File Photo: Police nga ekwatta Besigye
Omukka ogubalagala gunyoose nga poliisi ekwata akutte bendera ya FDC ku bukulembeze vw’eggwanga Dr Kiiza Besigye.
Besigye akwatiddwa bw’abadde ku kawefube we okuyigga akalulu mu masekkati g’ekibuga era nga bw’atuuse wali ku bitaala bya Jinja road, poliisi n’emusalako.
Wano abantu bagezezzaako okugiremesa okumutwala era ekiddiridde mukka gubalagala nebamutwala.
Ono akwatiddwa n’omubaka Nabila Naggayi…
File Photo : Abantu be burundi
Abakulu mu mukago ogutaba obuvanjuba bwa Africa bategeezeza nga bwebali abamalirrivu okulaba ng'egwanga lya Burundi liddamu okuloza ku mirembe
Ssabawandiisi w’omukago guno Dr Richard Sezibera era awakanyizza ebizze byogerwa nti omukago gwandiba nga ebya burundui byaguvaako dda , ekiviiriddeko abantu okugenda mu maaso nga batingana
Ono agamba nti mu kaseera kano bingi…
File Photo: Mbabazi nga tuuse e Mbale
Ng'ebula saawa busawa kakuyege akomekerezebwe olunaku olw’enkya , yye munna-Go-forword JPAM asabye bannayuganda okukulembeza Uganda nga bakuba akalulu ku lunaku olw’okuna
Ono ategeezeza nti mu kaseera kano Uganda eri mukabiga ak'okusalawo okuva mu mbeera eyeby’obulamu ebyayononeka,eby’enjigiriza ebyava kumulamwa, oba okugenda mu Uganda eyegombesa.
Ono okwogera bino yabade anoonya kalulu akawungezi…
File Photo: Bukenya owa UNEB nga yogeera
Ekitongole kyebyebigezo mu gwanga kyakuyita abaana ebigezo byabwe ebyakwatiddwa, abakulu bamasomero wamu nabasomesa okubaako byebaddamu ku bigamabibwa nti bakoppa ebigezo.
Abalala abetagibwa eri akakiiko akanonyereza ku bigezo ebyakwatiddwa bebaakuuma ebigezo bino mu masomero.
Omwogezi wekitongole kyebigezo Hamis Kaheru atutegezezza nti okunonyerza kutandise, nga buli Muntu wakuweebwa ekyanaya okwennyonnyolako.
Ebigezo byabaana 279 okuva…
File Photo:Abawagizi ba Besigye
Bannakyeewa bavuddeyo nebategeeza nti ab’ekibiina kya FDC beebasinga okubeera ne manifesto ennungi mu besimbyeewo bonna
Bano baliko alipoota gyebafulumizza nga bagamba nti aba FDC bakoze ku nsonga 14 kw’ezo 25 zebassa mu manifesto gyebagamba nti yejja okutwala eggwanga mu maaso.
Manifesto ya Dr Abed Bwanika y’esinga bwegutuuka ku nsonga z’obulimi ate nga Joseph Mabiriizi…
File Photo: Mbabazi ngali mukalulu
Munna Go-Forward eyesimbyewo kububwe Amama Mbabazi olwaleero ayimirizaamu campaign zze asobole okwetaba mu kukubaganya ebiroozo okwokubiri.
Mbabazi abadde asubirwa e Sembabule wabula nga kikasiddwa nti tagenda kugendayo.
Okukubaganya ebirowoozo mu bagala obwa president kutegekeddwa abekibiina ekitaba enzikiriza ezenjawulo mu gwanga ekya Inter Religious Council wamu nekyabakadde ekya Elders Forum nga kutandika ssaawa emu…
File photo: Abesimbyewo nga bakuntana
Tewakyaali kubuusabuusa pulezidenti Museveni wakubeera omu ku besimbyeewo omunaana abagenda okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo.
Museveni ogwasooka yepena okukubaganya ebirowoozo kuno ng’agamba nti ekigendererwa kye kutuuka ku bantu ba wansi kale nga yali tajja kufuna budde budda ku TV.
Omu ku boogerera NRM Rogers Mulindwa agamba nti pulezidenti Museveni asazeewo okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo…
File photo: Abesimbyewo nga bakuntana
Dr. Shaka Ssali, Dr Joel Kibazo ne Dr. Suzie Muwanga beebagenda okukubiriza okukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa eri abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga.
Shaka Ssali munnayuganda kyokka ng’akubiriza pulogulaamu ya Straight Talk Africa mu America.
Dr Kibazo y’atwala ebyempuliziganya mu banka ya Africa eya Africa Development Bank ate Dr Muwanga y’atwala ebyobufuzi ku ttendekero ly’abayivu e…
File Photo: Abayizi nga bakoora ebigeezo
Okusunsulamu abayizi abagenda okuyingira S.5 kutandise leero, era nga abaana emitwalo 31 beebatunuulidwa.
Agavaayo galaze nga obubonero obwe essalira busigadde bwebumu n’obw’omwaka oguwedde
Amasomero nga Mbarara high school tegatwala bayizi bayita ku bubonero 21, Gayaza high school ekomye ku 12, Immaculate Heart SS bakomye ku bubonero 22, ssonga Kigezi ekomye ku buonero…
File Photo:Enyumba nga ekutte omuliro
Omuliro gukutte ekkolero ly’emwaanyi ku kyaalo Kisaaba e Kayunga ebintu bya bukadde nebisanaawo.
Ekkolero eriyidde ly’omu ku baggagga b’okukyalo Tonny Mugarura.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omuliro guno gukumiddwa omukazi omulalu asangiddwa emanju w’ekkolero lino
Bano era bagamba nti ekkolero teryandiweddewo naye tewabaddewo byuma birwanyisa muliro ate nga ne poliisi eruddewo okutuuka.
Poliisi emaze okukwata omukyala…