Bya Abubaker Kirunda
Omusawo wekiannansi akwatiddwa poliisi mu district ye Luuka nga kigambibwa yegadanze nakaana akemyaka 14, ngalimba nti akajanjaba.
Omukwata ngatemera mu myaka 60 mutuuze we Buwaiswa mu gombolola ye Kitayunjwa mu district ye Kamuli.
Ssentebbe wa district ye Luuka Tom Kutegana olwategedde bino nakwata omuganga ono, namuwaayo eri poliisi.
Kigambibwa nti ono yalimbyelimbye akawala kano nti akakolako mikolo…
Bya Ruth Anderah
Banawulire ba Red Peppere 8 baziddwayo ku alaimnda e Luzira okutukira ddala nga 19, December.
Omuwaabi okuva mu kakiiko akebempuliziganya aka UCC Abdul-Salam Waiswa asabye omulamuzi wa kooti ya Buganda Road James Ereemye Mawanda obutayimbulwa abavunanwa 8 ngategezeza nti waliwo okutya nti bano bandiddamu, emisango gyejimu okutatana ebyokwerinnda bye gwanga.
Waiswa agambye nti bano bwebanayimbulwa nebaddayo…
Bya Ivan Ssenabulya
Akulira ekitongole kya Oxfam International Winnie Byanyima azeemu okwesammula ebyokwesimbawo okuvuganya ku bukulembeze bwe gwanga mu kalulu ka bonna akanaddako.
Bwabadde awayaamu nabomukuttu ogwa BBC oluvanyuma lwokuzza obugya endagaano ye ku Oxfam, Byanyima agambye nti kyalubiridde mu kiseera kino kwekulanirira eddembe lyabatalina bopgerero, mu nsi yonna okusukka ku Uganda.
Winnie Byanyima nate yawererddwa emyaka 5…
Bya Kyeyune Moses
Nampala wababaka abavuganya gavumenti era omubaka wa munispaali eye Kiira, Ibrahim Ssemujju Nganda ategezeza nti tagenda kwetaba mu nsisinkano eno, ngaweze nokukunga babaka banne obutagyetabamu.
Ssemujju naye agamba nti akakiiko kaava ku ntekateeka eyalina okugoberewa.
Aye yye omubaka owa Igara West mu palamenti Raphael Magyezi yemulugunya olwokulwisaawo ebbago lye, lyeyaleeta songa agamba nti lyagalwa nga…
Bya Benjamin Jumbe
Ababaka abawakanya ekyokukola ennongosererza mu ssemateeka, okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, abesambye ensisinkano yomukulembeze we gwanga essubirwa akwungeezi kano.
Akaiiko ka palamenti akamteeka akawungeezi kano kasubirwa okusisinkana pesidenti Museveni mu maka gobwa presidenti Entebbe, wakati mu kufuna endowooza zabantu mu kyekaliko okwekennenya ebbago eryayanjulwa omubaka wa Igara West Raphael Magyezi.
Mu lukungaana lwabanamawulire…
Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko ka palamenti akamteeka, akali ku mulimu gwokwekennenya ebbago lye nnongosereza mu ssemateeka, okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga kakusisinkana omukulembeze we gwanga Yoweri K Museveni emisana ga leero.
Akakiiko akakubirizibwa omubaka Jacob Oboth Oboth kakusisinkana presidennti Museveni mu maka gobwa presidenti Entebbe, ngoluvanyuma bakuvaayo ne alipoota.
Ennongosereza ezayanjulwa omubaka wa Igara West Rapheal…
Bya Ndaye Moses
Gavumenti ebakanye ne kawefube okuwandiisa abasawo abappya okwetoola egwanga.
Akulira ebyabakozi mu ministry yebyobulamu, Jane Asiimwe ategezeza nti balagidde obukulembeze bwazzi gavumenti ezebitundu mu district 30 okujjuza ebiffo 627 ebikalu ebibadde bireeswo omuwatwa mu malwaliro.
Kuno era kuliko amalwaliro nga Uganda Cancer Institute ne Butabika Mental hospital namalala.
Ekiragiro kino kyatandise okukola okuva nga December 1st…
Bya Benjamin Jumbe
Ssentebbe wekibiina ekigatta abakozi mu gwana ekya National Organization of Trade Unions, Usher Wilson Owere atenderezza abasawo abazalisa olwokusazaamu akediimo kebabadde balangiridde okutandika nolwaleero.
Kino kidiridde okukaanya okwatukiddwako wakati wa gavumenti nabasawo bano, mu nsisinkano gyebetabyemu eyabadde ekubirizibwa ssbaminista we gwanga Dr. Ruhakana Rugunda.
Gavumenti yeyamye nti yakuddamu okwekennenya omusaala gwabasawo bano nabakozi ba gavumenti…
Bya Sam Ssebuliba
Kamalabyonna Buganda Charles Peter Mayega ayambalidde Ssabanyala Baker Kimeze namulangira okukulembeze ensonga omutali okulemesa enkulakulana.
Kinajukirwa nti mu mwezi oguwedde Katikiro bweyali ategeka okukyala kwe’Bugerere mu nkola eya Mwanyi terimba, Kimeze yali ayagala katikiro asooke okumusaba olukusa.
Kati bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olwaleero, Katikiro Mayega agambye nti abakulembeze bagwana bakome okukulembeze ensonga omutali,…
Bya Ritah Kemigisa
Abantu babulijjo bamanyidde ddala enguzi kyeki newebayinza okuloopa naye bangi, tebafuddeyo okwenyigira mu lutalo.
Bino byogeddwa kalisoliiso wa gavumenti, omulamuzi Irene Mulyagonja bwabadde ayaniriza ekibinja ekysindikibwa nga 28th November okutalaaga, mu lutabaalo olwa wiiki enamba okulwanyisa enguzi.
Mulyagonja ategezeza nti okuyita mu kwebuuza kwebabaddemu nokukubaganya ebirowoozo e Mbarara, Lyatonde, Kabarole nemu bitundue ebiralala bazudde nti…
