Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Sejusa ssiwakulonda- Asindikiddwa Luzira

Eyali akulira bambega za gavumenti gen Dabid Sejusa kikakasiddwa nti ssi wakwetaba mu kalulu k’aludde ng’awenja. Sejusa asindikiddwa ku meere e Luzira agira yebakayo okutuuka nga 23 omwezi guno. Kiddiridde kkooti y’amaggye etuula e Makindye okusalawo nti ono akyaali munnamaggye era alina okuwozesebwa nga munnamaggye. Abatuula ku kkooti y’amaggye omusanvu nga bakulembeddwaamu Maj Gen. Levi Karuhanga basazeewo nti…

Read More

Abasawo mubasseemu amaanyi

File photo: Omusawo nga koola kumulwadde Minisitule y’ebyobulamu eweereddwa amagezi okuteeka amaanyi ku basawo abagaana okukolera gyebabasindika yadde mu byalo. Kino kigendereddwamu kukendeeza ku bbula ly’abasawo. Amagezi gano gaweereddwa ssentebe w’akakiiko akakola ku by’obulamu n’ategeeza nga abasawo bwebajja okusoboloa okugabanyizibwa kyenkanyi nemubitundu ebizibu okutuukamu. Mu mwaka gwa  2014-2015 akakiiko kawandiisa abasawo 800 ku mutendera gwa disitulikiti wabula n’okutuusa kati…

Read More

Temutta Kisiibo

Abakulisitu basabiddwa obutakkiriza byabufuzi kusiikiriza kisiibo kyabwe kisembedde nga n’okusiiga evvu kwalunaku lwankya.   Olunaku lwenkya abakulisitu bonna okwetolola ensi lwebasiigibwa evvu nga batandika ennaku z’okusiiba 40. Msgr Gerald Kalumba ow’ekeleziya ya  Christ the King Church wano mu Kampala agamba yadde nga evvu kabonero k’ebweru, munda omukkiriza alina okubeera n’omwoyo ogwagala okudda eri Katonda.   Agamba abakulisitu basaanye okukozesa ekisiibo…

Read More

Omubaka bamusiiga enziro

Eyesimbyewo ku bukiise bwa Ntenjeru South Fred Baseke yekubidde enduulu ku poliisi olw’efujjo elyeyongedde mu kalulu. File Photo: Fred Baseke Baseke yemulugunya nti waliwo ab’ettima abazze batimbulula ebipande bye nebabyokya mu tawuni ye Kangulumira   Ono era munakuwavu olw’abantu abatanategerekeka abagenda bagatta omusenyu mu sukaali nebagabira abalonzi nti y’amubawadde n’ekigendererwa eky’okutattana erinya lye.   Baseke avuganya n’omubaka  Patrick Nsanja  mu kalulu…

Read More

Omubaka akooye empewo

File Photo: Olivia kwagala nga yogeera Omubaka omukyala ow’e Iganga Olivia Kwagala aneneyezza abasajja obutamugambako n’atuusa n’olunaku olwaleero nga talina abikka. Kwagala nga ali mu kunoonya kalulu kamuzza mu ntebe agamba abasajja bekwata omusobooza tebamusiiyako sso nga ye talina agamba. Agamba nga omukulembeze agezezaako okusikiriza abasajja bamusuuleyo akagambo afune daali anamukuba ekidaala wabula bonna bwekwata. Bino abadde ayanukula abamukolokoto…

Read More

Besigye agumizza abe Oyam- teri kubba kalulu

File Photo:Abawagizi ba Besigye Akutte bendera ya FDC ku bukulembeze bw’eggwanga Dr Kiiza Besigye akakasizza abalonzi mu disitulikiti ye Oyam nti abavuganya betegese okuwangula gavumenti eri mu ntebe era ng’akakiiko akalondesa tekajja kulangirira mulala. Ng’ayigga akalulu mu bitundu bye Oyam, Dr Besigye agambye nti akalulu tekasobola kubbibwa ssinga buli Muntu akola ogugwe Ono abadde ayanukula abalonzi abalaze okutya…

Read More

Museveni asimbudde emijoozi

File Photo: Museveni nga ayogera Pulezidenti Museveni asuubizza okuteekawo embeera enasobozesa bamusiga nsimbi okuddukanya emirimu gyaabwe. Kino pulezidenti agambye nti kyakuyamba okutondawo emirimu naddala eri abavubuka. Bino Museveni abyogeredde ku kkampuni ya Fine Sina Uganda Limited ng’eno ekola emijoozi gy’esindise mu Denmark, United Kingdom, Norway ne Germany. Kkampuni eno y’ekola emijoozi gya NRM, yunifoomu za poliisi n’amaggye kko n’ebirala.

Read More

Temulonda babawa ssente- Katikkiro

Kamala byonna wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okwewalira ddala bannabyabufuzi ababagabira ensimbi Ng’aggulawo Olukiiko lwa Buganda olusoose okutuula mu mwaka guno,kamalabyonna agambye nti abagaba ensimbi beebatalina busobozi Agambye abantu bakimanye nti babbeyi tebalina kugulibwa bu ssente butalimu nsa. Mu ngeri yeemu asabye abaami ba sabasajja okusomesa abantu federo olw’ensonga nti bangi tebagitegeera ate nga yeemu…

Read More

Aba NRM bayomba

File Photo: Abawagiri ba museveni nga baali ku nguudo Abakulembeze n’abakunzi  b’ekibiina kya NRM e Masaka batiisizza okukyabulira olw’okulemererwa okusisinkanamu pulezidenti Museveni. Bano balumiriza abakulira NRM ku disitulikiti okubalemesa okusisinkanamu abakwatidde bendera ku bwapulezidenti, Nga bakulembeddwamu ssentebe w’abavubuka ku disitulikiti Rogers Buregeya, abavubuka bano kati bawadde abakulembeze baabwe ennaku 4 zokka okukola ku nsonga zaabwe. Wabula ye ssentebe wa…

Read More

Babiri bafiiridde mu kabenje

File Photo: Omu kubasimatuuse akabenje Abantu 2 bafudde n’abalala 11 nebabuuka n’ebisago ebyamanyi mu kabenje akagudde wali e sseguku ku luguudo lw’Entebbe. 11 bano bali ku bitanda e Mulago sso nga 2 abafudde tebanategerekeka era emirambo gitwaliddwa mu ggwanika. Omu ku basimatuse akabenje kano  Tony Katumba agamba akabenje kavudde ku dereeva kuvugisa kumama nga era abasinga ku basaabaze…

Read More