Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Eyabbye Solar katono bamutte

File Photo: Amabaati agakoola amasanyalaze enjuuba Waliwo omusajja ateeberezebwa okubeera omubbi  akubiddwa emiggo n’asuulibwa mu ggombolola y’e Kibalinga Kiteeberezebwa nti omusajja ono aludde ng’abba obubaati obukwata amasanyalaze g’amaanyi g’enjuba okuva ku mayumba g’abantu, ssaako n’okuzinda ensuku z’abantu okubbamu emmere. Omusajja ono atategeerekese mannya ge abatuuze babadde balowooza nti bamusse, wabula police wetuukiddeyo ng’akyalimu akassa n’ebamukunguzza okumutuusa mu ddwaliro…

Read More

Ezisasula abaali bassabaminista zibuze

Minisitule y’abakozi ba government etegeezeza nga bwekyatoba n’eddibu lyakawumbi kalamba ezirina okusasula obusiimo bw’abaali abakulembeze mu gavumenti kumitenedera egy’enjawulo. Abamu ku balina okuganyulwa mu nsimbi zino kuliko abaali abakulembeze b’eggwanga, abaali abamyuka n’abaali ba ssabaminisita. Bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka parliament akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti, omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’abakozi Catherine Bitaralwate ategezezza nga ensonga…

Read More

Obubenje bwatuze 14 ku Easter

  Poliisi etegezezza nga abantu 14 bwebafiiridde mu bubenje obw’enjawulo nga buno bwagudewo  okwetolola eggwanga lyonna mu gandaalo lya Easter. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba bafunye obubenje 10 , 9 ku bbwo bwabadde bwamanyi wabula n’ategeeza nti bwavudde ku kuvugisa kimama n’okuvuga emmotoka zi ganyegenya. Kati nga ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e…

Read More

KCCA yeganye ebyokuggulawo ofiisi ya Lukwago

    Ab’ekitongole kya KCCA ab’ekikugu beeganye ebigambibwa nti bagguddewo ofiisi ya Loodi meeya wa kampala, erudde ebanga nga nzigale. Bano okuvaayo Kiddiridde abamu ku baali abakozi ba Loodi Meeya Erias Lukwago, kko n’abawagizi  okukeera okugezaako okuyonja yafiisi eno. Kati omwogezi wa KCCA Pater Kaujju agamba kkooti yasalawo ofiisi eno egira nga nzigale ,kale nga mpaawo kyaakyusemu. ono agamba nti…

Read More

Poliisi eyodde 140 ku Easter

  Poliisi wano mu  Kampala eriko abantu 140 beyakutte mu biseera bya Easter nga bateberezebwa okubeera abamenyi b’amateeka.   Okusinziira ku poliisi Easter yatambudde bulungi okutwaliza awamu nga era omuntu omu yekka yeyatiddwa n’obubenje obwamanyi bwabadde 2 bwokka.   Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick onyango agamba bano baabaggye ku freedom city, miniprice, Katwe, Kinyoro n’ewalala.   Bano okusinga basazi ba…

Read More

Abe Rwenzori poliisi etandise okubagyako ebissi

File Photo: Aba Police ku kabangaali ya bwe Poliisi mu bitundu bye Rwenzori ebakanye ne kawefube w’okuggya ku batuuze bomu kitundu kino ebissi oluvanyuma lw’abantu abasoba mu 20 okutibwa mu kulwanagana.   Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Lydia Tumushabe bakoze kino oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abaagala okulumba banaabwe.   Wabula agamba embeera eri mu nteeko nga era bateekateeka…

Read More

Poliisi eremesezza aba Besigye

Abawagizi b’ekibiina kya kya FDC abasoba mu 100 okuva e Rukungiri poliisi ebalemesezza okugenda okulaba ku Dr Kiiza Besigye mu makage e Kasngati. Bano poliisi ebasaliddeko e Lutete ku lw’e Gayaza.   Mu bano kuliko abakulembeze okuva mu kitundu kino abenjawulo bategezezza nga bwebatayinza kutunula butunuzi nga omwana w’eka bamusibira mu nyumba awatali musango gumuvunanibwa.   Ssentebe wa disitulikiti ye…

Read More

Ogwa Besigye gufunye omulamuzi

kyadaaki omuwandiisi wa kooti afunye  omulamuzi agenda okukola kumusango gwa Dr Kiiza Besigye , nga kino kidiridde file yomusango guno  okugibwa e Kasangati neretebwa mu kampala. Kinajukirwa nti kooti enkulu yasaba omulamuzi we Kasangati Prossy Tumushabe okuweereza file ya Besigye e kampala, nga eno yeekwata kumusango Dr Besigye mwasabira police emuivire mumakaage e Kasangati gyemukuumidde okuviira…

Read More

Omusajja alumyeko munne enyindo

File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali Waliwo omusajja abadde afunye obutakaaanye nemunne nga bali mu baala okukakana nga amulumyeko enyindo. Simon Kasaanya mutuuze mu zooni ya Church Centre mu kibuga kye Mpigi yaletedwa e Mulago  nga biwala taka, oluvanyuma lwa Peter Ssebidde   okumuluma nga banywa omwenge e Katwe. Kasaanya ategezeeza nti  y'abadde afulumyeko bweru kwetawuluzza ,bwatyo  Ssebidde…

Read More