Gavumenti erumbiddwa olw’obutakola kimala kukuuma bannayuganda abali emitala w’amayanja.
Omubaka we Lubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi agamba nti bannayuganda bangi bavundira mu makomera ebweru naddala mu mawanga ga Buwarabu kyokka nga tewali ayamba.
Lukyamuzi agamba nti ate waliwo n’abalala abatulugunyizibwa mu mawanga gyebali era ng’abakikola beyinula nti tewali ajja kubakwata
Wabula minisita akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga…
Abantu basatu okuva mu maka gamu basirikkidde mu muliro ogukutte akasiisira mwebabadde beebase
Ekikangabwa kino kigudde ku kyaalo Katwaki , e Butebo mu disitulikiti ye Pallisa.
Abafudde kuliko Margret Kayendeke ow’emyaka 35, Doreen Mudondo ow’emyaka 10 ne Jude Oyemeti omwana ow’omwaka ogumu gwokka
Yye ssemaka Opakasi Yokayakidi ow’emyaka ana addusiddwa mu ddwaliro e kkulu e Mbale nga tasule…
Abakulembeze b’abakola emirimu egitali gyabusomesa mu matendekero ga gavumenti bakusisinkanamu ku ttendekero ly’e Makerere okulaba eky’okuzzaako oluvanyuma lw’okulangirira akeediimo.
Akeediimo kaabwe katandika ku mande ssabbiiti eno nga era kasanyalazza emirimu mu matendekero gonna .
Abakozi bano baagala obuwumbi 31 bongezebwe emisaala.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abakozi bano Jackson Betihama agamba bbo betegefu okuteesa ne gavumenti wabula…
File Photo : Ebentu nga biretedwa ku buko
Enkola y’okusasula ebintu ebitwalibwa ku buko ssiyakuwerebwa.
Kkooti ensukulumu esazewo nti tewali nsonga lwaki bawera enkola eno nga era abalamuzi ba kkooti eno 6 ku 7 nga bakulembeddwamu Bart Katureebe bakkiriziganyizza bukuyege n’ekyasooka okusalibwawo kkooti etaputa ssemateeka.
Bano bategezezza nga bwekitali kwabuwaze omugole omusajja okuwaayo ebirabo eri oludda lw’omugole omukyala.
Wabula…
File Photo: Abantu nga bali mu kooti
Kkooti enkulu e Masaka eriko omusajja ow’emyaka 32 gw’esibye emyaka 12 lwakusobya ku mwana ow’emyaka 12.
Robert Twesigye omutuuze ku kyaalo Kisinda e Rakai omwana gweyasobyaako kizibwe we.
Kkooti ekubirizibwa omulamuzi John Keitirima ekitegeddeko nti Twesigye omusango yaguzza mu mwaka gwa 2012 nga yakozesa akakisa nga maama w’omwana ono agenze kuziika.
Oludda…
File Photo:Mutabaani wa Gadaffi
Waliwo akatambi akafulumiiziddwa nga kalaga abakuumi mu kkomera nga batulugunya mutabani w’omugenzi Col Mummar Gaddafi n’abasibe abalala era nga kati kanonyerezebwaako
Akatambi kano kalaga Saadi Gaddafi ng’akaaba mu bulumi wakati mu kukubwa abakuumi obwedda abamulinnyako.
Ssabawaabi mu ggwanga lya Libya ategeezezza nti bakunonyereza okuzuula abakuumi abaakikoze era babonerezebwe
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu…
File Photo: Sekandi nga kuba mungalo
Eyali sipiika wa palamenti nga kati n’amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi agamba nti emirimu gya palamenti girina okukolebwaako mu bwangu ng’ebibiina tebinnaba kutandika kuwandiisa banesimbawo, ababaka bwebaba nga bakwetaba mu kuteesa
Kino kijjidde mu kaseera nga palamenti etubidde n’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda olw’ebbula ly’ababaka mu Lukiiko nga bangi kati basiiba…
File Photo : Joseph Ssewungu nga yogeera
Nampala w’ekibiina kya DP omuggya Joseph Ssewungu agamba nti omulimu gwe omukulu kugenda kubeera kugatta ba memba ba kibiina.
Olunaku lwajjo akulira ekibiina kya DP Nobert Mao yagobye Ssebuliba Mutumba ne Ssewungu oluvanyuma lw’ekisanja kye okuggwaako.
Ng’awayaamu naffe, Sewungu agambye nti mu kadde kano, entalo mpitirivu mu kibiina…
File Photo: Museveni nga kutte map
Bannakibiina kya NRM e Mukono balayidde nti bbo ssi bakuwa eyali Ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi buwagizi mu kitundu kino.
Bano abakulembeddwamu Ssentebbe wa disitulikiti ye Mukono Francis Lukooya Mukoome balangiridde kawefube w’okutalaaga amagombolola gonna nga balaga obubi bwa Mbabazi eri abantu era tebagala abeeko yadde olukungaana lwakuba e…
File Photo:Aba Police nga balawuna
Poliisi ye Fort Portal eriko omusumba w’abalokole gw’ekutte ku bigambibwa nti yafeze bannamwandu nebamulekwa obukadde bw’ensimbi.
Paasita ono ataatuddwa mannya yasuubizza okuyamba bamulekwa ne bannamwandu nga era abadde ava kyalo ku kyalo nga awandiisa abantu bano nga buli omu alina okusasula 25,000.
Omufere ono yabasuubizza okubagulira ettaka abazimbireko amayumba wamu n’okubagulira ebisolo nga…