Bamalaaya balumyeeko munaabwe emimwa lwa kusiiga basajja siriimu.
Eunice Atuhairwe mutuuze we Nateete wabula nga egigye agikolera ku mabiito agamba banne baamugwiridde mu nyumba yaabwe mwebasula nebatandiika okumukuba nga bamulanga okukkiriza okwebaka n'abasajja nga talina kapiira kyokka nga akimanyi bulungi nti mulwadde.
Ono gwetasanze ku ddwaliro e Mulago ategeezezza nga ddala bwekiri ekituufu nti mulwadde kyokka abaami…
Abayizi abasoba mu 6,000 ku ttendekero lye Kyambogo olwaleero bakutikirwa ku matikira ag’omulundi ogwa 12.
Abagenda okutikirwa kuliko aba Entrepreneurship n’abalala.
Amyuka ssenkulu w’ettendendekero lino Prof. Elly Katunguka agamba kubano 2,900 bawala sso nga 3,500 balenzi.
Kubano 137 baayitidde mu ddaala erisooka.
Kkooti enkulu wano mu kampala olwaleero esuubirwa okutandika okuwulira omusango poliisi mwesabibwa okuleeta akulira abakuumi b’eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Amama Mbabazi.
Omusango guno gwakuwulirwa omulamuzi Lydia Mugambe.
Ab’oluganda lwa Aine baagala poliisi ereete Aine amaze wiiki eziwerako nga talabikako nga n’abamau balowooza nti yatibwa.
Eyawaaba Ezra Kabugo agamba yakoma okuwuliza Aine nga 14th/ Dec/2015 bweyamukubira essimu n’amutegeeza nti…
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kikakasizza nti abantu bataano beebali mu lwokaano lw’anakikulembera omwezi ogujja
Ku bano kuliko Omulangira Ali bin al-Hussein, Sheikh Salman bin Ebrahim al-Khalifa, Gianni Infantino, Jerome Champagne n’abalala
Abakungu mu FIFA bakulonda omukulu anadda mu bigere bya Sep Blatter nga 26th Zurich Switzerland.
Gavumenti ya Brazil etegeezezza nga bw’erik abajaasi emitwalo 20 b’etaddewo okulwanyisa ensiri ezireeta ekirwadde ekimanyiddwa nga Zika.
Abajaasi bano bakuva nju ku nju nga basomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu ekirwadde kino ekikwata abaana nebazaalibwa nga tebatonze bwongo.
Kiddiridde gavumenti ezitali zimu okusoberwa ku kirwadde kino ekyalumbye amawanga agawera mu bulaaya
Ekirwadde kino tekirina ddagala era nga tebakigema
Pulezidenti Museveni agamba nti tewali ayinza kutataaganya ddembe lituukiddwaako Uganda mu myaka 30 egiyise
Bino abyogeredde ku mikolo gy’okukuza nga bwegiweze emyaka 30 bukyanga NRA kati NRM etuuka mu ntebe.
Pulezidenti Museveni era agambye nti abantu basaanye okukulembera kawefube w’okunyikiza obulimu okulaba nti bafunamu akawera.
Asuubizza okukwasizaako abalimi okuva mu mwaka gw’ebyensimbi okulaba nti ebyobulimi okutwaliza awamu byongera…
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM asabye abawagizi be Bukomansimbi obutalonda besimbyewo nga abatalina kibiina mu kulonda okubindabinda.
Justine Kasule Lumumba eyakiikiriddwa minisita wa ICT Peter Nyombi Tembo okusaba kuno akukoze atongoza ebibiina by’abavubuka ba NRM e Bukomansimbi.
Lumumba okuvaayo bwati kiddiride munna NRM eyesimbyewo okukiikirira abakyala be Bukonsimbi mu palamenti Janat Nakawungu okutegeeza nga bebawangula mu kamyufu bwebabalimirira…
Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago asekeredde abaali balowooza nti eby’obufuzi bye bikomye.
Lukwago agamba abalonzi bakyamulinamu obwesige kubanga tabalyangamu lukwe.
Agamba kuluno kadda mu ntebe y’obwa loodi meeya, wakulwanyisa amateeka gonna amabi gavumenti gesibako abantu.
Ate mu mawulire amalala eyesimbyewo ku tikiti ya DP ayagala okukiikirira abe Nakawa mu palamenti Paul Kenneth Kakande asuubizza okulaba nga obwananyini…
File Photo: Abawala abakwakibwa nga bakukusibwa
Poliisi emaze okuwereza fayilo z’emisango z’abateberezebwa okukukusa abantu okubatwala mu ggwanga lya Saudi Arabia eri ssabawaabi wa gavumenti.
Mukiseera kino poliisi enywezezza Halima Abdullah nanayini kampuni ya supreme security agency emu ku kampuni ezitwala abantu ebweru okukuba ekyeyo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba ono akolera omuwarabu Mutab Pasha al…
File Photo: Abantu nga bayoora omuzira
Ekkoligo ly’obutayingira kibuga Newyork likomye nga abaayo bakyagenda mu maaso n’okusena omuzira ogwabisse ebitundu by’ekibuga ebisinga.
Ekibuga New York nga kyekisinga okubeeramu abantu abangi kyabuutikiddwa omuzira ogukyaludde okulabikako okuva mu mwaka gwa 1869.
Meeya w’ekibuga kino Bill de Blasio agamba abantu 28 bafudde olwobutiti nga era enyumba ezisinga…