Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Engo erumbye essomero

File Photo: Engo elumbye amasomero Mu ggwanga lya Buyindi engo eyingidde essomero n’erumya abantu 6. Bino bibadde mu kibuga Bangalore nga era ababadde bagezaako okugikwata belumyelumye. Engo eno esatizza ab’essomero lya Vibgyor International school wabula oluvanyuma nebagikuba empiso eyebasa nebagikwata okugitwala mu kkuumiro ly’ebisolo. Engo okulumba abantu mu buyindi ssikipya olwobunji bwazo nga  ziri eyo mu 14,000 .

Read More

Bamukutte lwa busiyazi

File Photo: Police nga ekola ogwayo Poliisi ye Kabale eriko omuvubuka ow’emyaka 20 gwekutte lwabusiyazi. Kigambibwa nti Naboth Mujulizi  omutuuze ku kyalo Mukansiru y’akwatiddwa nga ali ku kalenzi akatanetuuka akavuga olupanka. Akalenzi kano kagamba nti kaabadde katumiddwa ku dduuka mu katawuni akali okumpi, omuvubuka n’akazindukiriza nga kaddayo eka n’agyayo akambe n’akatiisa okukasalasala singa kakuba enduulu olwo n’akakanako n’akatuusako…

Read More

Ekisinga obukulu mu kulonda kaadi

File Photo: Muna Nrm nga londa Akakiiko k’ebyokulonda katangazizza ku Muntu by’alina okubeera nabyo nga agenda okulonda. Kino kiddiridde abantu abenjawulo okwemulugunya ku kiki kyebalina okulagayo nga bagenda okusuula akalulu kaabwe. Kati amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya agamba ekisinga obukulu ku lunaku lw’okulonda  ye ndagamuntu. Wabula  asambazze ebigambibwa nti atalina kapapula kalaga w’alina okulondera ssiwakukkirizibwa kulonda.

Read More

Mabirizi ategese okulonda kw’okwegezaamu

File Photo: Joseph Mabirizi nga jeeyo foomu Eyesimbywewo ku lulwe ku bwapulezidenti Joseph Mabirizi ali mu nteekateeka zakutegeka kulonda okwokwegezaamu nga 12 olwokutaano luno nga eggwanga lyetegekera okulonda okutongole nga 18.   Mabiriizi ono agamba okulonda kw’ategeka kuli mu disitulikiti 8 okuli Kampala, Masaka, Mbale, Jinja, Mbarara, Hoima, Arua ne  Gulu nga era ayagala buli yesimbyewo ku bwapulezidenti…

Read More

Endagamuntu zizzeeyo ku ma gombolola

Bannayuganda kati basobola okuddukira endaga Muntu zaabwe ku bitebe by’amagombolola.   Minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga ezijje ku bitebe bya disitulikiti okutuuka ku magombolola okuzisembereza abantu basobole okuzifuna amangu .   Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Rose Akol agamba endaga Muntu ezisoba mu bukadde 2 bananyini zo tebanazikima nga kati babawadde ennaku 5 zokka bwezigwako bazizzeyo ku disitulikiti.   Akol  asabye bonna abatanazigyayo…

Read More

Abapoliisi bakuziddwa

File Besigye nga alwanagana ne police Pulezidenti Museveni akuzizza ba ofiisa ba poliisi abawerera ddala 245 Abakuziddwa kuliko Haruna Isabirye, akulira eby’abasawo Dr Moses Byaruhanga n’abalala nga batuuse ku ddaala ly’amyuka ssabapoliisi. Ate mu bafuuse ba siniya kamisona kuliko Benjamin Namanya,Charles Asaba n’abalala Ate abafuuse ba kamisona ba poliisi kuliko James Ruhweza,Siraj Bakaleke,David Manzi, Hassan Kihanda ,Polly Namaye,Samuel  Omala,…

Read More

Abaguza poliisi emmere bediimye

File Photo:Abaserikale abateredwa mukibuuga Abaguza poliisi emmere balinnye mu Kyoto nga baweze obutaddamu kubawa mmere okutuuka nga basasuddwa Muno mulimu ababawa akawunga, ebijanjaalo, sukaali, enyama n’amanda nga bagamba nti ensimbi zebabanja mpitirivu. Abamu ku bano babanja obuwumbi busatu nga bagamba nti minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga yakola okubasasula omwaka oguwedde SSentebe w’abantu bano Badru Kisitu agamba nti…

Read More

Bannamateeka ba Sejusa bawaddeyo okweyimirirwa kwaabwe

File Photo: sejjusa ne Seya ku kitebe kya Dp Bannamateeka ba munnamaggye gen David Sejusa bawaddeyo okusaba okutongole eri kkooti y’amaggye nga bagaala omuntu waabwe agire ng’ayimbulwa. Munnamateeka we David Mushabe ategeezezza nti atwala kkooti eno omukulu Levi Karuhanga mu butongole efunye okusaba kwaabwe. Sejusa ku lw’okubiri yasindikibwa e Luzira ng’ogumuvunaanibwa gwakweyisa mu ngeri evvoola eneeyisa ya bannamaggye. Sejusa…

Read More

NRM egabye ssente- Abamu bagamba ntono, bannakyeewa banyeenya mitwe

Keetalo kenyini ku kitebe ky’ekibiina kya NRM e Kyaddondo nga ba memba abesimbyewo ku bifo ebyenjawulo baweebwa ensimbi z’okuddukanya kampeyini zaabwe. Abesimbyewo okukiikirira abakyala ku disitulikiti bafuna obukadde 25 sso nga abesimbyewo ku bukiise ba palamenti abalala bagabana obukadde 20 buli omu. Ba ssentebe ba zidisitulikiti bbo baweebwa obukadde 15 buli omu. Omu ku bagabanye ku nsimbi zino…

Read More

Uganda yakufiirwa buwumbi

Uganda eyolekedde okufiirwa akawumbi kamu n’obukadde nga 400 lwankyukakyuka ya budde mu myaka 20 egiggya. File Photo: Abantu nga bayita mu mazzi Akulira eby’obutonde bwensi n’entobazi mu minisitule y’ebyamazzi n’obutonde bwensi Paul Mafabi agamba eby’obulimi byebigenda okusinga okukosebwa kale nga gavumenti esaanye okusomesa abalimu ku nsonga eno bagisalire amagezi nga bukyali.   Mafabi agamba singa tewabaawo kikolebwa ebirime nga…

Read More