File photo: munamawulire Mark makuumbi ngali mudwaliro
Bannabyamizanyo bali mu kiyongobero oluvanyuma lw’amawulire g’okufa kwa Mark Makumbi.
Makumbi amaze ebbanga nga atawanyizibwa obylwadde bwa kookolo
Mwanyina abadde amuliko mu ddwaliro Maama Kaye atutegezezza nga Makumbi bw’afudde ku ssaawa nga 3 ez’amakya galeero.
Police nga ekuba omukka ogubalagala
E Budaka Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba FDCababadde balaba firimu y’ebyafayo bya Besigye ku luguudo.
Akavuvungano kano kabadde mu katale akakulu e Budaka.
Poliisi eganye okubaako nekyeyogera wabula nga y’asoose kutegeeza nga bano bwebabadde baleeta akavuyo ku luguudo nebabalagira okulwamuka neberema kwekubakubamu tiyagaasi.
Twogeddeko n’abamu ku banusizza tiyagaasi ono
Budaka Lug
biino wekijidde nga…
File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo
Abakulu b’amasomero mu disitulikiti ye Sembabule agakoze obubi bali mu kutya nti essaawa yonna bandibakwata ku nkoona.
Kino kiddiridde amasomero mu kitundu kino okugwa ebigezo bya PLE omwaka oguwedde bw’ogerageranya n’emyaka egiyise.
Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti Paul Nantamu Bwana, agamba amasomero mu kitundu kino gaakoze bubi nga n’ebigezo by’amasomero 3 byakwatiddwa lwakukoppa.
Nantamu…
Eyesimbyewo nga talina kibiina Prof.Venansious Baryamureeba asabye munne munna FDC Dr. Kiiza Besigye aleme kuva mu byakuva mu kwetaba mu lukungaana lw’okukubaganya ebirowoozo kubanga bw’akikola ajja kuba ayiyeyo abawagizi b’oludda oluvuganya gavumenti.
Prof. Baryamureeba agamba oba nga pulezidenti Museveni y’atidde okwetaba mu debate eno, ab’oludda oluvuganya gavumenti basanye okukozesa akakisa kano okutegeeza eggwanga zi manifesito zaabwe.
File…
File Photo: Enyanja ya akabaka egenda okudabirizibwa
Omubaka wa palamenti owa Lubaga south John Ken Lukyamuzi ayagala obwakabaka bwa Buganda buliyirire abatuuze abali mu kitundu ky’akikirira mu palamenti abaakoseddwa mu kukulakulanya akayanja ka Kabaka mu Ndeeba.
Lukyamuzi agamba enkulakulana eno y’ayandika na kulamba nsalo olwo amaka agamu gakuvaawo n’emirimu sso nga abasinga tebalina wakulaga.
Lukyamuzi agamba y’awandikidde dda…
File Photo: Police nga ekwata no kukuba tiyagasi mu abekalakasi
Abalondoola ensonga z’ebyobufuzi mu ggwanga bategeezezza nti enkola y’okuwamba abantu ekomyeewo.
Kiddiridde okuwambibwa kw’eyali akulira ba Kanyama ba Amama Mbabazi Christopher Aine
Kakensa Joel Onyango Oloka agamba nti okukwatibwa kwa Aine buli omu kw’ataddeko amaaso naye ng’abantu bangi bayinza okuba nga bawambibwa nebabuzibwaawo.
Ono era agamba nti akalulu k’omwezi…
File Photo: Ogoola ngali ko byasooma
Akakiiko akataba bannadiini abatali bamu kagamba nti tekannaba kufunako kiwandiiko kyonna okuva eri abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga ku kwetaba mu kukubaganya ebirowoozo.
Kiddiridde ab’ekibiina kya NRM okukinogaanya nnti pulezidenti Museveni ssi wakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku bannayuganda olwo ne Dr Kiiza Besigye n’akikkatiriza nti ssinga Museveni bw’atagenda naye…
File Photo: Abayizi nga bakoora ebigeezo
Abakugu mu by’enjigiriza bagaala wabeewo okulondoola enkola y’amasomero mu ma distulikiti agatali gamu.
Olunaku lwajjo ebigezo byafulumye nga kyeyoleka nti abayizi abali mu mitwalo munaana mu enkumi bbiri byeebagwa ebigezo.
Disitulikiti okuli Amudat,Yumbe ,Kween ne Lamwo zeezimu ku zaakoze obubi
Akulira ekibiina ekigatta amasomesa mu masomero g’obwananyini Patrick Onyango, obutalondoola biva mu bigezo…
File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo
Bannabyanjigiriza basabye gavumenti okukangavvula abakulembeze b’ebyenjigiriza abatafuddeyo nga disitulikiti zaabwe zongera okusereba mu bigezo by’eggwanga.
Fagil Monday nga yebuuzibwako ku byenjigiriza agamba abayizi bongera kugwa mu masomero agamu lwabakulira ebyenjigiriza kutuula mu ofiisi nebatalondoola bisomesebwa mu masomero.
Agamba olw’obutalondoolwa abasomesa bebulankanya ku mirimu ekiviriddeko abayizi okugwa kale nga basanye okukangavvulwa.
File Photo: Abayizi ba nga batikidwa
Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere boolekedde obutatikirwa lwakukola ssomo kyamu mu lusoma lwabwe olusembawo batikirwe.
Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Edward Ddumba agamba bano baali balina kukola ssomo ly’amaloboozi audio production wabula ate nebakolamu eryuebifananyi erya video production.
Agamba ensobi eno yalabibwa obudde bugenze kale n’basaba bagumikirize bagitereeze awatali kusasula kwonna batikirwe…