File Photo:Abasomesa ngali mu mutuulwa lwabwe
Abasomesa mu gutundutundu gwa greater gwa Greater Mukono baagala ssentebe w’ekibiina ekibataba Margret Rwabushaija alondebwe ku bukiise bwa plamenti obw’abakozi.
Abasomesa okuva e Mukono, Kayunga, Buvuma ne Buikwe bagamba Rwabushaija wakubakiikirira bulungi n’abakozi abalala nga bw’azze alwanirira ensonga z’abasomesa.
Ssentebe w’ekibiina ky’abasomesa eky’obwegassi Josehpine Nabuyungo agamba bbo nga abasomesa basazeewo okuwagira Rwomushana…
File Photo: Mutabaazi nga yogeera nabantu
Ssentebe wa disitulikiti ye Lwengo Geoffrey Mutabaazi ayisemu buterevu nga tavuganyiziddwa oluvanyuma lw’abadde amuvuganya okubigyamu enta.
David Bbaale nga yamegebwa Mutabaazi mu kamyufu ka NRM y’abadde amwesimbyeko nga atalina kibiina wabula asazewo okumulekera .
Bbaale okubivaamu kiddiridde enteseganya ne ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba eyabadde e Lwengo nga pulezidenti Museveni…
Balwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga basanyukidde ekiragiro kya kkooti eky’okuggya omusolo ku nsako y’ababaka ba palamenti.
File photo: Ababaka ba Palimenti
Olunaku olweggulo omulamuzi wa kkooti y’ebyobusuubuzi Henry Peter Adonyo y’akkirizza empaaba ya Francis Byamugisha ababaka bano bagibweko omusolo ku nsako yaabwe okuviira ddala mu mwaka gwa 2004.
Kati omukwanaganya w’ekibiina ekilwanyisa obuli bwenguzi ekya anti-corruption coalition Uganda…
File Photo: Kaihura nga ayogeera
Poliisi ekoze enkyukakyuka mu basajja baayo mu kitongole ky’aboogezi
Abamu ku bakyusiddwa kwekuli ababadde mu mawanga agaliraanye Uganda nga south Sudan ne Somalia nga bakuuma emirembe n’ekibiina ky’amawanga amagatte
Eyali ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Senkumbi atwaliddwa Masaka kati nga y’ayogerera poliisi yaayo.
Eyali amyuka omwogezi wa poliisi Vincent Sekate asindikiddwa Rwizi ate…
File Photo: Enyonyi ngesituka
Mu ggwanga lya South Africa enyonyi egudde n’etta abantu basatu mu kibuga Johannesburg.
Abantu basatu beebasangiddwa mu nyonyi nga bafu bajjo okusinziira ku mikutu gy’amawulire
Tekinnamanyika kiki ekivuddeko akabenje
File Photo : Abalwadde mu dwaliro
Abakugu mu bulwadde bwa mukenenya bakizudde nti eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya linafuya omuntu n’aba ng’akwatibwa mangu endwadde.
Omukugu mu kunonyereza ku ndwadde ezibuna amangu, Dr. Damali Nakanjako agamba nti bekenenyezza abantu abatandika ku ddagala mu mwaka gwa 2008 wegwatuukidde mu mwaka gwa 2015 ng’emibiri gyaabwe ginafuye.
Dr.Nakanjako asabye abantu bulijjo…
File Photo:Abantu nga bamwa waralagi
Abasogozi b’omwenge batandise kawefube w’okubangula abantu ku kabi akali mu kunywa ennyo omwenge mu malwaliro.
Omukulu mu kkampuni ya Nile Breweries Onapito Ecomoroit agamba nti kampeyini eno bagisoosezza mu bakyala abali embuto okulaba nti tebanywa mwenge kubanga gwa bulabe eri omwana.
Kawefube eno bagenda ku mutuusa mu malwaliro gonna amanene mu ggwanga.
Atwala eddwaliro…
File Photo: Abus ya kampuni ya payoniya
Eyatomerwa baasi ya Pioneer ayagala alabirirwe kkampuni ya baasi zino okutuusa mukama lw’ali mujjulira.
Tommy Bagenda ow’emyaka 34 agamba nti ku nga 21st November 2011 nga ali ku kagaali ke e Najeera , baasi eyali edduka obuweewo yamutomera okukkakkana ng’emumenye amagulu n’omugongo.
Agamba nti baasi eno yali evugibwa omusajja amanyiddwa nga…
File photo: Abesimbyewo nga bakuntana
Kimaze okukakasibwa nti nga 13 omwezi guno, abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga baakuddamu okusindana mu kukubaganya ebirowoozo.
Ssabawandiisi w’olukiiko olutegese okukontana kuno Joshua Kitakule agamba nti ensonga enkulu ezigenda okwogerwaako kwekuli emirembe, eby’okwerinda, enkolagana ya Uganda n’amawanga amalala, kko n’ebya bamusiga nsimbi.
Anyonyodde nti abamu ku bamaze okukakasa kwekuli Maj. Gen. Benon Biraro, Col.…
Bannamawulire abatambula ne pulezidenti Museveni mu kuwenja akalulu basimattuse okufiira mu kabenje
Akabenje kano kagudde mu kitoogo kye Kyoja ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara mu disitulikiti ye Lwengo.
Bannamawulire bano babadde batambulira mu motoka kika kya Prado evudde ku luguudo neyesogga ekitoogo
Atwala poliisi y’ebidduka e Masaka, James Tebaijuka agambye nti bannamawulire mukaaga beebabadde mu…