Bya Ruth Anderah
Eyali omubaka wa Bubulo West mu palamenti Tonny Kipoi Nsubuga olwaleero avunaniddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ento e Nakawa nasindikibwa mu kkomera e Luzira.
Ono asomeddwa emisango egyekuusa ku kukusa abantu 20 okuva mu district ye Bukedea okubatwala ku muliraano mu gwanga lya DR. Congo.
Kipoi aleteddwa mu maaso gomulamuzi Jamson Karemani amusindise ku…
Bya Shamim Nateebwa.
Ebitongole by'obwanakyeewa ebirondoola embalira ye gwanga wansi wa civil Society Budget Advocacy Group bategeezeza nga bwebadiwalirizibwa okutwala okwemulugunya kwabwe mu parliment nga bawakanya eky'okuleka edagala nerikadiyira mu materekero ga gavument kyoka nga abelyetaga bangi.
Bano okuvaayo kidiridde minisitule ekola ku by'obulamu okutegeeza nga bwewaliwo edagala eriwereza dala tone nga 1500 ezigenda okwokebwa .
Bwabadde ayogerako…
Bya Ritah Kemigisa.
Akakiiko akakola ku by’empuliziganye aka Uganda communications commission kaliko amateeka amakali gekawade kampuni z'ebyempuliziganya , nga kino kigenderedwamu kukendeeza ku bakozesa esimu zino mubumenyi bwamateeka.
Kati bano basazeewo nti tewali agenda kukirizibwa kutembeeya oba kutunda airtime ne card z’amasimu okujako nga afunye olukusa okuva mu kitongole kino.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire,akulira akakiiko kano Godfrey…
Bya Ivan Ssenabulya
File Photo: Ababoda boda mu kampeyini
Abagoba ba boda Boda basabye ssabapoliisi we gwanga, omugya Martin Okoth Ochola, okwongera amanyi mu byokwerinda nokulwanyisa obubbi bwa pikipiki naddala mu Kampala nebitundu ebyetoloddewo.
Ochola okulondebwa ngobubbi bwa pikipiki nokutemula abagoba nobutayibwa kwamanyi mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.
File Photo: Aba boda boda nga bogeeramu
Bwabadde ayogerako naffe, ssentebbe waba…
Bya Samuel Ssebuliba.
Mu Kenya omukulemebeze we gwanga lino Uhuru Kenyatta ko nemune owomukago gwa National Super Alliance Raila Odinga basisinkanye nebakaanyiza okukomya okulwanagana, bakolere wamu okuza kenya ku ntiko.
Bano munsisinkano gy'ebabademu leero, bakaanyiza nti bonna ekibalwanya kenya kubeera bulungi, wabula nga kino tebayinza kukituukao nga balwanagana, kale nga balina okukaanya.
Oluvanyuma lw'akafubo kano omukulembeze we gwanga…
Bya Samuel Ssebuliba
Abakyala basabiddwa okukulembera kaweefube w’okulwanyisa enkola ey’okukomola abakyala efumbekedde mu mawanga ag'obugwanjuba bwa Africa, ko n'amalala nga uganda Kenya ne South Sudan.
Jaha Dukureh nga ono yakulira ekibiina ekya Big Sister Movement,ekirwanyisa omuze guno mu Africa agamba nti kitutte ebanga nga enkola eno abagabirizi b'obuyambi bebagirwanyisa, kale nga kino kyekiseera n'abakyala benyini…
Bya Samuel Ssebuliba.
Mu district ye Rubanda Police etandise okunonyereza ku ngeri omuvubuka wa myaka 19 gyeyetugidemu mu kaduukulu ka police .
Afudde ategerekeseko lya Gerald lyoka nga ono mutuuze ku kyalo Nyarurambi mu Rubanda district.
Twogedeko ne Elli Matte ayogeera police ye Kigezi n'agamba nti omuvubuka ono yabadde akwatiddwa ku bigambibwa nti yabbye obukadde buna , wabula…
Bya Ruth Anderah.
Abalamuzi 6 abagenda okutuula mu kooti y'ensi yonna olwaleero lwebagenda okulayizibwa , nga kuno kwekuli ne munayuganda omukyala Solomy Balungi Bossa nga guno mukulo guli mu Hague ekya Netherlands.
Abalamuzi abalala abagenda okulayizibwa kwekuli Luz del Carmen avude mu -Peru, Tomoko Akane avudde mu -Japan, Reine Alapini avudde mu Benin, Kimberly Prost avude mu…
Bya Getrude Mutyaba.
E Kyotera Police eri ku muyiggo gw'abasibe e 14 abatolose mu kaduukulu ka poliisi .
Abasibe abaatolose kigambibwa nti baabadde ku misango gya kukwata bwana buto,kutulugunya,kubba saako n'okufuweta enjaga.
Omusirikale atayagadde kwaatuukiriza mannyage agamba nti bano baasimye ekituli mu kisenge ky’akaduukulu nebatolokoka.
Twogedeko n’akulira poliisi ye Kyotera Godfrey Babaranda naagamba nti okutoloka kwabano kwavude ku basirikale…
Bya Sam Sseabuliba
Abatuula ku kakiiko akataba abakyala mu gwanga aka women council basabye omukulembeze we gwanga okuteeka amaanyi mu kunonyereza ku kitta bakyala, n’okuwamba abantu okugenda mu maaso mu gwanga.
Bwabade asoma obubaka obuvude mu kakiiko kano, omubaka Asamo Hellen Grace, akikirira abantu abaliko obulemu ku mibiri agambye nti abakyala bangi bazze batibwa, wabulanga mpaawo ayamba,…
