Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omusirikale yesse

Waliwo omuserikale wa poliisi eyesse mu disitulikiti ye Bukedea.   Omulambo gwa Ronald Wamatoi nga akolera ku poliisi ye Bukedia gusangiddwa nga gulengejera ku muti emabega w’essomero lya Bukedea Senior Secondary School.   Omwogezi wa poliisi mu  East Kyoga Juma Hassan Nyene, Wamatoi nga abadde y’akamala okutendekebwa y’atabuse omutwe n’ajanjabibwa wabula kirabika teyateredde bulungi kwekusalawo okwetta.   Nyene alabudde abasawo abakebera…

Read More

Abaziyiza emisango bakukkulumye

Abaziyiza emisango mu bitundu by’e Masaka bavudde mu mbeera lwa poliisi kugaana kubawandiika nga abaserikale abajuvu Bano bagamba batandika okukola nga abaziyiza emisango oluvanyuma lw’okubasuubiza nti bakuyingizibwa mu poliisi wabula kati balaba byandiba nga byonna byooya byanswa.   Omu ku baziyiza emisango Musa Mukumirizi  agamba bewaayo nebatendekebwa emyezi egisukka mu 4 nga bamanyi kiwedde bayingidde poliisi wabula kati…

Read More

Mbabazi akyalidde ab’amaka ga Amin

File Photo: Idi Amin Dada eyali omukulembeze wa Uganda Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi akyaliddeko ab’enju y’omugenzi Idi Amin ng’ono yaliko omukulembeze w’eggwanga. Mbabazi agambye nti ebyakolebwa ba jjajja ffe tebisaanye kussibwa ku bazzukulu kale ng’abantu ba idi Amin tebalina kunenyezebwa ku byaliwo Mbabazi era asabye abantu okutabagana yadde baba nga bafunye obutakkaanya Bw’amaze agenze e Boma mu Yumbe…

Read More

Abalunyanja tebamira ddagala

File Photo: Ekizinga kye Kalangala Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti yadde gavumenti etaddewo enteekateeka ezirwanyisa endwadde z’ebiwuka ku myaalo, abavubi tebazikozesa Alipoota eno ekoleddwa abe Makerere n’abalwanyisa endwadde ezireetebwa ebiwuka Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bizinga bye Koome era ng’abakukoze mwebaayise okuzuula nti yadde abamu bagenda n’okufuna eddagala, tebalikozesa Abanonyereza bano abakulembeddwaamu Doreen Tuheebwe nga bagamba nti wakyetaagisaawo okusomesa abantu bano…

Read More

Emotoka ziboyeddwa

File Photo: Emotooka ezabiwa Ebungereza Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue Authority baliko emmotoka ezaali zabbibwa ezikwasiddwa ekitebe kya Bungereza mu Uganda Amyuka akulira poliisi y’ensi yonna mu ggwanga Oyo Nyeko Benson agamba nti emotoka zino zabbibwa mu bibanda ebitali bimu mu Bungereza nebaziyingiza wano mu mankwetu Akulira ekitongole ekiwooza Doris Akol agamba nti emotoka zino tezaawa musolo era…

Read More

Amandaazi gamuzirisizza

File Photo:Empaaka zokuulya Omusajja eyetabye mu mpaka z’okudduka ng’alya akutuse omutima n’afiirawo Jeff Woods ow’emyaka 58 yeetabye mu mpaka ezategekeddwa abatunda eby’okulya ng’omuntu adduka bw’alya donat 12 okumalako mailo bbiri n’ekitundu. Omusajja ono atuuse wakati n’afuna obulumi mu kifuba era ekiddiridde kuzirika n’afa nga bino bibadde mu North Carolina.

Read More

Ogwa Zuma okulongoosa amaka ge gutandise

File Photo: Amaka ga Jacob Zuma Kkooti ey’okuntikko mu South Africa etandise okuwulira omusango ogwawaabwa abavuganya gavumenti nga bagaala pulezidenti ali mu ntebe Jacob Zuma akomyeewo ensimbi zeyakozesa okuddabiriza amaka ge. Alipoota eyakolebwa mu mwaka 2014 eraga nti Zuma yali alidde nga mulimi bweyawaayo enyumba ye erongoosebwa ng’essibwaako n’ekidiba ekiwugirwaamu. Zuma yazzaawo ezimu ku nsimbi zino nga kati…

Read More

Muneesige- Ragga Dee

File Photo: Omuyimbi Ragga Dee ngava okujayo form Omuyimbi Daniel Kazibwe amanyidwa nga Ragga Dee asabye abantu b’omu Kampala okumulonda olwo afUuke jjaja wa Kampala. Bino abyogeredde mu Kampala gy’abadde ng’atambula abuUza ku basuubuzi wamu n’okusaba akalulu akanamutuusa mu ntebe y’obwa meeya. Ono agaseeko nti abavubuka bangi abatalina mirimu mu Kampala Kyokka nga balina ebitone eby’enjawulo bye bayinza…

Read More

Museveni akalulu akayizze Mukono ne Wakiso

Pulezidenti Museveni olwaleero atalaaze ebitundu bya Mukono ne Wakiso ng’eno gy’asinzidde neyenyamira olw’obulwadde bwa mukenenya obutevunyiza mu banna wakiso. Kiddiridde abasawo okumutegeeza nti yadde mu Uganda yonna, emiwendo gy’abalina mukenenya giyimiridde ku bitundu 7 ku kikumi, e Wakiso giweza ebitundu 10 ku kikumi. Pulezidenti wano w’asinzidde n’asaba abazadde mu disitulikiti eni okwogera n’abaana baabwe ku bulwadde buno…

Read More

Besigye wakusasula abakosebwa olutalo

Dr Kiiza Besigye alumbye gavumenti olw’okulwaawo okuliyirira abantu b’omu bukiikakkono abakosebwa olutalo lwa Kony. Ng’awenja akalulu mu bitundu bye Lira, Besigye agambye nti kyannaku nti mu kadde kano, waliwo abatiisatiisa abali mu bukiikakkono bw’eggwanga nti ssinga balonda pulezidenti Museveni ssi bakuliyirirwa. Besigye bano abakakasizza nti k’akwata ku ntebe bakusasulwa awatali bukwakkulizo. Olutalo olwamala emyaka egisoba mu 20 lwafiiramu…

Read More