Bya Abubaker Kirunda
Omukazi owemyaka 27 attiddwa abatamanya ngamba mu district ye Mayuge.
Omugenzi ye Rose Nantale ngabadde mutuuze we Bwonda zone C mu gombolola ye Malongo.
Ono kigambibwa nti waliwo abamukubira essimu mu kiro kya Sunday nga bamusaba okumusisisnkana, wabula abe waka bagamba nti okuva olwo teyadda, oluvanyuma bazudde mulambo.
DPC Dianah Namutunzi ategezeza nti omulambo baguzudde ku kyalo …
Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abayizi ku ssomero Mayuge Hill senior secondary school mu gombolola ye Buwaya omuyizi owa S3 bwakalidde mu kisaawe, bwebabdde mu kutekebwe.
Hamis Betonyeza abadde aweza emyaka 17 yafudde mu ntiisa bwebabadde bazannya omupiira.
Omuddumizi wa poliisi mu district ye Mayuge Dianah Namutunzi akaksizza ekikangabwa kino.
Namutunzi ategezezza nti abagezezaako okutwala omwana ono mu ddwaliro…
Bya Ivan Ssenabulya
Omukubiriza wa district ye Mukono Emmanuel Mbonye awanjagidde ekitongole kya Operation Wealth Creation okwanguyanga okutuusa ensigo eri abalimi naddala mu budde buno obwokusiga.
Ono agamba nti ensigo okulwawo okutuuka eri abalimi kiviraako okusiga ekikerezi era nekivaako enjala mu bana-Uganda ate noluusi byebassize obutamera.
Mbonye asabye gavumenti okuddamu okutunuliira enkola yemirimu mu kitongole kino, okukakasa nti…
Bya Sam Ssebuliba
File Photo:Omwogezi wa police mu kampala ne mililwano
Police eriko enkyukakyuka zeekoze mu basajja baayo abawerera ddala 88, nga bakyusiddwa nebasindikibwa mu bifo ebyenjawulo.
Abamu bakyusiddwa kuliko Patrick Onyango ngakomezeddwawo ngomwogezi wa police mu Kampala nemiriraano.
Abalala abakyusidwa kuliko John Mwaule, agenze mu district Rukiga.
Nyangoma Grace agiddwa ku Old Kampala natwalibwa e Paidha ate Byarugaba Patrick…
Bya Ivan Ssenabulya
File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao
Democratic Party bagamba nti police bweba yakutereera elina okukyusibwa kumpi yonna, nadala eri abasirikale ab’okuntuko.
Bwabade ayogerako ne banamawulire ku office zekibiina ku City House, ssenkaggale wa DP Nobert Moa agambye nti okugoba kaihura mpaawo kyekitegeeza, kubanga kakano police yonna yavunda dda.
Bano bagala wabangaibwewo akakiiko okunonyererza ku poliisi…
Bya Malik Fahad.
Police e Sembabule ekutte omusajja nga ono kigambibwa nti yabadde aduumira abanyazi ababissa emmundu, nga bano bebasse n'abantu babiri mu bunyazi bwebaakoze ku Sunday
Akwatiddwa mutuze we Nakasenyi e Sembabule , nga bano kigambibwa nti bebaalumbye eduuka ely'emigaati elya William Byarugaba ku kyalo Ntete nebanyaga ensimbi eziwerako
Abattibwa kuliko Scovia Kemirembe ne Rafael Walugembe, nga…
Bya samuel ssebuliba.
Eyaliko ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr kizza Besigye ategeezeza nga ekyagobezza Gen Kale kaihura bwekitakwatagana nakulemwa mirimo gya police , wabula kutandika kujeemera mukamaawe.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano ku luguudo katonga Besiigye agambye nti munayuganda tagwana kwerimba nti omukulembeze we gwanga abade tamany bunafu bwa kayihura wabula bino byonna abade abikweka okutuusa lw'amukooye…
Bya Franklin Draku
Ebibiiina by’obwanakyeewa bisabye Ssabapolice we gwanga omujja Martin Okoth Ochola okwanguwa okulongoosa ekifananyi kya police kyebagamba nti kibade kiwedewo.
Bano okuvaayo kidiridde okugobwa kwa Ssabapolice abadeko Gen Kale Kayihura, nga kwogasse ne mune bwebaba kumbirannye era minister w’obutebenkevu Gen Henry Tumukunde.
Twogedeko n’akulira omukago ogugatta ebibiina byobwanakyeewa ogwa NGO Forum Richard Ssewakiyranga n’agamba nti…
Bya Ssebuliba samuel.
Ekitongole kyensi yonna ekikola ku byabaana ekya UNICEF kitegeezeza nga abaana abafumbirwa nga bakyali bato bwebazze bakendeera munsi yonna nga ne uganda mw’ogitwalidde
Bano bagamba nti abaana abasoba mu bukadde 25 bebatangiddwa okufuna embuto, ko n’okufumbirwa mu myaka ekumi egyakayita .
Okunonyereza okuliwo kulaga nti kubuli baana bataano omu asanginwa nga afumbiddwa nga tanaweza myaka…
Bya Benjamin Jumbe
Ministry yebyobulamu etegezeza nti abantu 137 bebakafa ekirwadde kya kinenya mutwe.
Kino kibikuddwa minister webyobulamu Jane Aceng mu lukungaana l;wabanamawulire lwatuzizza.
Kino kidiridde eggulire aba NTV lyebafulumizza oluvanyuma lwokutukako mu maka agenjawulo, nebalaga engeri ekirwadde kino gyekitawanyamu abantu.
Minister ategeeza nti akayasembyeyo okufa, lwali lunnaku Lwakusattu wiiki ewedde wabula nategeeza nti mu district ye Oyam, Lira…
