
Najjemba okukwatibwa kiddiridde omu ku batuuze be Kawaala okumusanga mu kifo ekimu mu Kampala omwetundira bamalaaya gy’abadde yeekukumye nga kigambibwa nti…
Poliisi ekozesezza eryaanyi okulemesa loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago okwetaba mu musomo ogubadde gutegekeddwa mu ttendekero e Makerere.
Lukwagho bamuggalidde ku geeti ye Makerere ku biragiro by’atwala poliisi ye Wandegeya Brian Ampirwe.
Mu kusooka omumyuka w’omumyuka wa ssenkulu akola ku by’ensimbi Barnabus Nawangwe yawandiikidde abategese omusomo guno ng’abasaba bagusazeemu ku nsonga ezitategerekese.
Mu ngeri yeemu era poliisi ye…
Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti Dr Kiiza Besigye akyaleebya Gen Mugisha Muntu mu mpaka z’ani anakwata bendera y’ekibiina
Okunonyereza kuno okukoleddwa aba Research world International eraze nti Besigye akulembedde Muntu n’ebitundu 86% ate nga yye Muntu alina ebitundu 14%
Akulira ekibiina kino Dr Patrick Wakida agamba nti abantua basing beebabuziizza bakkiriza nti Besigye y’alina obuvumu obwanganga Museveni…
File Photo: Abakurila amagye ge Nigeria
Omukulembeze w’eggwanga lya Nigeria Muhammadu Buhari awadde abaduumizi b’amagye ge emyezi esatu gyokka okuba nga bamaze okufufugaza abakambwe ba Boko Haram.
Nsalesale ono amuwadde alayiz abaduumizi bano abapya beyalonda omwezi oguwedde.
Abakadde Bukhari yabagoba bweyategeeza nti emirimu gyali gibalemye.
File Photo:Ekipande kya Mbabazi ekya kampeyini
Nga akalulu ka 2016 kakubye kkoodi, ab’ekitongole kya KCCA bataddewo amateeka amakakali ku by’okutimba ebipande.
Akulira ekitongole kino Jennifer Musisi agamba teri kukkiriza Muntu yenna kutimba kipande nga tafunye lukusa nga bangi bajamawaza ekibuga.
Musisi agamba balabudde buli gwekikwatako nga okusooka baalabudde aba NRM abantu baabwe abasinga okumansa ebipande mu kibuga.
File Photo: Olugudo lwa Entebbe express highway
Akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo kalagidde abantu basatu abaliyirirwa mu kuzimba oluguudo lwa Entebeb Express Highway oluyita mu ttaka lyabwe bakeberebwe endaga butonde mu nkola ya DNA.
Muhammed Kamoga, Hussain Mugumya ne Richard Ssempagala bonna abatuuze be Nakigalala bategezezza akakiiko nti tebajjukira linya lya jajjabwe sso nga balina…
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumanti ogwa Democratic Alliance gukkiriziganyizza ku ngeri gyebagenda okulonda agenda okubakwatira bendera mu kalulu ka 2016.
Ssentebe w’omukago guno Prof Fredrick Ssempebwa agamba essaawa yonna abakulembera omukago guno bakutegeeza ebibiina ne bannayuganda ku kyebasazewo.
Ssempebwa agamba enteekateeka eno yakuteekawo obwasseruganda mu bibiina ebivuganya gavumenti nga okulonda kukubye kkoodi.
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
Teri Muntu agenda kwezimbawo ku kifo kyonna mu kulonda kw’omaka ogujja agenda kukkirizibwa kukozesa kabonero kake nga omuntu.
Akola nga Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Biribonwa agamba baakakasizza obubonero 10 obugenda okukozesebwa abagenda okwesimbawo nga abatalina bibiina.
Obumu ku bubonero obukakasiddwa kuliko eggaali, ensuwa, essaawa, entebe, ekikopo lediyo n’obulala.