Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abe SSsembabule tebalina mazzi

File Photo: omukazi nga mwa amazzi gekidiba Abatuuze n’abasuubuzi mu tawuni ye Sembabule bibasobedde olw’ebbula ly’amazzi mu kitundu kyabwe. Abatuuze bekubidde enduulu eri mionisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kutesa.eyabadde anoonya akalulu k’okuddamu okukiikirira ab’emawogola mu palamenti. Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko Sembabule town council ne  Kikoma nga kati ekidomola ky’amazzi kigula 700. Meeya wa Tawuni kanso ye Sembabule Jude Kasekende,…

Read More

Mbabaali wakuwoleza bwereere

File Photo: Jude mbabaali nga yoyeera Eyesimbyewo ku tikiti ya DP ku bwa ssentebe bwa disitulikiti ye Masaka Jude Mbabali asuubizza okuwolerezanga abantu mu kitundu kino mu byamateeka ku bwerere.   Bweyabadde akuba kampeyini mu gombolola ye Mukungwe, Mbabali y’ategezezza nti okuva bwekiri nti munnamateeka, ky’akola akitegeera bulungi nga era y’atnadise dda okukwasanga emisango egyekuusa ku nkaayana z’ettaka. Mbabaali…

Read More

Yerabidde mukyala we ku mafuta

File photo: Esundilo lya mafuuta Omusajja abadde ne mukyala we mu motoka nebakyaama okunywa amafuta amwerabidde bw’avuddemu okweyamba Omusajja ono ategerekese nga Walter abadde adda waka mu ggwanga lya Argentina n’ayimirira okunywa amafuta Omusajja agenze okweyamba ate omukyala n’akyaama okugulayo obw’okulya kyokka omusajja olukomyeewo asimbudde motoka.

Read More

Abaana bakola mu birombe

File Photo:Abakoozi ba Tibet copper mines Ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ekya Amnesty international kirumbye kkampuni ezisima ebyobugagga mu ttaka mu ggwanga lya Democratic republic of Congo olw’okukozesa abaana mu birombe. KKampuni ezirumbiddwa kuliko Apple, Samsung ne Sony. Kigambibwa okuba nti waliwo abaana abato okuli n’ab’emyaka omusanvu abakola mu birombe. Aba Amnesty bagamba nti ensonga z’okukozesa abaana tebajja kuzikkiriza

Read More

Omuliro ku Uganda house

Poliisi eyitiddwa bukubirire okuzikiza omuliro ogukutte ekizimbe kya Uganda house Omuliro guno gutandikidde mu kifo awasimba emotoka . Kino kijjeeko amasanyalaze era lifiti zonna nezesiba.   Yye akulembeddemu abaziinya mooto Joseph Mugisa agamba nti omuliro guno guteekwa okuba nga guvudde ku tulansifooma Mugisa wabula agamba nti basobodde okutaasa ebintu bingi kubanga batuuse mu budde

Read More

Ow’enjaga akwatiddwa

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okusasaanya enjaga mu bitundu bye Entebbe. Omukwate ategerekese nga Suleiman Nyombi omutuuze wa Entebbe Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick onyango agamba nti Nyombi aludde mu mulimu guno ng’agiyingiza ne mu bitundu ebirala Ono kati akuumirwa ku poliisi Entebbe nga wakuggulwaako misango gyakwetaba mu busuubuzi obumenya amateeka.

Read More

Nambooze atabuse

Abavuganya gavumenti e Mukono balumbye poliisi olw’okubaamu kyekubiira ng’ekola emirimu gyaayo Bano abakulembeddwaamu omubaka Betty Nambooze n’ayagala obwa meeya George Kagimu bagamba nti abawagizi baabwe bangi bakwatiddwa n’okukubwa mu bukyaamu Nambooze agambye nti kati basazeewo kujeema kubanga nebwebagonda tekikola Nambooze agamba nti ensonga bazitegeezezzaako ab’akakiiko akalondesa kyokka nga tewali kikoleddwa Kyokka akulira akakiiko akalondesa e Mukono yavaayo n’ategeeza nti…

Read More

Okukubaganya ebirowoozo kujja

Oluvanyuma lw’okutegeka okukubaganya ebirowoozo eri abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga, ab’akakiiko akagatta bannaddiini batandise okutegeka okukubaganya ebirowoozo. Ngayogerako eri bannamawulire, omulamuzi James Ogoola agambye nti basazeewo okutegeka okukubaganya ebirowoozo okulala kubanga okwasooka kwatambudde bulungi Omulamuzi Ogoola agambye nti batandise okutuukirira abesimbyeewo okumaliriza ku lunaku olupya kyokka nga kyakubaawo wakati wa 10 ne 12 omwezi ogw’okubiri. Okukubaganya ebirowoozo okwa luno…

Read More

Abasomesa tebaggya kujula ku mulembe gwange-Besigye

Akutte bendera ya FDC ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga Dr. Kizza Besigye azzeemu okusuubiza okwongeza abasomesa omusaala ssinga amala n’alya obuyinza. Ng’ayogerako eri abantu e malaba, Besigye agambye nti gavumenti ye era yakufuba okulaba nti embeera abasomesa mwebakolera erongoosebwa basobole okusomesa obulungi. Besigye agamba nti  ku mulembe gwe, omusomesa wa pulayimale wakufuna emitwalo 60 ate aba siniya bafune…

Read More

abe Makerere batikkiddwa

Abayizi  ku ttendekero ye Makerere abatikiddwa olwaleero  basomozeddwa okufuba okulaba nga bateeka ettoffaali ku nkulakulana y’eggwanga. Obubaka buno bubaweereddwa ssenkulu w’ettendekero lino omujja  Dr Ezra Suruma bw’abadde akulembeddemu emikolo gy’amatikira ku kasozi k’abayivu e Makerere. Dr Suruma agamba  bano tebasanye kulinda balala kuletea nkulakulana mu ggwanga wabula nabo begatte ku mugendo gw’okukulakulanya eggwanga lyabwe. Agambye nti amaggwa mangi…

Read More