File Photo:Gen Muntu nga yogeera
ssenkagale w'ekibiina w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu asabye abakulembeze ba uganda okukoma okwegulumiza, okubula okusinga ne ku katonda.
Ono okwogera bino abadde Najjanankumbi , ekibiina bwekibade kyetabye mukusaba okwawamu, mukawefube wokulagha obutali bumativu, kungeri Dr Besigye gyayusibwamu ensangi zibno
Mu kusaba kwekumu kuno , omubaka omukyala owe Dokolo Ogwal asabye abakulemebeze…
File Photo: Abayizi ba bat valley
Poliisi ye mukono eriko omusomesa gwegalidde nga kigambibwa abadde asobya ku bayizi abatanetuuka.
Travis Sekiriba omusomesa w'enyimba ku ssomero lya Tripple P P/S e Kauga Mukono y’akwatiddwa nga kyadiridde omu ku bayizi ku ssomero lino mu kibiina kyokutaano okutegeeza nyina ng'omusomesa ono bwaludde ng'amutunuza mu mbuga ya lusifa.
Kigambibwa nti omusajja ono…
Omuyaga ogwamanyi gulese abantu abali eyo mu 10 bafu sso nga n’abasoba mu 100 tebakyalina webegeka luba.
Aberabidde n’agaabwe bagamba omuyaga guno guvudde ku nkuba etonye obutasalako okuva ku ssaawa 7 ez’ekiro okutuusa ku makya.
Aduumira poliisi ye Buliisa John Rutagira agamba omuyaga guno era gutikudde obusolya ku myalo egyenjawulo e Butyaba ne Walukuba nga era abavubi…
Abantu 2 bagudde mu Nyanja Kwania nebafa oluvanyuma lw’elyato kwebabadde bavubira okubbira mu disitulikiti ya Apac.
Ssentebe w’ekyalo Wansolo David Okello agamba omuyaga ogwamaanyi gwayugumizza eryato kwebaabadde nebagwamu 2 nebafa 5 nebataasibwa.
Aduumira poliisi ya Apac Alfonse Ojangole abagenzi abamenye nga Patrick Opolot ne Peter Otekat nga bonna bava mu disitulikiti ye…
Abakulembeze b’ekibiina kya NRM basambazze ebigambibwa nti bateeseza ku ky’okwongeza emisaala gy’ababaka ba palamenti mu lusirika lw’e Kyankwanzi.
Amyuka omwogezi w’akabondo k’ababaka b’ekibiina kya NRM Denis Obuwa agamba baabadde bateesa ku nsonga za kibiina nga tebalina budde bwabino ebibungesebwa.
Agamba okwongeza ababaka emisaala tebasobola kuisalawo nga bakibiina bokka wabula ababaka ba palamenti bonna nga ne ssentebe w’ekibiina…
Bannamateeka ba munna FDC eyesimbyewo ku bwapulezidenti Dr Kiiza Besigye bavumiridde ekya kkooti enkulu okutumya fayilo y’omusango gwabwe ogubadde gulina okusalibwawo olunaku lwaleero.
Besigye ayagala poliisi egobwe mu makage gy’emusibidde bukyanga kulonda kuggwa nga era omulamuzi wa kkooti ye Kasangati Prossy Katushabe y’abadde asuubizza okuwa ensala ye olwaleero.
Omulamuzi ono era yagobye okusaba kwamunnamateeka wa gavumenti Caroline…
Waliwo abatuuze bakubye owa poliisi nebamugyamu amanyo.
James Makasi omuserikale wa poliisi ya Jinja road ,yali mukunyiga ebiwundu oluvanyuma lw’abatuuze mu zooni 4 e Mutungo okutwalira amateeka mungalo n e balumba omusirikale wa poliisi akuuma ettaka lya Martin mayeku erisangibwa e Nakawa nebamukuba nga balulanga okuwagira omubbi.
Kigambibwa nti 2011 abatuuze bonna abaali ku ttaka lino erya…
Waliwo omwana afiridde mu kiddiba ekiwugirwamu wano e Kasanga ..
Kennedy Kansiime abadde omuyizi mu Citrus stars day care kindergarten mu middle class erisangibwa e Buziga, nga ono okufa abadde agenzeko ne kojja we ku Didis world e Kasanga okuwugamu wabula namubulako nga n’omulambo gulabidwa makya galeero .
Twogeddeko n’aboluganda lwe betusanze eMulago kugwanika nga bakyikidde abadukanya…
Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ebyebibira.
Olunaku luno lukuzibwa buli nga 21 March okwongera okumanyisa abantu obukulu bw’ebibira.
Buli mwaka abantu absomesebwa ku bibira bino okulaba nga tebisaanawo.
Kati minisita omubeezi ow’ebyobutonde bwensi Flavia Munaaba agamba olunaku luno ssilwakujaguza wabula kusomesa bantu ngeri y’okukuumamu ebibira.
Abalwanilira obutonde bw’ensi beralikirivu olwa hectares emitwalo 9 ez’ebibira ezisanyiaibwawo buli…
E Rukungiri omukazi w'olubuto azadde omwana n’agwa mu kabuyonjo.
Lilian kyomukama olusitamye omwana n'amuyitamu buyisi n'agwa mu kinya era poliisi yenyuluddeyo ebujje lino.
Ayogerera police mu Uganda Fred enanga ategezezza nga poliisi bw’etuuse mu bwangu n’enyululayo omwana ono nga akyali mulamu.