File Photo: Ababaka ba palimenti nga bavudde mu mbeera
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bekandazze nebafuluma palamenti nga bawakanya eky’okulonda ku nongosereza mu ssemateeka.
Kiddiridde amyuka sipiika Jacob Olanya okugaana abavuganya abakulembeddwaamu omubaka Muwanga Kivumbi okwanja alipoota gyebakoze ku nongosereza mu mateeka
Ababaka bagambye nti kino kikyaamu kubanga tebakkiririza mu nongosereza gavumenti zeyaleese okuli n’ezikwata ku kulonda.
Ababaka…
File Photo: Abantu nga balonda eluwero
Okuwanika enkalala z’abalonzi kukomekkerezeddwa.
Abamu ku bajjibwa mu nkalala beebatali bannayuganda, abaafa, abataweza myaka 18 kko n’abo abali ku nkalala omulundi ogusukka mu gumu.
Kati amannya gonna aganaaba gasongeddwaako gakuwanikibwa ku nkalala okumala ennaku 11 okwongera okwetegerezebwa olwo gasangulwe mu butongole.
Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agambye nti kino kyakutandika okukolebwa nga 14…
File Photo: Taxi ngaziri mu park
Pulezidenti Museveni ayimirizza ekya bagoba ba taxi okusasula omusolo buli mwezi.
Pulezidenti bino abirangiridde mu lukiiko n’abagoba ba taxi mu Kampala abasoba mu 2000 ng’agamba nti kuno kunyunyunta ba taxi bano.
Ssentebe w’abagoba ba taxi mu Kampala Mustapha Mayambala agambye nti pulezidenti era abawadde amagezi okusigala nga bakungaanya ensimbi zino okusobola okugulamu…
File Photo: Abantu nga bali mu kooti
Omukyala eyasuula omwana gweyali azadde mu kabuyonjo asibiddwa emyaka etaano.
Scovia Atai ow’emyaka 20 alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Joan Aciro era n’akkiriza emisango.
Atai eyali abeera ku kkanisa e Masanafu kigambibwa okuba olubuto bwerwamuluma yekweeka emabega wa kabuyonjo olwo neyezaaza omwana gweyasuula mu kabuyonjo.
Abantu abali bagenze…
File Photo: Police Nga ekuba teyagasi
Poliisi ekkakkanya obujagalalo ekubye amasasi mu bbanga ne ttiygaasi okugugumbulula abayisiraamu ababadde batandise okulwanira ku kkooti e Jjinja.
Abayisiraamu ababadde balwana beeba tabuliiki n’aba Shia era nga bino okubaawo ng’abagambibwa okubeera abayekeera ba ADF balabiseeko mu kkooti
Bano babadde bakulembeddwaamu akulira abayekeera bano Jamil Mukulu.
Bavunaanibwa misango gyekuusa ku kuttibwa kw aba maseeka…
File Photo: Kimeze ngali ne Museveni
Abakulembeze b’abanyala mu disitulikiti ye Kayunga basimbudde ekkuuli enteekateeka ya Buganda okuwandiisa abo bonna abali ku bibanja
Ssabanyala Baker Kimeze agambye nti kino kimenya mateeka era kigendereddwaamu kukamula bantu be kyataggya kukkiriza
Ekitongole kya Buganda eky’ettaka ekya Buganda Land Board kyabadde kitandise okusomesa abantu ku kalungi akali mu kwewandiisa eri abo bonna…
File Photo: Nabagereka nga li no mwana
Akakiiko akatekeddwaawo Obwakabaka bwa Buganda okukola ku kuziika omutaka Nelson Ssebugwawo kafulumiza enteekateeka.
Okusinzira ku mwogezi wa Buganda, omubiri gw’omugenzi gwakujjibwa mu ddwaliro e Mulago ku lw’okuna luno gutwalibwa mu kkanisa ya St Lukka e Nkumba gusabirwe n’oluvanyuma gutwalibwa mu maka ge.
Ku lunaku lw’okutaano omugenzi wakuddamu okusabirwa mu maka ge…
File Photo: Ababaka ba palimenti mu lutuura
Akakiiko ka palamenti akalondoola ensasanya y’omuwi w’omusolo kakunyizza abakungu okuva mu ttendekero ly’e Kyambogo ku by’okuwandiisa abayizi mungeri eyamwankwetu.
Okusinziira ku alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti eya 2014, abayizi 14,086 bayita mu kamooli okwegatta ku ttendekero lino.
Kino kyafiiriza ettendekero obukadde 532 ezaali zirina okuva mu misoso gy’okuwandiisa abayizi bano…
File Photo:Bana NRM mulukunywana
Abaagala okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya NRM batandise okuzzayo foomu z’okwesimbawo mu kamyufu wali ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo.
Abamu ku bazizzaayo empapula z’okwesimbawo kuliko amyuka ssabaminisita w’eggwanga owokubiri Moses Ali, minisita omubeezi ow’ebyensimbi nebamusiga nsimbi Gabriel Ajedra ssaako n’ayagala obwassentebe bw’ekibiina kya NRM mu bugwanjuba bw’eggwanga Odrek Rwabwogo nga ono mukoddomi wa…
File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo
Okunonyereza ku musango gwa minisita atalina mulimu gwankalakalira Abraham Byandala ku luguudo lw’e Katosi tekunaggwa.
Kkooti ewozesa abakenuzi ewadde kaliisoliiso wa gavumenti omwezi omulala gumu gwokka okumaliriza okunonyereza kuno ne banne abalala bataano abaali abakozi mu kitongole ky’ebyenguudo.
Emisango egyagulwa ku bano kuliko okukozesa bubi ofiisi zaabwe ssaako n’okufiriza gavumenti…