Munnakisinde kya Go Forward Amama Mbabazi olwaleero kampeyini azileese wano mu Kampala nga era asookedde Kamwokya.
Kati Mbabazi ayolekedde mu bitundu bye luzira gy’agenda okukuba olukungaana.
Nga avudde e Luzira, Mbabazi wakugenda e Bugoloobi, ayitire e Namuwongo, Kibuli ku Total n’ewalala.
Oluvanyuma wakukuba olukungaana e Kikubamutwe akube olulala ku Gaba Road oluvanyuma ayolekere e Munyonyo ne Katwe.
Wakukuba enkungaana…
Omubaka wa Bugweri county Abdul Katuntu asazewo okukuba enkyukira neyegatta ku akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr Kiiza Besigye oluvanyuma lw’okumukolokota bukyanga bava mu kamyufu omwaka oguwedde.
Katuntu asabye abalonzi okuwagira abantu abatakyukakyuka mu byebogera nebyebakola.
Nga ali mu mmotoka ya Besigye avuga, Katuntu ategezezza nga Besigye bw’alemedde ku nsonga y’okuleetawo enkyukakyuka kale nga omuntu nga ono…
Akakiiko akataba abakulembeze b’amadiini agenjawulo wano mu Uganda kasekeredde pulezidenti Yoweri Museveni olw’okulengezza dibeeti y’abesimbyewo ku bwa pulezidenti gyatetabyemu.
Olunaku olw’eggulo bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Rakitula, pulezidenti Museveni y’ategezezza nga dibeeti eno bw’efanana eyamasomero ga Secondary kale nga teyalabyemu makulu kugyetabamu.
Museveni agamba okukubaganya ebirowoozo kuno kwakoperwa kuva mu Amerika ye by’atakkiririzamu.
Kati ssabawandiisi w’akakiiko…
File Photo: Uganda craines team
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kyakunyonyola Tiimu y’eggwanga ey’omupiira the Cranes amateeka g’ekikopo kya CHAN mwebetabye wali e Rwanda.
Eyakuliddemu ekibinja kya Uganda Hamid Juma agamba bakumanya enteekateeka z’okutendekebwa ssaako n’okutangazibwa ku mateeka amalala.
Mungeri yeemu omutendesi wa Cranes Micho Sredojevic agamba tiimu yawumudde bulungi nga betegekera omupiira gwenkya.
Uganda eggulawo ne…
Ba Kansala mu municipaali ye Masaka besaze akajegere lwakulwawo kusasulwa nsako yaabwe.
Ba kansala bano bemulugunyirizza mu lutuula lwa kanso olusokedde ddala omwaka guno nga era lwakubiriziddwa sipiika Stephen Lukyamuzi.
Bakansala bano nga bakulembeddwamu amyuka meeya Henry Busulwa, Sulaiman Ssenyonga n’abalala baatadde Town Clerk Edward Kiwanuka Gwavvu ku ninga anyonyole lwaki bamaze e,yezi 7 nga tebafuna nsako…
Mu disitulikiti ye Mayuge waliwo omubbi w’embuzi gwebokyezza n’abengeya ku kyalo Lugolole.
Omusajja ono atanategerekeka alumbiddwa ebbiina ly’abantu nga atambulira ku pikipiki nebamukuba nebamwokya nga kiteberezebwa okuba nti abadde atambuza enyama enzibe.
Aduumira poliisi ye Mayuge Denis Odoch agamba ne pikipiki omusajja ono kw’abadde atambulira eyokeddwa abatuuze.
Ono avumiridde abatuuze abasusse okutwalira amateeka mungalo.
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kirungo e Bukundugulu mu ggombolola y'e Kyegonza mu Gomba bwebasanze mutuuze munnaabwe nga yatemuddwa mu bukambwe.
Omugenzi ategeerekese nga Matovu Charles myaka 40 egy'obukulu.
Asangiddwa nga yasibiddwa ku muti gw'emmwanyi okumpi n'amakaage ng'alina ebiwundu ebyamanyi ku mubirigwe.
Akulira bambega ba police e Gomba Doreen Kaacho oluvannyuma atuusizza embwa ekonga olusu era okukkakkana ng'esibidde…
Poliisi ye Luweero ebakanye n’okunonyereza ku muserikale waayo eyatiddwa abazigu abatanategerekeka.
Obutemu buno bwabadde ku kyalo Lukinzi mu gombolola ye Butuntumula abatemu bwebakkakanye ku muserikale Hussein Sewaka abadde atwala poliisi ye kakinzi nebamukuba amasasi agamusse mu maka ge e Lukinzi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi, ategezezza nga poliisi bweyafunye ebimu ku bikwata ku…
Enkumi n'enkumi z'abantu bakyeyiwa ku kyalo Katebo mu ggombolola y'e Buwama okwelolera ku muti ogubadde gumaze emyaka 17 nga gwatemebwa kyokka nga kati gwasangiddwa nga gwesimbye guliko n'amatabi n'ebikoola.
Abavubi abali okumpi n'omwalo guno bagamba nti omuti guno babadde baguterekako n'ebitimba byabwe kyokka nga bugenze okukya nga nabyo biri waggulu mu matabi.
Matovu Jacob, omu ku batuuze…
Ettendekero ekkulu olwaleero lwebayanjula Ezra Suruma ku bw’amyuka ssenkulu w’ettendekero lino .
Omwogezi wa Yunivasite ye Makerere Rita Namisango ategezezza nga Suruma bw’agenda okukakasibwa mu butongole amakya galeero ku ssaawa 5 azokumakya.
Namisango agamba nga amaze okwanjulwa, Suruma wakukulemberamu amatikira g’ettendekero ag’omulundi ogwe 66 agagendera ddala okutuusa olunaku olwokutaano.