Eyali akulira akakiiko akalwanirira edembe ly’obuntu Margret Ssekajja asabye bannayuganda okwewala okutunda obululu bwabwe wamu n’okulonda bannabyabufuzi ababagulirira n’obutole bwa Sabuni.
Ssekajja agambye nti okulonda okuzze kubeerawo mu ggwanga kujuddemu kugulirira abalonzi, ekiviiramu okulonda abantu abatalina mugaso eri eggwanga.
Ssekajja asabye abantu okubuuza bannabyabufuzi kyebabakoledde mu myaka 5 emabega nga tebanaba kuddamu kubalonda.
Ono era alaze obwenyamivu olwebikolwa…
Abakulembeze mu kibiina kya NRM basabiddwa okulaba nga bannakibiina bakiikirirwa kyenkanyi naddala ku lukiiko olw’okuntiko mu kibiina.
Omubaka wa pulezidenti mu Kampala era nga yesimbyewo ku bu myuka bwa Ssentebe w’ekibiina kya NRM mu Buganda Aisha Kabanda agambye nti abakyala tebafunye kukiikirirwa kumala naddala ku lukiiko olufuzi olw’ekibiina kya NRM.
Kabanda agambye nti kivuddeko ensonga z’abakyala obutakolwako…
Eyali Ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye asumattuse akabenje bw’abadde agenda e Hoima okuwenja obululu okuva mu bannakibiina kya FDC.
Akabenje kano akafunidde Kyankwanzi omupiira gw’emmotoka ye negusiriira.
Besigye abadde atambulira mu motoka ekika kya Land cruiser namba UAN 661V era agamba nti akabenja kano kandiba nga kavudde ku biragala poliisi byeyafuyira emupiira g’emotoka ye bweyali emukwata…
File Photo: Mbabazi nga buza Museveni
Pulezidenti Museveni ajjeeyo foomu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga olunaku lwaleero n’asuubiza okutwala eggwanga mu maaso.
Pulezidenti abadde awerekeddwaako ba minisita, ababaka mu palamenti kko ne bannakibiina abatali bamu agambye nti ekimu ku bituukiddwaako kwekutuusa emirembe mu bitundu byonna.
Museveni agambye nti musanyufu nti era eggwanga lyongedde okulwanyisa enguzi era nga liri mu…
Waliwo abayudaaya bakalittima abatekedde enyumba omuliro nga mulimu omwana omuwere.
Omwana myezi ono nga munaansi w’eggwanga lya Palestine y’afiiridde mu muliro guno oluvanyuma lwabakalittima bano okuteekera enyumba mw’abadde omuliro mu kitundu kya West Bank.
Bino byonna bibadde ku kyalo Kfar Douma kumpi n’ekibuga Nablus nga era omwana ono y’abadde yebase webamukumiddeko omuliro.
Bbo bazadde be babuuse n’ebisago by’omuliro…
File Photo: Police nga esanyawo omusiri gwe enjaga
Poliisi mu district y’e Kyegegwa eriko enjaga ebaliirirwamu obukadde bwa silingi butaano gyesaanyizaawo.
Omudumuduumizi wa Poliisi Kisembo Musa enjaga eno ekwatiddwa mu maka g’omutuuze ategerekese nga Byakatonda Robert gyabadde alimira awakawe.
Omusasi waffe Magembe Sabiiti y’alina ebisingawo
File Photo: Kabaka Mutebi nga saala kakeSsabasajja Kabaka wa Buganda atuuse e Kalangala okwetaba mu mikolo gy’amattikira ge ag’omulundi ogwa 22.
Ssabasajja asimbudde okuva ku lubiri lwe e Bujumba mu sazza e Sssese era nga ayaniriziddwa Kamala Byonna wa Buganda oweek Charles Peter Mayiga, Maama Nabagereka Sylvia Naginda, ba Minister ba Buganda, Kweba Fr Christopher Walusimbi…
File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Johh Patrick Amama Mbabazi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo nga atalina kibiina ku bwa pulezidenti mu kulonda okujja.
Ategezezza nga bwatagenda kugenda Kyaddondo kugyayo mpapula zakusunsulibwa kubanga takyazirabamu mugaso.
Mbabazi agamba agezezzaako okuyita mu makubo gonna okuyita mu mateeka okutuuka mu kamyufu naye banne…
File Photo: Aba NRM Ekyankwanzi
Bannakibiina kya NRM abasoba mu 2000 beebakajjayo foomu okwesimbawo ku bifo ebitali bimu
Ku bano 1550 besimbyeewo okukiika mu palamenti , 410 bagaala bifo bya bakyala ate ng aba ssentebe bali 169.
Ssentebe w’akakiiko ka NRM akalondesa Dr Tanga Odoi agambye nti obuwumbi busatu n’ekitundu bwebukunganyiziddwa era nga zakuyamba ekibiina mu kalulu k’omwaka…
File Photo: Abalimi boleseeza
Waliwo ekibinja ky’abalimi abaddukidde mu kkooti nga bawakanya ebbago ly’etteeka erisaawo abantu ssekinoomu abagenda okukuuma ensigo z’embala.
Abalimi bano bawagiddwa ebibiina by’obwanakyeewa ebigambi nti ensigo z’embala tezirina kussibwaako lukomera lwonna.
Omukungu okuva mu kibiina kya Food Rights Alliance Gonzanga Mbalangu agamba nti kino kikyaamu kubanga kijja kusiba abalimi bangi n’okubalemezaako ensigo ezitavaamu makungula gawera
Mbalangu…