Poliisi ye Mbale eriko basajja baayo 2 bekutte wamu n’okuwummuza 13 lwakwebulankanya ku mirimu.
Ku bakwatiddwa kuliko n’akulira poliisi ye Nakaloke Collin Ahasibwe.
Kino kiddiridde abatemu okugezaako okulumba amaka ga Sheikh Asadi Mujansi nga ono muganda wa seeka Rashid Wafula nebagezaako okumukuba amasasi.
Aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Haruna Isabirye ategezezza nga abo abakwatiddwa n’okuwummuzibwa emirimu bwegibalemye.
Ababiri…
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago akkirizza okwetonda kwa ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao.
Olunaku olw’eggulo Mao yetondedde Lukwago olw’ebisongovu bweyamuwerekereza oluvanyuma lwa Lukwago okusimbira ttabamiruka w’ekibiina ekkuuli.
Wabula Lukwago agamba okwetonda kwa Mao kulina okuwerekerezebwako ebikolwa mu kuzza obumu mu kibiina.
Agamba Mao kati essira alina kuliteeka ku kugonjoola ensonga ezayanjibwa akakiiko akatekebwawo okutabaganya ekibiina aka…
Akakiiko ka palamenti akalondola ensansanya y’omuwi w’omusolo kawadde ettendekero ly’e Makerere emyezi 2 gyokka nga bafunye baasa omujjuvu.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano balaze obutali bumalirivu olw’ettendekero ekkulu okumala emyaka 2 nga tebalina baasa sso nga gavumenti ebawa ensimbi nyingi okuddukanya emirimu
Ssentebe w’akakiiko kano Alice Alaso ategezezza nti kyekiseera ssetendekero ono okufuna abala ensimbi nga ekiriwo…
Abaana babiri bafudde oluvanyuma lw’eryato kwebabadde batambulira okutomeragana n’eryato ly’abavubi ku Nyanja Nalubaale mu ggwanga lya Kenya.
Abavubi basobodde okununula abantu abalala 21 ku 23 ababadde ku lyato lino nga era bebazudde n’emirambo gy’abaana bano.
Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa nga bukya nga era mu biseera bino amaato g’abavubi gaba mayitieivu ku Nyanja kubanga amazzi gaba mateefu.
Ab’ekibiina kya Uganda People’s Congress balumirizza gavumenti okweyingiza mu nsonga z’ekibiina kyabwe n’eretawo enjawukana.
Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu Arua ,omwogezi w’ekibiina Okello Lucima ategezezza nga byonna bwebikoleddwa lwa bigendererwa bya pulezidenti Museveni.
Agamba poliisi okwongera okugumba ku kitebe kyabwe ekiri ku Uganda House kigendereddwamu kuwagira Jimmy Akena NRM gweyagala n’okulwanyisa Olara Otunnu n’obukulembeze bwe.
Ye amyuka omwogezi…
File Photo : Adolf Mwesigye
Olukiiko lwa ba minisita lutandise okukubaganya ebirowoozo ku municipaali empya ttaano ezigenda okutondebwaawo.
Minisita akola ku gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye ategeezezza nti ebibuga15 byebyasaba okufuulibwa municipaali kyokka bitaano byebyayitamu okuli Mbarara, Arua, Gulu, Jinja ne Mbale byebyayitamu
Mwesigye era anyonyodde nti ekigendererwa mu kino kutuusa ku bantu mpereeza n’obukulembeze obutuufu.
Mwesigye bino abyogedde ayogerako…
File Photo:Omukazi nga wese omwana
Omusajja atemyetemye mukyala we lwa kumusaba kunoba na mwana we.
Sylivia Nakigudde y’akiguddeko Gerald Kaggwa gw’alinamu omwana omu bw’asoowaganye naye wabula mukwawukana n’amusaba obutanoba na mwana we.
Omukyala ono agaanye era wano weewavudde olutalo omusajja n’amutemateemaomutwe gwonna.
Bino bibadde ku kyalo Buziba e Buwaya ku mwaalo nga mu kiseera kino Nakigudde aleetedwa ku ddwaliro…
Omuvubuka eyasse munne ng’amulanga okumwagalira omukazi bamugguddeko gwa butemu.
Ivan Kamyuka nga y’atwala abakozi mu kkampuni ya Lake Bounty Ltd asimbiddwa mu kkooti olw’eggulo lwaleero n’asomerwa emisango.
File Photo: Ivan ngali ne muganziwe
Kamyuka omutuuze we Kisaasi Kyanja mu divizoni ye Nakawa asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakawa Christine Nantege atamukkirizza kubaako na ky’anyega kubanga omusango…
File Photo: Omubaka wa palamenti Asamo Hellen
Omubaka wa palamenti akiikirira abalina obulemu ku mibiri gyabwe mwenyamivu olw’agasajja gakagwensonyi agesomye okukabasanya abaana abalina obulemu ku mibiri gyabwe.
Nga ayogerako eri abantu ku bikujjuko by’esomero lyabakiggala e Mbale , omubaka Hellen Asamo, y’ategezezza nga abasajja abasinga bwebanguyirwa okusobya ku baana bano olw’obulema.
Agamba abalema banji bakakiddwa akaboozi, abaana basobezeddwako…
File Photo: Anyuka sipika wa paramenti ya Uganda
Sipiika wa palamenti Jacob Oulanya kyaddaaki akakasizza nga omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta bw’agenda okwogerako eri palamenti yawano wiiki eno.
Ku ntandikwa y’omwezi oguwedde, Kenyatta yasazaamu enteekateeka z’okujja kuno kubanga y’ali yetegekera bugenyi bw’omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama mu ggwanga lye.
Nga ayogerako eri palamenti olwaleero, sipiika Oulanya…