File Photo: Ente nga esibidwa kumuti
Omukyala etunze ente gyebamuwa wansi w’enkola y’okugaggawaza abantu asuze mu kaduukuulu
Maria Namuli mutuuze mu kibuga kye Kalungu mu disitulikiti ye Kalungu.
Namuli ategeezezza abakungu abalondoola abaafuna ente zino nti eyiye yagitunze kubanga abadde takyasobola kugirabirira.
Kino kinyizizza abalondoola abakulembeddwamu Maj Wanji Katongole era nebalagira akwatibwe.
Maj. Katongole agamba nti ebintu ng’ebisolo ebiweebwa abantu…
Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde poliisi ku ky’okukwata ku bigenda okukozesebwa mu kulonda kwa nga 18 omwezi guno.
File Besigye nga alwanagana ne police
Alondoola ebyokulonda mu bitundu bya Busoga, Apollo Musinguzi agamba nti okukwata ku bikozesebwa mu kulonda kireeta akavuyo n’okuttattana ekifananya ky’akakiiko akalondesa.
Musinguzi agamba nti naddala obubokisi okuli obululu bubaako envumbo ezirina okusumululwa akakiiko akalondesa kyokka nga…
File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti pulezidenti Museveni y’asinze okwegazaanyiza ku mikutu gy’amawulire egy’ampappula , zireereetu ne terefayina
Bino bifulumizidde mu alipoota ekoleddwa ab’ekibiina kya African Centre for Media Excellence ku ngeri bannamawulire gyebakozeemu emirimu gyaabwe.
Museveni addibwaako Amama Mbabazi ate Dr Kiiza Besigye n’addako awo ku ky’okusatu.
Abafulumizza bino baloondodde emikutu gy’amawulire mu mwezi…
Akutte bendera ya FDC ku bukulembeze bw’eggwanga Dr Kiiza Besigye agamba nti abakulembeze abagaala okwekkusa bokka beebasinze okukonzibya ebyenfuna by’eggwanga.
Ng’ayigga akalulu mu kitundu kye Makindye Ssabagabo, Besigye agambye nti abakulembeze bangi bafa ku mbuto zaabwe era bamalirizza nga babbye ensimbi za gavumenti.
Anokoddeyo ekitongole ky’ebyenjigiriza ky’agamba nti kisigadde kisereba lwankozesa ya nsimbi enkyaamu.
Agamba nti ensimbi zisigadde…
File Photo: Minister Henry Kajura
Gavumenti erangiridde olunaku lw’okubiri ssabbiiti ejja lwakuwummula.
Ekiwandiiko ekivudde eri minisita akola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti era amyuka ssabaminisita asooka Henry Kajura y’alangiridde nga ku lw’okubiri bweruli olw’okuwummula.
Olunaku luno lwalangirirwa gavumenti ng’olukulu buli mwaka okujjukira ssabasumba wa Kampala Janan Luwum.
Ono yattibwa ku mulembe gwa Idi Amin Dada nga yali mulwanirizi w’eddembe…
File Photo: Ekibangirize kye Ttaka
Gavumenti ya NRM yeeyamye okumalawo enkaayaana z’ettaka mu ggwanga.
Ng’ayogerako eri abawagizi be e Nakawuka mu disitulikiti ye Wakiso, Museveni agambye nti abantu abali ku ttaka lya gavumenti bangi abanonyebonye nga basengulwa nga kino kirina okukoma.
Agambye nti gavumenti wakussaawo ensawo enayamba abantu okufuna ebyaapa
Ono era asuubizzza okukuba kolaasi oluguudo oluva e Busiro…
File Photo: Namwandu wa Kasiwukira nga retebwa ku kooti
Kkooti enkulu egaanye okuyimbula Namwandu w’omugenzi Kasiwukira Sarah Nabikolo.
Omulamuzi Wilson Masalu Musene ono amusabye okulinda olutuula lwa kkooti oluddako nga lwakutandika nga 29 omwezi gw’okubiri.
Nabikolo ne banne ababiri bagambibwa okwekobaana nebatta omugagga Eria Bugembe ng’ono yali amanyiddwa nga Kasiwukira.
Guno gwemulundi ogw’okubiri nga omukyala ono asaba okweyimirirwa naye…
File Photo: Abantu nga bewandiisa okufuna endagga muntu
Nga ebula ennaku munaana okutuuka ku lunaku lw’akalulu, abantu abawerako basimbye enyiriri empanvu okuva ku makya nga balinda okuweebwa endagamuntu zaabwe.
Mu Kira town council abasinga bagumidde akasana wabula nga zigabibwa kasoobo nga era abamu betwogeddeko nabo bagamba okuva enkoko bweyakokolimye nga bali awo balinze wabula nga tebanafuna kyabaleese.
Wabula…
Eyesimbyewo ku tikiti ya FDC Dr Kiiza Besigye asabye abalonzi okubeera obumu bwebaba bakutukiriza ekilubirirwa kyabwe ekyenkyukakyuka mu ggwanga.
File Photo:Besigye ngali nabawagizibe
Nga ayogerako n’abawagizi be e Kibuli ku dipo y’essundiro ly’amafuta eya Total, Besigye ategezezza nga ab’oludda oluvuganya gavumenti bwebasanye okwegatta okuleetawo enkyukakyuka esaanidde.
Bessigye asabye abalonzi obutagwamu maanyi wabula bakuume akalulu kaabwe okwewala obubbi.
Besigye awerekeddwako…
Ekitongole ekiwooza ky’omusolo mu ggwanga wamu n’ekitongole ekinonyereza ku misango okuva mu ggwanga lya Bungereza bakwongera okwetegereza emmotoka ezileetebwa wano mu Uganda.
File Photo: Emotooka ezabiwa Ebungereza
Kino kiddiridde ekikwekweto ekyakolebwa omwaka oguwedde emmotoka 24 nezizuulibwa nti zabibwa nezitikibwa okuleetebwa wano mu Uganda.
Omu ku bavunanayizibwa ku byamaguzi ebiyingira mu ggwanga Dickson Kateshubwa agamba bataddeyo tekinologiya ow’omulembe kati…