File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye
Ng’ebula ennaku 24 zokka bannayuganda basuule akalulu okulonda abakulembeze abaggya, abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bakyasaggula buli kasonda okugonza emyoyo gy’abalonzi.
Akutte bendera ya FDC ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga Dr Kiiza Besigye yatandise dda okuwenja akalulu mu disitulikiti ye Gomba ng’ayimiridde mu bubuga bwe Mamba, Kifumba ne Kigezi.
Wano Besigye alamusizza ku abalonzi…
File Photo: Abantu abakuubwa boomu elugogo
Bannamateka abali ku musango gw’abantu 13 abateberezebwa okutega bbomu ezatta abasoba mu 70 mu Kampala mu 2010 olwaleero lwebasubirwa okuwaayo okuwoza kwabwe okusembayo.
Bannamateeka b’abavunaanwa nga bakulembeddwamu Caleb Alaka bebagenda okusooka okuwaayo ebyabwe olwo abagavumenti abagkulembeddwamu Susan Okalany baddeko.
Ku bavunaanwa kuliko bannayuganda 5, bannakenya 7 n’omutanzania 1.
Bano bavunannibwa kutega bbomu ku…
File Photo: Mbabazi nga e Mbale
Omuwendo gw’abantu abagaala enkyukakyuka mu ggwanga gwongedde okulinnya okusinziira ku kunonyereza okupya okukoleddwa.
Kati bali ebitundu 46 ku kikumi nga beebakasinga obungi mu kunonyereza okuzze kukolebwa
Abasinga okwagala enkyukakyuka kuliko abavubuka, abasomyeeko, abali mu bibuga n’abasajja kyokka ng’abakyala , abataasoma, n’abali mu byaalo bebasinga okwagala ebintu bisigale nga bwebiri.
Akulira ekibiina ekikoze okunonyereza…
File Photo: Kato Lubwama ne kenny Lukyamuzi nga bogeera
Akakiiko akalondesa kalabudde abesimbyeewo okukiikirira abantu be Rubaga mu bukiikaddyo ku kukozesa olulimi oluvuma.
Jon Ken Lukyamuzi ne Kato Lubwama baayitiddwa akakiiko akalondesa ku nsonga y’okwevuma.
Ng’awayaamu naffe oluvanyuma lw’okuva mu Lukiiko luno, omubaka John Ken Lukyamuzi agambye nti yeeyawaaba mu kakiiko akalondesa ng’akooye Kato Lubwama okumusibako amatu g’embuzi
Amusabye…
File Photo:Dominic Ongwen nga tambula
Okuwozesa eyali aduumira abayekeera ba LRA Dominic Ongwen kwakulagibwa butereevu ku ntimbe za TV mu byaalo ebyakosebwa olutalo lw’obukiikakkono bw’eggwanga.
Omukulu mu kkooti y’ensi yonna okuva mu Kenya ne Uganda Maria Mabity Kamara agambye nti kino kyakukolebwa mu Kampala, Gulu ne Soroti naddala ku byaalo eri abakosebwa.
Kiddiridde aba kkooti eno okulemerwa okuwozesa…
File Photo: Mbabazi ngali ne Museveni
Munnakisinde kya G0-Forward Amama Mbabazi ategezezza nga eby’okunonyereza ani aleebya mu lwokaano lwa pulezidenti bwekutalaga birowoozo byabantu kale nga abantu tebasanye kukumalirako biseera.
Nga ayogerako nebannamawulire ku Lake View Hotel e Masaka, Mbaabzi agambye nti Uganda ggwanga elikyakula kale nga tebasobola kwesigama ku kunonyereza kuno.
Mbabazi agamba abantu bangi tebasobola kweyabiza banonyereza…
File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye
Okunonyereza okuggya kulaze nga obuwagizi bwa pulezidenti Museveni bwebukendedde yadde nga akyakulembedde kati ali ku 51%
Okusinziira ku bakola okunonyereza mu nsi yonna aba Research World munna FDC Dr Kiiza Besigye ali mu kyakubiri n’ebitundu 32% sso nga Mbabazi kati ali ku 12%.
Dr Abed Bwanika ne Gen Benon Biraaro bebaddako n’ekitundu…
File Photo: Abayizi ba nga batikidwa
Abayizi abatikiddwa ku ttendekero ekkulu e Makerere basoomozeddwa okufuba okulaba nga batuukiriza ebirubirirwa byabwe .
Ku lunaku olwokubiri olw’okutikira, ssenkulu w’ettendekero lino Dr Ezra Suruma ategezezza nga ensi kati bwejudde okuvuganya kale nga abatikiddwa basanye okwewala okutuukiriza ebinabayamba okwekulakulanya.
Wabula ateegezezza nga bwekijja okusoboka singa babaeera bambisa, b’aamazima nga era basobola okukola…
File Photo:Miya nga samba omupiira
Abasawo ba ttiimu y’eggwanga the Cranes bakwekenenya obuvune bw’abazanyi Farouk Miya n’omukwasi wa goolo Ismail Watenga bwebafunye mu mupiira gwa Mali.
Omusawo wa ttiimu Ronald Kisolo agamba bakubekebejja mu ssaawa 48 okulaba oba banasobola okusamba omupiira oguddako ne Zambia ku lwomukaaga.
Anyonyola nti Miya y’amumiziddwa mu kibegabega sso nga Watenga yandiba nga yayuzizza…
File Photo: Omulwadde wa kolera
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Mbale batiddemu olw’abalwala ekirwadde kya cholera okweyongera buli lukya bukyanga kibalukawo omwaka oguwedde.
Kati abakakwatibwa Cholera bali 110.
Akulira eby’obulamu ku disitulikiti Dr Jonathan Wangisi agamba kumpi abantu 4 bebakwatibwa Cholera buli lunaku nga n’abamu bafudde.
Cholera y’alumba ekitundu kino nga 7 December 2015.
Dr Wangisi agamba ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko…