Poliisi ya CPS eriko omuvubuka ategerekese nga Gerald Kato gwekutte nga agezaako okwekumako omuliro mu maaso g’omulyango gw’amaka g’omukulembeze w’eggwanga e Nakasero.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga omuvubuka ono bw’abadde n’akadomola ka petulooli ka liita 5 n’omufaliso nga agamba wakweyokya singa akwatibwako.
Omuvubuka ono agamba ebbula ly’emirimu n’obwavu bususse mu ggwanga kale nga…
Munnamateeka Fred Muwema yeganye eby’okulya mu yesimbawo ku bwapulezidenti Amama Mbabazi olukwe n’alya enguzi ya bukadde 900.
Muwema eby’okulya enguzi byawandikibwa ku mukutu gwa Face Book amanyiddwa nga Tom Voltaire Okwalinga eyategezezza nga Muwema olwamala okuya ezize omusango n’aguvaamu.
Mu bubaka bwebumu Okwalinga agamba yekobaana n’abalala nebamenya ofiisi ye nebabbamu obujulizi Mbabazi bweyali agenda okukozesa mu musango…
Omulamuzi wa kkooti ye Kasangati Prossy Katushabe akkirizza omusango Besigye mw’avunanira poliisi okulemera ewuwe n’emusibirayo gugende mu maaso n’okuwulirwa.
Akulira bannamateeka ba gavumenti y’abadde asabye kkooti omusango guno egugobe kubanga Besigye alina omusango omulala gweyawaaba mu kkooti enkulu sso nga n’abantu yawawabira bakyamu mu kifo kya ssabawolereza wa gavumenti.
Wabula omulamuzi bino byonna tabiwulirizza nga omusasi waffe…
File Photo: Obuuma obukozesebwa mukulonda
Poliisi ye Palisa etegezezza nga bw'ezudde ekyuma kyakakiiko k'ebyokulonda ekya ekya BVV ekibadde kyabula.
Ayogerera poliisi mu bitundu bya Bukedi Sowali Kamulya ategezezza nti ekyuma kino kyasangigiddwa mu Kabuga ke Butebo okumpi ne poliisi.
Ono atubulidde nti ekyuma kino kyabula wiiki ewedde ekyavirako okukwata abakungu bakakiiko kebyokulonda 5 nga kiteberezebwa balina ekkobaane okukibba…
Kkooti e Kasangati etaddewo olwa Bbalaza wiiki ejja okuwa ennamula yaayo mu musango gwa Dr. Kizza Besigye, mwawakanyza okumuggalira ewuwe.
Besigye yaddukira mu kooti nawawabira Ssabapoliisi Ge. Kalekaihura, omuddunmizzi wa poliisi e Kasanagati James Kawalya ngawakanaya ekyokumukumira mu maka ge nti kuno kulinyirirra ddemebe lyabwe.
Yye nno Omuworereza wa gavumenti Caroline Nabaasa asabye omulamuzi Prosy Katushabe ali…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu biveeyo bitapute amateeka agakwata ku ddembe lyobuntu eri abantu babulijjo.
Kattikiro agambye nti kino kyakuyamba abantu babulijjo okulwanirira eddemba lyabwe buli werinabanga lirinnyiriddwa.
Ategezezza nti bannayuganda obukadde 22 bogera Luganda kalenga amateeka mangi gagwana okuzzibwa mu lulimi abantu lwebategeera.
Agambye abantu basanye era basiime nebibiina byobwanakyewa anti…
Poliisi mu bitundu bya Bukedi eri mu kutya olw'omuzze gw'okusobya ku baana abatanetuuka ogweyongedde.
Okusinziira ku alipoota ya police empya , abaana 319 bebasobozeddwako mu bitundu bya Bukedi ebyenjawulo wakati wa December omwaka oguwedde nogwokubiri omwaka guno.
Emisango gyabaana emitwalo 9 mu disitulikiti 112 gyafunika mu December ate 112 okuva mu January okutuuka mu gokubiri omwaka guno.
Ayogerera…
Sejusa nebannamawulireKkooti y’amagye etuula e Makindye esazeewo okugondera ekiragiro kya kooti enkulu obutaddayo okuwozesa eyali akulira ebitongole ebikessi Gen David Ssejusa.
Kooti enkulu yali eyimirizza kooti yamagye obutagenda maaso okutuusa ngomusango Ssejusa gweyawaaba nga awakanya okumulemeza mu magye sso nga y’asaba okuwumula
Amakya ga leero Sejusa aleteddwa mu kkooti yamagye e Makindye ngekubirizibwa ssentebbe waayo Maj Gen.…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Kitebi etasizza omusajja kaggwa ensonyi eyakkakkanye ku mwana kiggala ow’emyaka 13 n'amusobyako.
Jimmy Kalyango 34 omutuuze we Kabowa mu zooni ya Sembule B yeyakwatidwa omutuuze eyawulidde amaloboozi mukiyumba agalajaana era wano n’ayita abatuuze abamukubye ensamba ggere n’empi nga poliisi ye kitebi yeyamutasizza.
Akulira ba mbega ku poliisi ye Kitebi Francis…
File photo : taapu y'amazzi
kkooti ensukululu efunye ekizibu ky’amazzi .
Bannamateeka, bannamawulire n’abantu abalala kati baddukila ku muliraano okwetawuluza.
Emidumu gy’amazzi gyafunye obuzibu era bakyagiddabiriza.
Omuwandiisi wa kkooti Tom Chemtai wabula agamba bakola ekisoboka okulaba nga buli kimu kidda mu nteeko.