File Photo: Abazinya mwoto nga bataasa abantu omuliro
Mu ggwanga lya China abantu 44 beebakakasiddwa okuba nti bebakafa n’abasoba mu 500 babuuse n’ebisago ebyamanyi oluvanyuma lw’omuliro ogukutte ekkolero mu kibuga Tianjin.
Ku bafudde kubaddeko abazinya mooto 12 nga bano babadde bagezaako okutaasa abalala.
Omukulembeze w’eggwanga Xi Jinping asabye bananasi bonna okukola ekisoboka okutaasa banaabwe.
File Photo: Omuvuuzi we motooka ze mpaka Lwakataka
Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka ne banne abalala 2 badda leero mu kkooti ku musango gw’okutta abantu 9 mu disitulikiti ye Rakai.
Lwakataka, Fangesi Vincent amanyiddwa enyo nga Kanyama ne Emanuel Zinda basuubirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ye Masaka John Keitirima.
Okuwulira omusango guno kwatandika omwezi oguwedde…
File Photo: Mbabazi ngali ne Museveni
Abawagizi b’ekibiina kya FDC e Karamoja balabudde abakulira ekibiina kyabwe obutesembereza eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ne Gen. David Sejusa.
Abawagizi bano okulabula kuno bakukoze baaniriza eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye mu nsisinkano gy’abaddemu n’abakungu b’ekibiina mu kitundu kino abasoba mu 70.
Omukubiriza w’abavubuka ba FDC e Nepak John Ilukol…
File Photo: Aboludda oluvuganya in Uganda
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti benyamidde olw’ebyavudde mu palamenti olunaku lwajjo
Palamenti olunaku lwajjo yayisizza enongosereza mu ssemateeka era mu ngeri yeemu ne alipoota eyabadde akoleddwa ku nongosereza zino n’ekasukibwa
Omwogezi w’omukago guno omukulu Wafula Oguttu agamba nti kikaabya amaziga okulaba nti n’abavuganya benyini balemereddwa okugoberera okusalawo okwakoleddwa nebabuukira…
File Photo: Emeere nga etekedwa ku meeza
Waliwo ekibinja ky’abafumbi b’emmere abakubye ekibiina kya NRM mu mbuga z’amateeka lwabutasasulwa.
Bano babanja obukadde 61 olw’okubawa emmere nebabatabasasula
Mu musango oguwaabiddwa mu kkooti ekola ku gy’obusuubuzi, abafumbi b’emmere bano bagamba nti mu mwaka gwa 2014 mu December, baweebwa emirimu okugabula bannakibiina kya NRM 3000 abaali bakungaanidde e Kololo.
Bano beebamu bagamba…
File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali
Poliisi eriko omusajja gw’ekutte lwakutta mwana we.
Omusajja ono atabudde asidi mu ddagala n’aliwa omwana we ow’emyaka omusanvu era n’afa.
Omwana ono ategerekese nga Yanik Hirwa attiddwa kitaawe enzaalwa ye Rwanda ategerekese nga Masapo Maliseri.
Okunonyereza kwa poliisi kulaze ng’omwami ono abadde yayawukana ne mukyala we era ng’abadde amuleka ewaka n’agenda okukola.
Kigambibwa…
Poliisi ye Kyanamukaka mu disitulikiti ye Masaka eriko omusajja ow’emyaka lwakusobya ku muwalawe ow’emyaka 12.
Richard Ntale omutuuze ku kyalo Buyaga y’akwatiddwa oluvanyuma lw’abatuuze okutemya ku poliisi ku bigambibwa nti abaddenga agagambula muwalawe obumuli.
Ntale abadde asula mu nyumbaye yekka bukyanga mukyalawe Robinah Namugera anoba emyezi musanvu egiyise nga okukkakana ku muwalawe y’abadde akomyewo okuva e Masaka…
File photo: Ababaka ba Palimenti
Ababaka ba palamenti tebasubira oluwummula mu kiseera kino.
Amyuka sipiika wa palamenti Jacob Oulanya agamba nti yadde nga yandiyagadde nyo palamenti okugenda mu luwummula olunaku lw’enkya emirimu gikyali mingi egyetagisa okumalirizibwa.
Oulanya asabye ababaka bonna obutebulankanya baggye mu bungi nga bwegwabadde olunaku lw’eggulo nga bayisa enongosereza mu ssemateeka basobole okuteesa ku nsonga ez’enjawulo…
File Photo: Abakoozi nga bali ku gyabwe
Gavumenti yakwongera okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka okwetoloola eggwanga.
Nga ayogerera ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abavubuka olugenda mu maaso wali e Katakwi, omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ekikula ky’abantu Pius Bigirimaana ategezezza nga gavumenti kati bwetunulidde emirimu ne mu mawanga amalala.
Bigirimaana agamba baakizudde nga emirmu mingi bwegifa otula mu mawanga amalala…
File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali
Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akagudde ku kibira kye Mpanga mu disitulikiti ye Mpigi
Taxi namba UAW 975Q ebadde egenda e Bushenyi ekonaganye ne Kanta namba UAT 230Z ebadde edda e Kampala.
Abafudde babadde mu taxi ate ng’abalala 11 baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka