Bya Ndaye Moses
Abakyala aba-Karamaja abawangaliira ku nguudo, basabye gavumenti okusaawo polojekiti ezenjawulo, okubayamba okwejja mu mbeera gyebalimu.
Bano bagamba nti basabiriza mu Kampala kubanga balina abaana, era balaina okubatusiza ekyokulya.
Bano bagamba nti mpaawo nkyulalyuka enatukibwako, nga bbo bali ku nguudo bakyabonabona nabaana baabwe.
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni akangudde ku ddoboozi ku bumenyi bwamateeka obukudde ejjembe mu gwanga.
Presidenti Museveni asinzidde Mityana ku mikolo gyokukuza olunnaku lwabakyala, natageeza nti poliisi ebaddemu obunafu ekiwadde abamenyi bamateeka mu bibuga, okwejiriisa.
Museveni yemulugunyizza kungeri abateberebwa okutemula abantu e Masaka gyebatoloka mu kooti jolyabalamu.
Wabula asubizza, nti gavumenti ye keyalinnya ku nfeete…
Bya samuel ssebuliba.
Minister akola ku nsonga z'ekikula ky'abantu omukyala Janet Mukwaya atenderezza abakyala olw’okubeera abasaale mukulwanyisa mukenenya, nga ono kaakano aganze akendeera mubuzito.
Minisita agamba nti abakyala b'egwanga abalina akawuka kano eby'okumira edagala bakitutte nga ekikulu, wabula nga abasajja bo bakyali bamunyoto.
Ate bo abali mu kakiiko akataba abakyala mu gwanga aka National women council kasabye…
Bya Samuel Ssebuliba.
Ebifaanayi bya Alex Esagala.
Agava e Mityana ku mikolo gy'abakyala galaga nga omukulembeze we gwanga bwamaze okutuuka ku kisaawe kye Busubizi nga eno wewali emikolo emikulu egy'okukuza olunaku lw'abakyala.
Omukulo guno gutambulidde wansi w'omulamwa ogw'okutumbula embeera zomukyala oomukyalo, naye aganjulwe mu bibala ebyomwenkanonkano gwabakyala.
Bino nga bigenda mu maaso byo ebibiina ebitaba abakyala bitegeezeza…
Francis Mugerwa.
E Kakumiro Police eriko omusajja gw’ekutte, nga ono kigambibwa nti yazze kumukyalawe namutta nga amulanga kugaana kumuwa nsimbi Shs.5000 zaabadde amubanja.
Ono okukwatibwa agiddwa ku kyalo Kikoora mu gombolola ye Kakinso gyabade yeekwese, oluvanyuma lw'okukozesa ejambiya natema mukyalawe Norida Komwaka namutta.
Ebyakazuuka biraga nti bano bwebaafuna obutakaanya mubudde obw'ekiro, omwami nga abanja omukyala 5000, kale mubusungu…
Bya Eriya Lugenda.
Omulamuzi wa kooti enkulu ey'e ukono Margret Mutoni aliko omusamize ggwaakalize amayisa oluvanyuma lw'okumeggebwa omusango ggw'okusaddaaka omuntu.
Godfrey Wasswa ow'emyaka 24 nga mutuuze w'ekitimbwa mu district ye Kayunga yawereddwa ekibonerezo kino nga kiddiridde okukkiriza nga bweyasaddaaka Saulo Kajura eyalina emyaka 19 ng'ono era yali Crime Preventer.
Oludda oluwaabi lutegeezeza nti omuwawabirwa omusango guno yaguza mu…
Bya Ruth Anderah
Omusajja ow’emyaka 22 agambibwa okusangibwa nga asobya ku kawala ak’emyaka 7 gyoka asindikiddwa mu kkooti enkulu atandike okuwerenemba n’omusango, gw’okusobya ku mwana atanetuuka.
Bogere Julius ng’akumibwa mu kkomera e Luzira okuva mu mwezi gw’omwenda 2017 olwaleero asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi lye ddaala erisooka Beatrice Kainza amusindise mu kkooti enkulu…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ye Mukono eriko mmotoka gyeyasuuza ababbi, kika kya Loole ISUZU namba KCA 522/D nga kigambibwa nti yali yabbibwa okuva mu gwanga lya Kenya.
Mmotoka eno yakwatiddwa mu kibuga e Mukono ngebadde ennonyezebwa okuva lweyabbibwa omwezi oguwedde.
Samuel Waituru omutuuze we Nakuru mu gwanga lya Kenya, yeyabbibwako emmotoka eno.
Omuddumizi wa poliisi e Mukono Rogers Sseguya…
Bya Derric Wandera
File photo: Owe byokulonda mu NRM
Ekiwayi kyabavubuka mu kibiina kya NRM kiwandikidde omukulembeze we gwanga, ssentebbe wekibiina Yoweri Museveni nga bagala agaobe, ssentebbe webyokulonda Dr Tanga Odoi mbagirawo.
Mu bbaluwa eno gyebawandiise nga March 6 2018, NRM ono bagala agobwe olwebigambo bye byebagamba nti bimenya amateeka gekibiina.
Dr Odoi abadde ananenya sswanadiisi wa NRM Justine…
Bya Kyeyune Moses
Ssabapoliisi we gwanga omugya Okoth Ochola, atandise emirimu gye egyamulonzezza.
Bwabadde yakamala okulabikako eri akakiiko ka palamenti akasunsula abalondeddwa, akakubirizibwa spiika Rebecca Kadaga, Ochola atambudde butengerera obutabaako kyanyega eri abamawulire waddenga bangi babadde bamulindiridde nabamu nebabaako ebibuuzo byebamukasukira.
Enkola etera okuberawo, abakava mu munda mu kakaiiko kano, okwogerako nabamwulire ku mbeera nga bweba egenze.
Ochola banamwulire…
