Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Muyimirize okuwandiisa abaziyiza emisango- Balwanirira ddembe

File Photo: police nga esomesa abantu Ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu bitadde gavumenti ku ninga eyimiriza mangu eby’okutendeka abaziyiza emisango abamanyiddwa nga ba Crime Preventers  nga eggwanga lyetegekera akalulu k’omwezi ogujja. Ebibiina bino okuli  ekya Amnesty International, Human Rights Watch, Human Rights Network Uganda, Chapter Four Uganda, ne  Foundation for Human Rights Initiative  bitegezezza nti kino kisanye okukolebwa…

Read More

Abali b’enguzi batabuse

File Photo: cissy Kagaba Abalwanyisa obuli bw’enguzi bagala gavumenti eteeke mu nkola ebyasabiddwa mu alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti. Kino kigendereddwamu kutaasa nsimbi yamuwi wamusolo okumala goononebwa. Akulira ekibiina kya Anti Corruption Coalition Uganda Cissy Kagaba agamba ebiseera bingi ebiri mu alipoota ya ssababalirizi 90% bisulibwa muguluka olwo nekikosa empeereza y’emirimu n’okukwata bubi eby’obugagag by’eggwanga. Kagaba agamba singa…

Read More

Disitulikiti ezikoze obubi ziziino

File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo Abayizi abali mu 909 bali mu maziga oluvanyuma lw’ebigezo byaabwe okukwatibwa. Mityana y’ensinze okukosebwa ng’abayizi 140 beebatafunye bigezo ne kuddako kyejonjo n’abayizi 121 abakoseddwa Abalala abakoseddwa kuliko Buyende, Kamuli ne Ssembabule. Amasomero gebakwatidde ebigezo kuliko  Bulimba primary school, Nkome primary, Mirembe public school ne St Mary’s Kaihura e Kyenjojo Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza, John Chrysostom…

Read More

Masaka municipaali y’esinze mu bigezo by’ekyomusanvu

File Photo: Abayizi nga bakoora ebigeezo Municipaali ye Masaka y’enywedde mu municipaali zonna akendo okukola obulungi mu bigezo by’eky’omusanvu ebifulumiziddwa. Municpaali eno eyisizza abayizi abaweza ebitundu 50 ku kikumi mu ddaala erisooka. Masaka eddiriddwa Mukono eyisizza bayizi abaweza ebitundu 39 ku kikumi mu ddaala erisooka ne kuddako Bushenyi ne Mbarara ku bitundu 38 ku kikumi. Abalala abakoze obulungi mulimu…

Read More

Omusirikale yekubye essasi

File Photo: Emundu ekozesebwa abakuumi Omusirikale yekubye essasi bw’abadde agezaako okutangira abasibe okutoloka. Costable Muzamiri Abinyu omusirikale ku polisi ye Kabalagala yekubye esaasi mu kugulu bw’abadde aggalira abamu ku bateberezebwa okuba ku kibinja kya bakifeesi ababadde basuza abatuuze be Kabalagala nga batudde. Abinyu agamba okwekuba esaasi abasibe basambye oluggi nebalumenya era mu kugezaako okubatayiiza, tamanyi bweyanyize mmundu neyekuba…

Read More

Atulugunyizza famire ye

File Photo: Police nga ekola ogwayo Poliisi e Kanungu ekutte omusajja wa myaka 52 lwakugezaako kulumya ba famire ye. Joshua Tugume omutuuze we Kinyasohera yakubye mukyala we n’abaana babiri okuli ow’emyaka 5 n’omulala wa gumu kitundu Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye kigezi Elly Maate agamba ntiTugume yatabuse oluvanyuma lw’okusanga nga bafumbye ebyenyanja kyokka nebagabira ko ate ng’ekyenyanja…

Read More

Bwanika wakunazaako abe Kiboga ennaku

File Photo: Abed Bwanika owa PDP ngali mukalulu Akutte bendera y’ekibiina kya PDP ku bukulembeze bw’eggwanga Dr. Abed Bwanika akakasizza abantu be Kiboga nti  kavuna alya obuyinza abe Kiboga ne Kyanykwanzi tebajja kuddamu kujula mu byenjigiriza, mu byobulamu, ebyemirimu n’enguudo. Bwanika bw’abadde ayogerako eri abe Kiboga agambye nti abalimi wakubawa ebikozesebwa okusobola okufunamu akawera mu kulina basobole…

Read More

Ogwa Aine gwa mwezi guno

File Photo:Ainne nga lwanagana ne polici Kkooti etaddewo olunaku 27th omwezi guno okutandika okuwulirirako okusaba okwakolebwa b’enganda za Christopher Aine eyabuzibwaawo omwaka oguwedde. Aine nga yeeyali akulira ba kanyama ba Mbabazi yabuzibwaawo nga kati abenganda ze bagaala poliisi emuleete nga mulamu oba nga mufu Omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno Lydia Mugamba y’alangiridde ennaku z’okuwulirako omusango. Kizibwe wa Aine…

Read More

Mbuga ajjiddwaako emisango

Kkooti e Makindye ejjeewo emisango egibadde givunaanibwa omusuubuzi w’erinnya SK Mbuga nga gino gyakukuba mukyala we Leilah Kayondo. Omulamuzi Richard Mafaabi agambye nti akizudde abagaalana bano baategeragana nga tewakyaali kwemulugunya kwonna. Omulamuzi agambye nti mulimu gwa kkooti okutumbula enkolagana wakati w’abantu ababa batakwatagana mu kifo ky’okuzitankuula nga y’ensonga lwaki bamujjeeko emisango. Mafabi agambye gwebaakuba yenyini yakola ekiwandiiko ng’asazaamu…

Read More

Tekinologiya ayambye nnyo abayizi okukola obulungi

Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo ategezezza nga abayizi okweyongera okwewandiisa  bwekivudde ku nkozesa ya tekinologiya wa compyuta okuwandiisa abayizi bano. Alupo atenderezza nyo enkola ya bonna basome evuddemu abayizi abangi bwebati abayise era n’akubiriza abazadde okwongera okweyunira amasomero gano. Ono avumiridde abazadde abakuumira abaana baabwe ewaka nebadda mu kuvuba n’okusiika amandaazi mu bisera by’okusoma. Minsita agambye nti abaana banji…

Read More