Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti enkulu Wilson Masalu Musene alabudde okugoba omusango oguvunanibwa abantu 19 abayisiraamu agamabibwa nti bekobaana okwagala okuvunika gavumenti.
Kino kidiridde oludda oluwaabi okulemrerewa okuleeta abajulizi baayo, ababde basubirwa okulabikako olwaleero mu kuwlira omusango guno.
Omuwaabi wa gavumenti Racheal Bikhole asabyeyo akadde akatono okutuuka olunnaku lwenkya omusango gwongezebweyo, asobole okwetereeza.
Abavunanwa kuliko Aisha Nakasibante nazaala…
Bya Sam Ssebuliba
Police eriko abasajja babiri bekubye amasasi agabattiddewo, ngaq bano babadde bakakatanye nomugemera wala nga babadde bagezaako okusala omukazi obulago e Bweyogerere, ku luguudo lwe Jinja mu munispaali eye Kira.
Bano kigambibwa nti babade batambulira ku boda boda, gyebawanuseeko okuyimiriza mmotoka kika kya nebalumba omukazi abaddemu ngomusabaze.
Kibadde kya mukisa nti wabaddewo mmotoka ya poliisi ebadde…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Mukono ekutte omuvubuka agamabibwa okukira akaana ak’emyaka 2 nakasobyako.
Hassan Kendi owemyaka 18 omutuuze we Nabuti mu kibuga Mukono yakwatiddwa oluvanyuma lw’okukwatibwa lubona n’akaana ka mulirwana we.
Omuddumizi wa poliisi e Mukono Rogers Sseguya agamba nti bazadde b’omwana ono bamunonyezza nga tebamulaba wabula bagenze okuwulira ng’akabira mu nyumba yomukwate.
Bya Ritah Kemigisah
Gavumenti esabye abakulembeze ku mitendera gyonna, okukunga abantu okudda ku buvunayizibwa bwabwe okuliisa abaana emmere ku masomero.
Minister owebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysostom Muyingo okwogera bino, abadde ku mikolo gyolunaku lwokuliisa abaana ku Kololo S S.
Ategezeza nti 60% ku baana abasoma mu Uganda tebalya byamisana, era babeera mu njala eyekitalo.
Olunnalu lwa African day of…
Bya Sam Ssebuliba
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alaze obwetaavu okugayo etteeka okulungamya amalwaliro agajanjaba ekirwadde kyobugumba mu Uganda.
Obubaka bwe obumusomeddwa, omumyuka womukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu Jacob Oulanya bwabadde mu lukungaana olukwata ku kuzaala nobugumba olusokedde ddala mu Africa, olubumbujidde ku Seen Hotel mu Kampala.
Ategezeza nti gavumenti yewaddeyo okutereeza embeera yebyobulamu.
President Museveni era atenderezza…
Bya Ivan Ssenabulya
Ministry yebyamawulire mu gwanga lya Tanzania erangiridde nga bweweze ennyimba za Diamond Platinumz olwokumenya amateeka gebyokumpewo.
Ennyimba eziriko akabuuza kuliko Hallelujah ne Waka Waka.
Abakulu bemulugunya ku video zennyimba zino, nti maulimu amazina agengeri era agobuwemu, ekikontana nobuwangwa.
Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze be Kigaya mu gomboloola ye Najja mu district ye Buikwe bakubye omulanga nti bayamabibweko gavumenti okubasembereza amassomero mu kitundu kyabwe.
Bano bategezeza nti essomero lyebalina ku mwalo, abajaasi ba minsita omubeezi owamazzi Ronald Kibule balyonoona.
Bino byava ku nkyana ku tteka minister lyeyali yagula.
Sound: Abatuuze Golomolo
Wabula akulira ebye'njigiriiza e Buikwe Bill Tomusange
abasabye okubeera abakakamu…
Bya Ruth Anderah
Omwana omulenzi ow’emyaka 16 avunaniddwa natalibwa mu kkomera lyabaana e Naguru lwakusangibwa ne kamulali wa police.
Mubiru Abdul Rahman avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Patrick Talisuna neyegaana omusango gw’okusangibwa n’ebintu bya gavumenti.
Kigambibwa nti omwana ono nga February 21st 2018 e Kamwokya mu Kampala yasangibwa ne kamulali wa…
Bya Paul Adude
Police ku mwalo gwe Kasenyi mu Town council ye Katabi Entebbe eriko omulambo gwezudde nga gubadde gukukusibwa ku kimotoka kika kya kabangali namba UAW 994/W.
Kino kidiridde abamu ku bavubi okubaguliza ku poliisi nti waliwo bebalabye nga baliko byebasiba mu kiveera nebateberezza nti yandiba omuntu.
Aberabiddeko bagambye nti ekigugu kino kijidde ku lyato nekitekebwa ku mmotoka…
Bya Getrude Mutyaba.
E masaka : Wabaddewo katemba ku court e Masaka abasibe babiri bwebabuuse okuva mu kaduukulu ka court , nga eno ebadde ekubirizibwa akulira court ento e Masaka Samuel Munobe gy'abadde akubiriza.
Abasibe abatolose kubaddeko Musa Galiwango saako ne Muhammad Kiddawalime nga bano bavunaanibwa emisango egyanaggomola okuli egy’obutemu saako n’obubbi.
Omulamuzi Munobe atubuulidde nti nakati akyali…
