Poliisi e Rakai etandise okunonyereza ku bavubi babiri abattiddwa mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero.
Ronald Sseremba ne William SSebagayi nga bano batuuze be Kasensero basangiddwa nga battiddwa ng'emirambo gyaabwe giseseeyeza ku mazzi.
Akulira ekakiiko akatwala enyanja eno, John Kayomba agambye nti bano kirabika balumbiddwa nga badda ewaka.
Akulira poliisi enonyereza ku buzzi bw'emisnago mu district eno Rose Nabakooza…
Abantu abakunukkiriza mu mutwalo omulamba beebakoseddwa amataba mu bitundu bye Kasese.
Minister akola ku bigwabitalaze, Musa Ecweru agamba nti bamaze okutuusa obuyambi ku bantu bano abassiddwa mu nkambi ku ssomero lya Kasese primary school.
Bbyo ebimotoka biwetiiiye bimaze okutuuka ku ddwaliro lye Kilembe okulijjamu ettaka elyajjira ku mazzi agabula kata okusuula eddwaliro.
Bbo abajaasi ba UPDF abali mu…
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga POrof Gilbert Bukenya wakwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.
Mu mboozi eya kafubo naffe ng’asinziira mu maka ge e Kakiri , Prof Bukenya agambye nti wakwesimbawo mu kibiina kye ekya NRM era nga ssinga ayitamu ate yeeyongerayo ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga.
Prof Bukenya ekozesezza eky’okulabirako ky’omuzannyo gw’omupiira ng’agamba nti keekadde naye yesogge ensitaano, Bukenya ssinga…
Ab'ekibiina kya NRM bagenda mu mbuga z'amateeka ku babaka abagobwa u kibiina
Bano balemeddeko nga bagaala ababaka bano bagobwe mu palamenti
Akulira akakiiko akalondesa mu NRM, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti ebyasaliddwaawo spiika bimenya amateeka n'okuvvoola okusalawo kw'abantu
Rugunda era agamba nti yeewunyizza nnyo okulaba nti Kadaga amyuka ssentebe w'ekibiina mu Buvanjuba yennyini yefuula ate nga adda ku…
Nebisolo nabyo sebo byaagala ekibuga.
Goonya etolose mu kuumiro lyebisolo netandika okutambula ku nguudo zomukkibuga nga bwekoona ku motoka ezibade zisimbye kumabali.
Emotoka ezisinga zibaddemu alarm era obwedda bwezikaaba goonya nga ekyamuka anti obweda eraba kipya.
Wabula esanyu lyaayo litutte akabanga katono akulira ebyokwerinda mu kibuga kya florida najirumba najirijja emigwa ku mimwa nga bwajituddeko.
Ekikolwa kyono kyakoze kivumiriddwa…
Omwana owemyaaka 5 akubye mwanyina owemyaka 2 amasasi agamutiddewo.
Oyinza okwebuuza emundu eno yajijeewa, kyabadde kirabo gyamazaalibwa okuva eri abazadde.
Taata womwana yabadde amanyi aguze bino bibundu ebyokuzanyisa wabula nga mundu yaddala.
Olwazze mu kisenge pmuto natandika okuzanya nemutowe nga bweyegezamu nga amukuba amasasi.
Ebyavudemu kumukuba kyaasi ekyadala baabuwe naye nawunga.
Abazadde baawulidde kyasi kivugira mu kisenga kyabaana baagenze okutuukayo…
Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM gyebuvuddeko baluyiseeko.
Spiika wa palamenti Omukyala Rebecca kadaga olwaleero ategeezezza ng’ababaka bano bwebatasobola kugwa mu palamenti nga NRM bw’ebadde eyagala.
Agambye nti tewali tteeka ligamba nti omubaka bw’agobwa mu kibiina aba alina n’okugobwa mu palamenti.
Kadaga era agambye nti yafuna dda ebbaluwa okuva mu NRM esaba nti awandiikire akakiiko akalondesa g’asaba okulonda…
Omuwendo gw’abantu abafiiridde mu mataba agalumbey ebe Kasese gutuuse ku munaana
Emirambo mukaaga gyegyakanyululwaayo ng’ebiri baginoonya
Abamaggye nabaddukirize aba Redcross beebali mu kuyambako okunyulula emirambo.
Bo aba Redcross bataddew enkambi abantu abasoba mu 1500 abatalina webegeka luba webagenda okudda
Ssabassajja Kabaka aguddewo omwoleso gw'ettaka n'omulanga eri KCCA okutegaka obulungi ekibuga.
Ssabassajja Kabaka era asabye n'ekitongole kya NEMA okufuba okukwatagana nabali mu byettaka okutegeka eibuga ate ng'abantu bakuumue obutonde
Ssabassaja era ayagala ministry ekola ku byettaka okukolagana obulungi n'ekitongole kya Buganda eky'ettaka okulaba nti wabaawo enkulakulana
Omwoleso guno ogubadde e Bulange e Mengo nga gwakufundikirwa ku lunaku lwa…
Omulambo gw'omuntu gunyuluddwa mu mataba aganjadde okubuna amayumba g'abantu mu District y'e Kasese.
Emirala ebiri gikyanoonyezebwa.
Amataba gaavudde ku mugga Nyamwamba okubooga ne gutandika okuyiwa amazzi, agaayanjalidde mayumba g'abantu abalinaanyeewo.
Okusinziira ku musasi wa dembe fm ,abantu bangi bali mu kubundabunda olw'obutabaako webeegeka luba, enguudo zibuutikiddwa mazzi nga n'entindo ezisinga zitwaliddwa amazzi.
Entambula okuva e Kasese okudda e Fortportal…