Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Basatu bafiiridde mu kabenje

Abantu 3 baafudde n’abalala 7 bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’akabenje akaagudde ku nkulungo ye Kawaala akawungezi akayise.   Loole eyabadde ekubyeko ensawo z’amanda y’alemeredde omugoba waayo ku kasozi n’edda emabega neyevulungula enfunda olwo nesabala abaabadde okumpi.   Aduumira poliisi ye Kawempe  DPC Hashim Kasinga  ategezezza nga abasinze okukosebwa beebo abatundila chipusi ku luguudo n’ababadde mu buwoteeri bwokukubo. Abaafudde bategerekese…

Read More

Aba FDC bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye Ab’ekibiina kya FDC beekubye endobo nga kati bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa eri abo bonna abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga. Omwogezi wa FDC Ibrahim Semujju Nganda agamba nti baliko enkiiko zebatuddemu n’abategese  okubaganya ebirowooza era nga bakkirizza nti Besigye agende abeewo. Besigye yali yakomba kw’erima nti tajja kuteesa nga Museveni taliiwo. Wabula Ssemuju agambye…

Read More

Seya akyaali ku Museveni

File Photo: Seya nga jjeyo foomu okwesimbawo mu 2016 Eyaliko meeya wa Kampala Alhajji Nasser Ntege Ssebaggala avuddeyo n’awakanya ebigambibwa nti kati ate ayagala pulezidenti Museveni alekulire. Amawulire gafulumye olwaleero nga galaga nti Ssebaggala yabadde kati awagira ekya pulezidenti okuvaako kubanga afuze emyaka mingi nga n’eby’akoze nabyo bingi. Sebaggala agamba nti kituufu Museveni ajja kuwummula kyokka nga kati…

Read More

Abavubuka bagaala mirembe

File Photo: Abavubuuka nga bogeerako eri banamawulire Abavubuka bekozeemu omulimu nga bakutambuza enjiri y’emirembe. Abavubuka bano bagaala kukubiriza banaabwe kwetaba mu kalulu kyokka nga tebakoze mivuyo gyonna. Akulembeddemu abavubuka bano Martin Muganzi agamba nti kino bakikoze okutumbula akalulu akalimu emirembe. Yye omusumba eyawummula Zac Niringiye agamba nti emirembe giyinza kuva mu kuteesa kwokka Bishop Zac agamba nti ensonga nyingi eziyinza…

Read More

Omukozi eyakabasanya omwana addiziddwaayo e Luzira

File Photo: Omukozi eyakabasanya omwana ngali mu kooti Omukozi w’emyaka 22 eyemoolera ku mwana wa mukama we omulenzi ow’emyaka 5 n’amukozesa ebya bakulu addiziddwaayo e Luzira mu kkomera. Christine Nakato emisango gye egy’okukabasanya akalenzi gyakuwulirwa mu lutuula lwa kkooti enkulu oluliddako Nakato omutuuze we Walufumbe e Kyanja yeeyali alabirira omwana ono ng’omukozi w’awaka kyokka nga buli mukama we…

Read More

Abadde aloga omulamuzi akwatiddwa

File Photo: Abantu mukoti Omusajja ow’emyaka 80 Issa Kiwanuka agguddwaako emisango gy’okuyita w’alina okukma ng’ali mu kkooti. Kiwanuka omutuuze we Mityana yakwatibwa kyeere ng’assa eddagala mu ntebe y’omulamuzi wa Buganda road Jamson Karemani n’ekigendererwa ky’okutta omusango Kiwanuka avunaaniddwa wamu ne Alice Nalule agambibwa okumuwa eddagala lino ng’ayagala bate bba . Bba avunaanibwa misango gyakwezibika nsimbi mu mankwetu Nalule ne Kiwanuka…

Read More

Ebola awedde mu Liberia

File Photo: Abasawo nga bafuyira edagala okuziyiza Eboola Eggwanga lya Liberia lirangiriddwa ng’eriweddemu ekirwadde kya Ebola. Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu kyekirangiridde bino oluvanyuma lw’ennaku 42 nga tewali afunye bulwadde buno. Liberia yegasse ku Guinea ne  Sierra Leone abasooka okulangirirwa nti tebakyalina Ebola Wabula ekibiina kino amawanga gano gakusigala nga gatoba n’ebirekeddwa ekirwadde kino ekyatta abantu abasoba mu…

Read More

Okutendeka abakozi kutandise

Ettendekero ly’abakozi erya East Africa, litandise okutendeka abakulembeze b’abakozi mu Uganda. Mu kadde kano ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakozi bisoba mu 40 nga byonna bisindise abakiise babiri mu kutendeka okuli e Masaka. Omu ku bakiise b’abakozi Arinaitwe Rwakajara agamba nti ekigendererwa kubangula bantu bantu ku ngeri y’okulwaniriramu eddembe ly’abakozi. Agambye nti abakozi abasing batulugunyizibwa olw’obutamanya nga z’ensonga zebaliko kati.

Read More

Munnamawulire ayagala buyambi

Ab’enganda za munnamawulire Andrew Lwanga betaaga doola emitwalo 5 okutwala mutabani waabwe mu America okujjanjabibwa enkizi eyakutuka. Maama wa Lwanga, Jennifer Lwanga ategeezezza bannamawulire nti mutabani we takyasobola kutuula yadde okuyimirira ate nga n’abasawo ba wano babawadde amagezi okugenda ebweru Lwanga owa WBS TV yakubwa eyali atwala poliisi ya kampala mukadde Joram Mwesigye bweyali addukanya emirimu egya…

Read More

Bataano bafiridde mu kabenje

Abantu bataano beebafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Bundibugyo okudda e Nyahuka. Ki FUSO namba UAR-673J nga kitisse emmwaanyi kiremedde omugoba waakyo nekisabaala owa  bodaboda abadde atisse abantu 2 Omwogezi wa poliisi e Rwenzori Bakari Mugga agamba nti akabenje kano kagudde ku kyaalo Bugombwa nga wano waliwo akaserengeto era ng’emotoka eno eremereddwa okusiba n’etta abagibaddemu…

Read More