Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Akabenje kasse munaana

Abantu 8 bafiiridde mu kabenje ka kiroole e Buikwe Kiroole kino ekibaddeko abasuubuzi ababadde badda mu katale e Ssenyi kiremeredde omugoba waakyo nekyefuula okukkakkana ng’abantu bano bafudde Addumira poliisi e Buikwe Sam Bandira atugambye nti loole ebadde mu mbeera mbi kyokka nga bakyanonyereza Kati abafudde nabalumiziddwa babaddusizza mu ddwaliro lya St Charles Lwanga.

Read More

Ab’omukago bongedde okuboggola

Abakungu okuva mu mukago gwa bulaaya kko ne America bongedde okwenyamira olw’obunkenke obweyongedde wakati wa gavumenti n’abavuganya nga buva ku byava mu kulonda omukulembeze w’eggwanga. Abakungu bano bakyaddeko mu maka ga Dr Kiiza Besigye akyaggaliddwa mu maka ge e Kasangati. Besigye agambye nti ekisinga okweralikiriza abakungu bano y’engeri abavuganya gyebatannavaayo mu bulambulukufu ku kiddako oluvanyuma lw’okuwangulwa mu…

Read More

Poliisi eremedde ewa Besigye

File Photo: Besigye nga polisi emukutte Poliisi n’okutuusa kati ekyagumbye mu maka ga munna FDC Dr Kiiza Besigye nga bano babaddeyo okuva nga 15 February.   Okusinziira ku ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura, kino kigendereddwamu kulondoola ntambula za Besigye obutaleeta kavuyo .   Wabula abantu abenjawulo okuli ne bannadiini baagala Besigye aweebwe eddembe lye elyokwetaaya nga munnayuganda omulala.   Omusasi waffe Moses…

Read More

Ab’akakiiko baanukudde abe bulaaya

File Photo : Abantu nga bisimbye olwakasota Akakiiko k’ebyokulonda kagaanye okuteekebwa ku ninga omukago gwa bulaaya okufulumya ebyava mu kulonda pulezidenti ku mutimbagano gwa yintaneti. Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa olunaku lweggulo ab’omukago guno bagamba byonna ebyava mubuli kifo webalondera birina okufuluma abalonzi baddemu okubyetegereza wamu n’abo ebesimbawo. Akulira omukago guno Eduard Kukan akkatiriza nti obwerufu okuva eri akakiiko k’ebyokulonda…

Read More

Lukwago azzeemu okuwangula obwa loodimeeya

Ssalongo Erias Lukwago azzeemu okulondebwa nga loodimeeya wa Kampala. Ono afunye obululu 176,637 okuwangula munna NRM Daniel Kazibwe Ragga Dee n’obululu obuweza 127,271. Ragga Dee afunye obululu 49,366. Ate munna DP Issa Kikungwe afunye obululu 7,759. Obululu obuwerera ddala 2,591 bwebabadde nampawengwa ate nga 461 bwonoonese. Bino birangiriddwa akulira ebyokulonda mu Kampala Charles Ntege. Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okulangirirwa ku buwanguzi,…

Read More

Okulonda tekujjumbiddwa

File Photo: Lukwago ngali mulukumwana Babiri ku besimbyewo  ku bwaloodi meeya bamaze okusuula  akalulu kaabwe . Munna NRM Daniel Kazibwe eyeyita Ragadee amaze okulonda wali mu zooni yomu Kizungu e Makindye. Wabula Ragadee asoose kwemulugunya ku bikozesebwa mu kulonda ebituuse ekikeerezi. Ne  munna DP Issa Kikungwe amaze okusuula akalulu ke wali e wankulukuku. Kikungwe ategezezza nga bwalina essuubi nti wakuwangula…

Read More

Omwana akubiddwa amasasi- bakadde be batabuse

Ab’enganda z’omulenzi eyakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa okwabadde e Kasese bakutte wansi ne waggulu nga bagaala kuliyirirwa. Taata w’omulenzi ono Ali Wabiswa agamba nti babawadde obukadde buna okukola ku byokuziika kyokka ssente zino tezisobola kuzzaawo bulamu bwa mwana waabwe. Kati bano bawadde gavumenti wiiki emu okubaliyirira oba bakulangirira ekiddirira Omwana eyattibwa ya mu kibiina kya kuna nga yagendera mu…

Read More

Besigye ayimbulwe- bannakyeewa n’ebibiina

Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu kasabye gavumenti okutwala Dr Kiiza Besigye mu kkooti mu kifo ky’okumulemesa okwetaaya. Ssentebe w’akakiiko akalondesa omukulu Meddie Kaggwa agamba nti mu kadde kano gavumenti ky’eriko kulinyirira ddembe lya Dr Besigye. Besigye yakakwatibwa emirundi etaano bukyanga kulonda kuggwa nga bwebamuggalira mu maka ge era okuva olwo taddangamu kulya butaala Kati Kaggwa agamba nti kino kirina…

Read More

Besigye azzeemu okukwatibwa

Agava e Kasangati galaga nga eyakwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr Kiiza Besigye bw’azzemu okukwatibwa . Poliisi ekutte Besigye bw’abadde agezaako okufuluma amakage era atwaliddwa mu kifo ekitanategerekeka. Mungeri yeemu ab’ekibiina kya FDC baweze obutaddukira mpapula okwalangiriddwa pulezidenti Museveni ku buwanguzi mu kalulu k’omukulembeze w’eggwanga akaakaggwa okutuusa nga Besigye ayimbuddwa. Besigye azze akwatibwa n’okukuumibwa mu…

Read More