File Photo: Bana FDC nga bogereko eri abamawulire
Palamenti ekyagenda mu maaso n’okuteesa ku nongosereza za ssemateeka wakati mu miranga gy’abavuganya gavumenti okuteekawo akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde,
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula oguttu agamba akakiiko akaliwo mu kiseera kino kaliko akabuuza.
Agamba akakiiko kano okubeera akamazima, ba kamissiona abakakulira balina kusunsulibwa palamenti oluvanyuma amanya gaabwe gasindikibwe eri omukulembeze w’eggwanga…
File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao asudde omubaka Sebuliba Muddu Awulira ku bwa nampala w’ekibiina n’amusikiza mubaka munne akiikirira ab’e Kalungu Joseph Ssewungu.
Mao ategezezza nga ekisanja kya Ssebuliba byekyaggwako kale nga kyekiseera okumisikiza omuntu omulala.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina ku City House, Mao era ategezezza nga…
Ekya bannabyabufuzi nga eyali ssabaminisita Amama Mbabazi, eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya ne Gen. David Sejusa okwabulira ekibiina kya NRM kitunuliddwa nga ekigenda okugasa ab’oludda oluvuganya gavumenti.
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye agamba guno mukisa gwamanyi bano okukwatagana okukyuusa obukulembeze bw’eggwanga.
Bino Besigye abyogeredde mu lukungaana lw’akubye Arua mu kawefube w’okunonya akalulu…
File Photo:Aba Police nga balawuna
Ng’eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016, poliisi erko ba ofiisa 3000 b’ekyusizzakyusizza.
Atwala ekiwayi ekiddukanya poliisi, Alhajji Moses Balimwoyo agambye nti abo bona abakyusiddwa balina okugenda mu bifo ebiggya gyebassiddwa ku lw’okusatu lwa ssabbiiti ejja.
Anyonyodde nti basirikale ab’eddaala erisooka ba constable bassiddwa mu kiwayi ekirawuna era nga abaduumira zi poliisi balina omulimu okulaba…
File Photo: Abagalana abatebelezebwa okuuta Johnnie
Ab’enganda z’omuvubuka eyattibwa mu bbaala ya gavana basabye poliisi okwanguya okunonyereza ku kufa kw’omuntu waabwe amazima gaveeyo.
Daniel Ssembogga nga ye muto wa Johnnie Tumuhimbise ategeezezza bannamawulire ku poliisi ye Naguru nti bagaala wabeewo okunonyereza ku nsonga eno okuzuula engeri mukulu we gyeyafuddemu.
Ahimbisibwe yattibwa ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro mu bbaala…
File Photo: Omukoozi nga tulugunya omwana
Omuzadde abonerezza omwana wa mulirwaana kimuweddeko omwana gw’abadde akuba bw’azirise
Javan Kisakye omuyizi mu kibiina ekisooka ogubadde gumukubya gwakugenda mu firimu.
Ababaddewo bagamba nti mulirwana ono akubye omwana ono gwebabadde bamulekedde ng’akozesa waya ya solido.
Ono aleeteddwa akulira okunonyereza emisango ku polisi ye Kabowa Peter Batanda.
Kigambibwa okuba nga maama w’omwana ono yabadde agenze…
File Photo: Abalwanyi ba Boko Halam
Ab’akabinja ka Bokoharam mu ggwanga lya Nigeria bafumulizza akatambi akalala kyokka nga tekaliimu bifananyi by’abakulira Abubakar Shekau.
Kino kireseewo okulowooza nti omukulu ono ayinza okuba nga yafuna obuzibu
Ono yakoma okulabwaako mu gw’okusatu mu katambi akafulumizibwa nga balangirira nti bagasse ku kabinja ka Islamic State.
Wayita mbale Nigeria neyeddiza ebifo ebisinga omwaali aba…
File Photo: Kaihura ngali na basilamu
Okulwanagana wakati w’abayisiraamu ssikwakuggwa kati.
Olukiiko oluyitiddwa akulira poliisi Gen Kale Kaihura terugenze mu maaso oluvanyuma lw’ekibinja kye Kibuli obutawereeza bakiise
Abakulembeze b’abatabbuliiki batuuse ku ku poliisi e Kireka okwetaba mu Lukiiko luno kyokka nga terusobola kugenda mu maaso.
Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura naye tabaddewo ekirese abatabbuuliki nga basobeddwa.
Bano ababadde bakulembeddwaamu Yahaya…
File Photo:Abayizi nga bali mukibina
Abayizi 20 beebakwatiddwa lwakwokya ssomero lya Mbogo Mixed Senior Secondary School e Kawanda.
Abayizi bano bateekedde ebisulo by’abayizi bibiri omuliro era abayizi abasoba mu 100 beebakoseddwa.
Poliisi etuuse mu budde okusobola okutaasa ebisulo ebirala bina.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti abayizi bano abawala abookyezza ekisulo babadde beesasuza batwala ssomero…
File photo: President Museveni ngali mu motooka
Pulezidenti Museveni agamba nti obubenje obutaggwa ku makubo buvudde ku bantu ababba obupande bw’oku nguudo
Abadde aggulawo oluguudo lwa Nyakahita-Kazo olwazimbiddwa ku buwumbi 140.
Pulezidenti Museveni agambye nti obupande buno buyamba okulambika abakozesa enguudo nga buli lwebutabaawo , kivaamu obubenje.
Okusinziira ku alipoota ezizze zikolebwa poliisi, obupande buno bukulu kyokka ng’obutabaawo ,…