Bya Tom Angurini
Poliisi egumizza egwanga nti ebyokwerinda biri gulugulu, wakati mu kwetegekera ebbinu lyokulaba ku kikopo kya World cup nga 6th March ku cricket Oval e Lugogo.
Samson Lubega avunayizibwa ku nkolagana ya poliisi nabe bweru, yakaksizza bwati mu lukungaana lwabanamwulire lwatusizza olwaleero.
Ekikoppo kya World Cup kya kitiibwa era kya muwendo ku mutendera gwensi yonna, nga…
Bya samuel Ssebuliba.
Police olunaku olwaleero yegasse ku kaweefube w'okugaba omusaayi, era nga abaserikale nga 200 bebakunganidde wali e bwebajja leero okugaba omusaayi.
Tutegeezeddwa nti ono yomu ku kawefube ow'okukuza sabiiti enamba ey'abakyala, era nga bino ebikujuko bigenda kukomekerezebwa nga 8th omwezi guno ku lunaku lw'abakyala.
Twogedeko ne Joyce Helga Nassuuna , nga ono avudde mu…
Bya musasi waffe.
Mu gwanga lya Kenya waliwo abasawo abagobeddwa, nga kigambibwa nti ono aze kumulwadde omukyamu n'amulogoosa obwongo, kyoka nga sigwabadde alina okukolako.
Amawulire getufunye okuva ku mukutu gwa Standard media ogwa Kenya gulaga nga abagobedwa bwekuliko abakola mukifo omulongosebwa abantu, ko ne nurse nga bano bebade bakola mukiro ekyo webalongoserezza omulwadde ono.
Akulira edwaliro lino Lily…
Bya Ritah Kemigisa.
E Makerere agavaayo galaga nga omusomesa Dr Swizen Kyemuhendo eyayogerwako nga ayegadanga n'abaana okubawa obubonero bwalagiddwa okugira nga elekulira nga bwakyanonyerezebwako.
Kinajukirwa nti sabiiti ewedde waliwo TV waliwo eyamufuula ensonga , bweyamukolako egulire erilaga nti ono mukukabasanya abaana akwata kisooka.
Kati ekiwandiiko kyetufunye okuva ew'omwogezi wa Makerere omukyala Ritah Namisango kiraze nga ono bweyayitibwa nga…
Bya Samuel ssebuliba.
Abakulira oludda oluvuganya government omukyala Winnie Kiiza ategeezeza nga bwagenda okuwaliriza parliament eve muluwumula eteese ku nsonga eno mu bwangu.
Ono wavirideyo nga abagwira mukaaga bebakafiira mu gwanga mu mwezi guno oguwedde, songa olunaku olw'egulo omuwala Suzan Magara eyawambibwa natibwa mubukambwe naye yaziikiddwa e Hoima.
Kati bwabade ayogerako ne banamawulire , Kiiza agambye nti mukaseera…
Bya samuel Ssebuliba.
Police mu district ye Kapchorwa ekutte omusajja wa myaka 44 nga ono alangibwa gwakudda ku kaana ka myaka 8 nakasobyako.
Ono akwatidwa okuva ku kyalo Karasa mu gombolola ye Kaptanya mu district ye Kapchorwa.
Ayogerera police yeeno Rogers Tayitika agambye nti ono akaana keyasobezaako kabade kava kuluzi, kyoka kabade kakomawo nakavumbagatira okukakana nga akasobezaako.
Akaana kano…
Bya Moses Ndhaye
Government eragidde ekiwayi ekikola ku mutindo gw’ebyenjigiriiza mu ministry ekola ku by'enjigiriza okwanguwa okunonyereza ku masomero agasomesa obusawo era agatatuukana na mutindo gagalwe
Kuno okusalawo kukoleddwa minster akola ku by'enjigiriiza ebyawagulu Chrysostom Muyingo, nga ono ategeezeza nga amasomero gano bwegameruka buli kadde kyoka nga nekyegasomesa tekimanyiddwa.
Ono agamba nti singa mpaawo kyamaanyi kikolebwa okuyimiriza…
Bya Moses Ndhaye.
Government esabiddwa okwongera okuteeka ensimbi mu bigwa tebiraze mu gwanga, nadala mukaseera kano egwanga nga likyatawaana n’ababundabunda.
Kuno okusaba kukoleddwa omukwanaganya wa parliament n'ebibiina by'obwanakyeea Jeef Wadulo, nga ono ategeezeza nti government egwana eteekewo amakubo ag’enkomeredde agayinza okuyitwamu okudukirira ebigwa tebiraze awatali kupapa.
Ono agamba nti mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogujja 2018-2019 government egwana okuteeka…
Bya samuel ssebuliba.
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bulonzi mu town council ye Kasambya e Mubende omukazi bwakute ejambiya n'atemako omwana we gwazaala omutwe nga entabwe eva ku bbawe kuwasa mukazi mulala.
Nabukera Harriet ow’emyaka 30 yaavudde mu mbeera nakakana ku mwanawe gwazaala Jjuuko Akilewo ow’emyaka 4 namutemako omutwe nga kino akikoze okwesasuza bbawe olw'okuwasa omukazi omulala…
Bya Ivan Ssenabulya
Eyali omulondoozi wemirimu mu kitongole kya ISO Teddy Cheeye afudde.
Cheeya atomeddwa ka boda boda e Nakawa bwabdde atambulamu.
Cheeye abadde yakadda okuva mu kkomera gyeyamala emyaka 6 bweyasingisbwa emisango gyokubulankanya ensimbi za Global Fund mu mwaka gwa 2009.
Omuddumizi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Frank Mwesigwa akakasizza akabenje kano, wabulanga okunonyererza kukyagenda mu maaso.
Pikipiki emutomedde…
