Nga sizoni ye nsenene esembera, ekitongole ekibunyisa amasanyalaze ekya UMEME kitaddewo obukwakulizo obukakali obulina okugobererwa abakwasi baazo mu bitundu bye Masaka.
Akulira UMEME mu kitundu ekyo Petra Kyalisima ategezezza nti buli agenda okukwata ensenene alina okwewandiisa mu bakulu b’ekyalo kubanga amasanyalaze g’ebalobako gamutawaana
Kati ssentebe w’abasenene e Masaka Quraish Katongole, agamba obukwakulizo buno bwandiremesa bangi omulimu gw’okukwata…
Abakulira eby’obulamu mu district ey’eMasaka bayitiddwa mu ddwaliro e kkulu e Masaka okulaba ekyaviiriddeko okufa kw’abantu abana nga kigambibwa nti balina ekirwadde kya Ebola.
Dr Stuart Musisi nga yaakulira eby’obulamu mu district eno , ategeezezza nti abantu beeyongedde okufa mu ngeri etategeerekeka ekireese okutya mu bakulira ebyobulamu
Kigambibwa nti omwezi oguwedde waliwo omusajja Wilberforce Ssenkubuge nga mutuuze…
Amangu ddala nga okulangirira kuwedde ssabalamuzi Bert Katurebe ategeezeza nti Government egwanga etandikirewo okudamu okwekeneenya amateeka g’ebyokulonda, kubanga buli mwaka gwokulonda kino kizze kyogerwako
Ono ategeezeza nti akakakiko ke byokulonda konna keetaga kakyusibwe, kasobole okufuna ekifananyi ekigya mu bantu
Ono mungeri yeemu ayogedde kungeri omukulemebeze abeera afuga mukade ako gyakozesaamu ensimbi za government okunoonya ate akalulu, kale…
Olunaku olwaleero nate kooti ensukulumu ezeemu nekaatiriza ebyafaayo, bwetegeezza nga bwetalaba nsonga mumusango ogwawabwa Amama Mbabazi nga awakanya ebyava mukulonda kwaliwo nga 18
Abalamuzi bonna omwenda bakaanyiza nti kituufu Candidate Museveni yalondebwa mu butuufu bwetyo n’egobera dala omusango guno.
Bwabade awa ensalaye ,ssabalamuzi wa Uganda Bart Katureebe ategezezza nti yadde nga okulonda kwalimu ebilumira ebitonotono ,bino tebiyinza…
Agava mu bitundu bye Rwenzori galaze nga abantu abaduka okulwanagana nebava mu makaagabwe, kaakano bwebaboyaana olw’ebula ly’emmere eribalumbye gyebali
Kinajukirwa nti abasinga kubano beekukuma mu nkambi ye Bukwanga, wabula kakano emere ebawedeko, songa n’amazzi tebakina.
Twogedeko ne Tom Ndyanabo nga ono yakulira Red Cross e Bundibugyo natutegeeza nti mukaseera nti mukaseera kano bano besigamye ku buyambi bwa…
Abaana abali eyo mu bukadde 7 abali wansi w’emyaka 5 bebasubirwa okugemebwa ekirwadde kya Polio.
okugema kuno okwennaku 3 kutandika lwakutaano luno kukomekerezebwe ku ssande nga era awamu kwakuwementa obuwumbi 15.
Akulira obujanjabi obwabulijjo mu minisitule y'ebyobulamu Dr. Jane Achieng ,agamba kino kigendereddwamu kutaasa baana bakuno naddala nga abanonyi b’obubudamu okuva mu ggwanga lya South Sudan beyongera…
Omulamuzi wa kkooti ye Mukono MacKay Opoloti asindise omusomesa w’enyimba ku ssomero lya Triple P P/S, ku alimanda lwakusobya ku muyizi owa P5 n’amusiiga ne siriimu.
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Kigambibwa okuba nti Travis Sekiliba yasobya ku kawala kano ak’emyaka 13 enfunda eziwera nga era yali omuwala y’amuwa ssente asirike.
Omuwala ategezezza nga omusomesa ono bweyamutolosaanga…
Kizuliddwa nti gavumenti ewa buli muyizi wa pulayimale siringi 4 buli taamu ez’amazzi.
Bino byazuliddwa mu kunonyereza okwakoleddwa ab’ekitongole kya Water Aid Uganda nga bali wamu n’abekitongole Kampala Capital City Authority.
Kati nga ayogerako nebannamawulire wano mu Kampala, akulira ebyamazzi n’obuyonjo mu kitongole kino Jacinta Nangabo ategezezza nga okunonyereza bwekwakoleddwa ku masomero mu Kampala n’emiriraano.
Wabula agamba ensimbi…
Omulamuzi wa kkooti enkulu Wilson Masalu Musene ataddewo olwa nga 4 April ye mande ejja okuwa ensalaye ku kusaba kw’omusuubuzi w’emmotoka Mohammed Sebuufu okweyimirirwa.
Mu balina okweyimirira Sebuufu kuliko sheikh Nooh Muzaata Batte n’omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z’ebyamawulire Tamale Mirundi.
Munnamateeka wa Sebuufu Patrick Fula agamba dembe lya Muntu we okweyimirirwa nga munnayuganda omulala yenna.
Agambye Sebuufu…
Poliisi etegeezeza nga bwekutte abantu musanvu e Kasese nga bano bateberezebwa okuba nga bebabade baduumira obubinja obutta abantu mu kitundu kino.
Abakwate kuliko Elias Muhindo,Ali Tembo,Alex Muhindo, Nelson Bwambale ne Kapurango
Kubano kuliko ne Faruk Katakamawa ne John Kibanza nga bano basawo bakinansi ababde bawa abavubuka ebilagala nga babalimba nga bwebagenda okufuna amaanyi agenjawulo baleme okukubwa amasasi.
Wabula…