File Photo: Kaihura nga ayogeera
Poliisi ekoze enkyukakyuka mu basajja baayo mu kitongole ky’aboogezi
Abamu ku bakyusiddwa kwekuli ababadde mu mawanga agaliraanye Uganda nga south Sudan ne Somalia nga bakuuma emirembe n’ekibiina ky’amawanga amagatte
Eyali ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Senkumbi atwaliddwa Masaka kati nga y’ayogerera poliisi yaayo.
Eyali amyuka omwogezi wa poliisi Vincent Sekate asindikiddwa rwizi ate…
File Photo: Owa police nga kutte bodaboda etomedde
Poliisi ye Lwengo ekyanonyereza ku batamanya ngamba abasse omugoba wa bodaboda nebakuliita ne pikipiki ye.
Omulambo gw’omugenzi gusangiddwa nga gusuliddwa mu zooni Mitti –Eduma nga era abatuuze batebereza okuba nga ono baamutidde mu kifo ekirala omulambo gwe negusulibwa ewaabwe.
Wabula wabaddewo akanyolagano oluvanyuma lwa poliisi okuleeta emmotoka etambuza abalwadde okutwaliramu…
File Photo: Omulwadde wa kolera
Obulwadde bwa Cholera bwongedde okusasanira mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu nga kati abantu 4 bebakakasiddwa okukwatibwa ekirwadde kino mu disitulikiti ye Bulambuli.
Akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno Dr Muhammadi Mulongo agamba abalwadde bano bava mu gombolola ye Muyembe wabula nga bataddewo ekifo webagenda okujanjabira bonna abakwatiddwa ekirwadde kino ku ddwaliro lye Muyembe.
Anyonyodde…
File Photo: Bana Nrm nga balwana
Ssente zekibiina kya NRM eri ba ssentebbe be byalo bannakibiina zitabudde abe Buvuma.
Bano bavudde mu mbeera nebalwanagana nga balumiriza ssentebbe Herbert Mubiru okuba mbu ssi wa NRM era nebamugaana okufuna ku ssente zino.
Olutalo lubadde ku kyalo Lunyanja ekisangibwa mu Town Council ye Buvuma, nga ssente oluvanyuma zikwasiddwa omumyuka we.
Yye ssentebbe…
File Photo: Abakubi be miggo
Ekibiina ekirwanirira bannamawulire ekya Uganda Human Rights Network kimenye obubinja bw’abakubi b’emiggo obugenda butiisatiisa bannayuganda.
Bino bifulumidde mu alipoota oluvanyuma lw’okunonyereza okwakoleddwa wakati wa December 2015 ne January 2016 ku mugaso gw’ebitongole ebikuuma ddembe mu kulonda kuno okubindabinda.
Akulira emirimu mu kibiina kino Patrick Tumwine agamba obubinja buno bakizudde nti buva mu kibiina…
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Omusawo eyasangibwa lubona ng’aloga omulamuzi wa kkooti ya Buganda road asingisiddwa omusango nebamuwa ekibonerezo kya kukola bulungi bw ansi
Issa Kiwanuka yasangibwa lubona ng’amansa eddagala ku ntebe y’omulamuzi.
Ngalabiseeko mu maaso g’omulamuzi yenyini gweyali aloga james Eremye, omusajja ono akkirizza emisango era neyetonda.
Ono avunaanibwa wamu n’omukyala eyali amuguze okumugondeza omutima gw’omulamuzi Alice…
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
Akakiiko k’ebyokulonda kasuubira ekitereke ky’obululu ekyokubiri okutuuka mu ggwanga olwe’eggulo lwaleero.
Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu ategezezza nmga bwebasuubira obululu 361 obwokukozesebwa mu kulonda kwokuzidisitulikiti.
Kiggundu agamba obululu buno babusubira ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Mungeri yeemu Kiggundu ategezezza nga obululu 15,987,800 bwebwatuuka mu ggwanga wiiki ewedde.
Gen. David Sejjusa
Bannamateeka ba munnamagye gen David Sejusa bakubye ebituli mu misango egivunanibwa omuntu waabwe.
Ssentebe wa kkooti y’amagye Maj gen Levi Karuhanga, asomedde Sejjusa emisango gy’okwogera ebigambo ebitematema mu bantu nga akyaali munnamagye wamu n’okwebulankanya okuva mu palamenti nga tafunye lukusa .
Emisango gino kigambibwa okuba nti yagizza emabegako nga 30th April 2013 Sejusa bweyali akyaali…
File Photo: Abakyala nga baali mukibinja
Omuwendo gw’abakyala abetaba mu by’obufuzi kizuliddwa nga bwegukyali omutono ddala.
Kino kyelokedde mu alipoota efulimiziddwa ekibiina ekilafubanira eddembe ly’abakyala ekya Uganda Women Network organizations.Okusinziira ku alipoota eno , omukyala omu y’avuganya n’abasajja 7 ku bwapulezidenti kale nga kyetagisayo abalala okuvaayo .
Bwekituuka ku bukiise mu palamenti, abakyala 83 bokka bebavuganya n’abasajja 1223…
File Photo: sejjusa ne Seya ku kitebe kya Dp
Ab’ekibiina kya DP bavumiridde eky’abakulu mu gavumenti okukozesa olulimi olutiisatiisa bannayuganda.
Omwogezi w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakande ategezezza nga bano bwebateeka okutya mu bantu wabula nga kisobola okuleetawo obutabanguko.
Agamba okukwata munnamagye General David Sejusa ne ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba okutiisatiisa nti abanekalakaasa nga bawakanya ebinaba bivudde…