Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi Ge David Sejusa kkooti y’amagye emuganye okweyimirirwa nebamuzza ku mere e Luzira okutuusa nga 11 March 2016 okuwulira omusango gwe kutandike.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Col. Asingura Kagolo lutegezezza nga okunonyereza bwekuwedde.
Kkooti eno nga ekubirizibwa ssentebe waayo Maj. General Levy Karuhanga etegezezza nti General omulamba alina kweyimirirwa ba General banne sso ssi…
Gavumenti erangiridde nti olunaku lw’enkya lwakuwummula mu ggwanga wonna.
Alangiridde bw’ati ye muwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku nsonga z’abakozi Catherine Birakwate.
Birakwate agamba nti kino bakikoze okusobozesa abantu okwetaba mu kulonda abakulembeze b’ebitundu .
Abakulembeze ba zi disitulikiti balondebwa lunaku lwankya ate nga mu Kampala looodimeeya ne ba kansala lwebalondebwa
File Photo: Col Shaban Btantariza nga ayogeera
Gavumenti egamba nti gavumenti ya America keekadde esse ekitiibwa mu Uganda ng’eggwanga elyetongodde
Kiddiridde America okulagira nti gavumenti ekome okutigomya abavuganya naddala Dr Kiiza Besigye .
Gavumenti egamba nti Uganda teyetaaga buli kaseera kulagirwa ky’ekola kubanga emanyi ky’ekola.
Amyuka atwala ekitebe kya gavumenti eky’amawulire Col Shaban Btantariza agamba nti gavumenti emanyi bw’eddukanya…
File photo: Amagye nga galawuuna
Ab’ekibiina ekirwanirira eddmebe ly’obuntu mu ggwanga basabye nti wabeewo okuggya amaggye ga UPDF ku nguudo z’omukibuga zonna.
Amaggye gazinda ekibuga kati wiiki namba era nga mu bitundu ebimu bakyaliyo.
Akulira ekibiina kya Human Rights Network Mohammed Ndifuna agamba nti okulemeza ab’ebyokwerinda ku nguudo kigendereddwaamu kutiisatiisa bantu kyokka nga tekyetaagisa
Bano era bakaaye olw’abalonzi abamu…
File Photo: Mufti Mubaje
Akakiiko akataba amadiini agatali gamu aka inter religious council kasabye abantu okukozesa eddembe lyaabwe eribaweebwa ssemateeka nga balonda bebaagala kyokka mu birembe.
Mu kiwandiiko ky’awamu ekisomeddwa mufti wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje,bannaddiini bagambye nti bannansi balina okussa ekitiibwa mu bululu ate era bamanye nti ssi y’enkomerero y’ensi.
Asabye abanawangulwa basse ekitiibwa mu bivudde mu…
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
Akakiiko akalondesa kongezezzaayo obudde bw’okugabira abantu obupappula okuli ebifo gyebalondera
Okugaba obupapula buno kwaali kwakukoma ku ssande kyokka nga nakati kugenda mu maaso.
Omwogezi w’akakiiko k’eby’okulonda Jotham Taremwa agambye nti obupappula buno bwakugabwa okutuuka ku ssaawa envanyuma.
Asabye abatannaba kubufuna okusigala nga bakikola.
File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be
Eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi alabudde poliisi ku kulemesa abantu okubaawo mu kulonda kwonna nga bamaze okusuula kalulu.
Mbabazi asabye abawagizi be obutava webalondera okutuuka ng’omuwanguzi alangiriddwa
Ng’ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Kololo, Mbabazi agambye nti abalonzi balina eddembe okugoberera okulonda…
File Photo: Besigye ngali nabawagizibe
Akutte bendera ya FDC ku bukulembeze bw’eggwanga Dr Kiiza Besigye agamba nti tewali kigenda kubayigula ttama yadde okubamalamu amaanyi okulwanirira enkyukakyuka
Besgye ng’asinziira mu maka ge agambye nti amaanyi amangi agakozesebwa ku bantu tegetaagisa era galina okukoma.
Asaasidde ab’enganda z’omuvubuka eyattiddwa n’amuyita omuzira eyafiiridde mu lutalo lw’okununula eggwanga.
Besigye asabye abantu obutakoma kumulaga buwagizi…
File Photo: Omu kubafiridde mu Kulwanagana kwa police nabawagizi ba Besigye
Ab’enganda z’abantu abagambibwa okuttibwa mu kavuyo akaabadde e Wandegeya bagumbye ku ggwanika e Mulago nga bagaala mirambo gyaabwe.
Bano bagamba nti abantu baabwe battiddwa olunaku lwajjo emirambo gyaabwe negitwalibwa mu ggwanika.
Twogeddeko n’omu ku bano atatuukirizza mannya ge ng’agamba nti muganda we Daniel Nsubuga bamukubye essasi mu…
File Photo : Ekibuga Kampala
Emirimu gisanyaladde mu bitundu ebiriraanye akatale ka Kisekka ne mu katale kenyini.
Poliisi eggadde oluguudo lwe Kyaggwe nga luno lweluyita ku Eqautorial mall okutuukira ddala eri wansi nga teri wa bigere yadde motoka ekkirirayo
Kino kikoleddwa oluvanyuma lwa poliisi okufuna amawulire nti waliwo abagaala okwekalakaasa nga bavumirira okukwatibwa kwa Dr Besigye
Abasuubuzi abakolera mu…