Omukazi owe myaka 76 agambibwa okutta muzukulu we asaliddwa ekibonerezo kya myaka 18 mu kkomera.
Ono nno abadde yakamala ku alimanda emyaka 3 nga kati wakwebakayo emyaka 15
YYe muzukkulu we bwebazza emisango Hussein Lukenga asaliddwa ekibonerezo kya myaka 35 mu kkomera nga naye kati wakwebakayo emyaka 32.
Namukadde ono Hanifah Namuyanja yekobaana ne muzukkulu we omulala ayitibwa…
File Photo:Rtd. Ayesimbyewo Maj. General Benon nga yogeerako eri banamawulire
Omukago gw’ebibiina by’abakyala mu ggwanga gukwasizza eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga Rtd. Maj. General Benon Biraaro omusubbaawa gw’emirembe.
Omusubbaawa guno kabonero eri abeesimbyeewo nti bakukola kyonna ekisoboka okulaba nti okulonda kuba kwa mirembe
Akulira omukago gw’abakyala guno Rita Aciro asabye Biraaro okubeera omumuli gw’emirembe buli gy’alaga okuwenja akalulu.
Aciro agamba…
File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye
Akakiiko akalondesa tenabba kufunako kwemulugunya kwonna okukwata ku kibba bululu.
Abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bavuddeyo nebategeeza nti bagudde mu lukwe lw’okubba akalulu nga ku bano kwekuli Dr Kiiza Besigye, Amama Mbabazi ne pulezidenti Museveni
Wabula akulira akakiiko akalondesa Eng Badru kiggundu agamba nti bino bipya byogerwa bulijjo.
Asabye abalina okutya okwemulugunya mu butongole…
File Photo:Ainne nga lwanagana ne polici
Omulamuzi wa kkooti enkulu mu kampala eragidde kampuni z’amasimu okuli MTN ne Airtel okuleeta olukalala lw’amasimu agaakubibwa n’okukubirwa akulira abakuumi ba Mbabazi Christopher Aine balabe oba ddala yayogera ne kizibwe we Ezra Kabugo nga tanabuzibwawo.
Omulamuzi ategezezza nga bwebaagala omusango omukulu ogw’abenyumbaye okusaba Aine aleetebwe mulamu oba mufu guwulirwe mangu awatali…
File Photo: Abantu nga bakute ebipande
Poliisi mu ggwanga lya Senegal ekoze ekikwekweto n’eyoola abantu 900 oluvanyuma lw’abatujju okulumba ku mulirwaano mu Burkina Faso ne Mali.
Ab’obuyinza bagamba tebajja kulinda kino kutuuka waabwe nga kati bbo batandikiddewo okunhyweza ebyokwerinda nga buli gwebekengera bamuyoola.
Gavumenti era eragidde woteeri zonna okunyweza eby’okwerinda oba ssikyo zakugalwa.
File Photo:Besigye nga mubawagizi be
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr. Kizza Besigye asimbudde okwolekera ebiznga bye Kalangala okwongera okusaggula akalulu akanamutuusa ku bukulembeze bw’eggwanga.
Besigye awerekeddwako ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu, loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ssaako n’abakungu b’ekibiina abalala.
Besigye wakuyitako e Bubeke oluvanyuma agende e Kifumbira mga era wakukuba enkungaana ku…
File Photo: Nambooze ngali ne Besigye
Akulira eby’okulonda e Mukono Sarah Namugambe awabudde nti okulonda kwa municipaali eno kuyimirizibwe olw’effujjo erisusse.
Kino kiddiridde efujjo n’okulwanagana ebisusse mu kitundu kino nga abesimbyewo abawerako bamenya amateeka g’ebyokulonda.
Namugambe alumiriza omubaka w’ekitundu kino Betty Nambooze okukyankalanya olukungaana olwabadde lutegekeddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda okugonjoola obutakkanya obuli mu kampeyini.
Nambooze yecanze n’atetaba mu lukiiko…
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwewaliwo abantu abefuula abakozi b’akakiiko k’ebyokulonda nebabuuza abantu ebibakwatako ku nsonga y’endagamuntu.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kigundu agamba ekigendererwa kyabano tekinategerekeka wabula bandiba nga baagala kugotanya kulonda kw’omwezi ogujja.
E Mukono poliisi eriko omusajja gw’ekutte oluvanyuma lw’okusangibwa nga abuuza abasuubuzi ebibakwatako.
Obululu bw’abesimbyewo ku bwapulezidenti n’obubaka bwa palamenti busuubirwa okutuuka mu ggwanga olunaku lwenkya.
Obukonge buno bwakubiddwa mu ggwanga lya South Africa nga era kuliko n’abakyala abanakiikirira disitulikiti mu palamenti.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu agamba nti bakakafu nti obululu buno bwakutuuka mu mirembe era abantu tebasaanye kubeera na bweralikirivu.
Ssabapoliisi w’eggwanga Gen kale Kale Kaihura aweereddwa amagezi okussa ekitiibwa mu mateeka g’eggwanga nga bannayuganda abalala.
Kiddiridde Kayihura okuvaayo lwatu n’ategeeza nga poliisi bwetasobola kuwaayo buyinza eri ab’oludda oluvuganya gavumenti.
Bweyabadde ku mukolo gw’okufulkumya abaziyiza emisango abamanyiddwa ng aba Crime Preventers ababadde mu kutendekebwa, Gen Kale Kaihura y’ategezezza nga poliisi bw’elina olukisa okukuuma emirembe mu ggwanga kale…