Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Lukyamuzi wakuddamu kampeyini olunaku lw’enkya

Omubaka wa Rubaga South John Ken Lukyamuzi addamu okukuba kampeyini olunaku lwenkya mu Ndeeba oluvanyuma lw’okussuuka omusujja gw’ensiri. Lukyamuzi akkirizza nti omusujja guno gwamukuba wansi olw’obutawummula wabula nga kati bamujanjabye mu ddwaliro e Rubaga nga era kati ali bulungi oluvanyuma lw’okuzirikira ku lukungaana.   Lukyamuzi  avuganya ne munnakatemba Kato Lubwama wamu n’wa NRM Faridha Mayanja.

Read More

Aba NRM bafunye omusubbaawa

Abakyala aba Uganda Women Network bakwasizza aba  NRM omusubbaawa ogwemirembe eri amyuka ssabawandiisi wekibiina Richard Todwong. Akulira UWONET Rita Aciro, agambye nti omusubbaawa kabonero ka mirembe eri bonna abagala obwa president naddala nga okulonda kusembedde. Bano bagamba bonna abegwanyiza obwa president balina abawagizi bangi eranga buli omu alina essuubi okuwangula. Bwabadde abweebwa omusubbaawa guno wali ku kitebbe kya…

Read More

Ebigezo bifulumye- abayizi abalenzi bakubye abawala

Minisitule y’ebyenjigiriza efulumizza ebyava mu bigezo bya siniya eyokuna eby’omwaka oguwedde. Abayizi bakoze bulungi okusinga ku mwaka gwa 2014. Okusinziira ku ssentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya UNEB Prof Mary Okwakol ,abalenzi bakoze bulungi okusinga ku bawala wabula nga n’abawala nabo bagezezzaako. Ye ssabawandiisi w’ekitongole kya UNEB Mathew Bukenya ategezezza nga ebigezo by’abayizi 2060 bwebyakwatiddwa olw’okukoppa okusinga ku…

Read More

Besigye ayambalidde Kaihura

File Photo: Senkagale wa police Kaihura Eyesimbyeewo ku lw’ekibiina kya FDC ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga Dr Kiiza Besigye akalakase ssenkaggale wa poliisi Gen. Kale Kayihura olw’okulumbanga abavuganya olutatadde. Dr Besigye abadde ayogerako eri abantu be Bukomansimbi agambye nti ebigambo bya Gen Kaihura ebitaggwa ng’ategeeza nga bw’atasobola kukkiriza bavuganya kukulembera eggwanga babikooye kubanga balaga ekyuuyi kimu eky’omukulu ono. Bino…

Read More

Aba boda balemezzaawo obubenje- Alipoota

File Photo:Aba boda boda nga bali ku pikipiki zabwe Ababodaboda abavuga ng’abeyuna eggulu bakyeremezza obubenje nga buli waggulu mu ggwanga. Bano nno batwala ebitundu 50 ku kikumi ku bubenje obugwaawo. Bino biri mu alipoota efulumiziddwa eb’ettendekero ly’ebyobulamu ku kasozi e Makerere. Okusinzira ku alipoota eno, ebiwundu ebisinga abantu byebalina mu malwaliro okuli n’erye Mulago byekuusa ku bodaboda Ku bantu bano…

Read More

Obululu butuuse

File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu Akakiiko akalondesa mu ggwanga kagumizza abantu nti obukonge bw’obululu obutuuse mu ggwanga bwakukuumibwa butiribiri. Bino Kiggundu ebyogedde yakwakwasibwa obukonge buno obujjidde mu nyonyi okuva mu South Africa gyebwakubibwa. Kiggundu agambye nti obululu obuweza tanni 67 buliko bifananyi by’abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga n’okukiika mu palamenti. Obululu buno obuweza obukadde 16 bubadde busuubirwa…

Read More

Amasomero gassizza obubonero

File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo Wetwogerera ng’okusunsulamu abayizi abagenda okwegatta ku masomero ga siniya  kugenda mu maaso, wabula agamu ku masomero naddala agamanya, era amakadde bwe gasazeewo okukkakkanya ku bubonero abaana kwebayingirira. Agamu ku masomero gabadde geewanise kubunonero 5 ku balenzi, kko n’omukaaga ku bawala , wabula nga kati gakakanye okutuka ku kububonero 8. Agamu kugano kuliko…

Read More

Emikwano gyegituwa ssente-NRM

File Photo: Abawagizi ba NRM Ekibiina kya NRM kivuddeyo nekitegeeza nga ensimbi zonna zekizze kikozesa bweziva mu bagabirizi b’obuyamba  nabakyagaliza ebirungi . Bano okuvaayo kiddiridde ekibiina kya transparency international okutegeeza  nga bano bwebaakozesa ensimbi  obuwumbi 27 mu ssabiiti 8 zokka , nga bano baddirirwa Amama Mbabazi n’akawumbi kamu ate Dr Kiiza Besigye n’addako nga tannaba kuweza kawumbi. Hajati…

Read More

Amaggye gagumizza bannayuganda ku buyinza

File Photo: Omuduumizi wa maggye ge gwanga katumba wamala nga seeka Amaggye g’eggwanga gakussa ekitiibwa mu bantu kyebanaasalawo mu kalulu akagenda okusuulibwa omwezi ogujja. Ssabaduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala y’akakasizza eggwanga bw’ati. Kino kizze nga Gen Kale Kaihura yakamala okutegeeza nga poliisi bw’etaggya kukkiriza kukwasa bavuganya buyinza wakiri okujjayo emmundu okutaasa eggwanga. NG’ayogerera ku mukolo gy’okuggulawo wiiki y’amaggye,…

Read More