Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Abasajja ebyokulwanyisa ssiriimu babyesambye

Bya Ritah Kemigisa Abatakabanira ebyobulamu bakubye omulanga bingi ebikyetagisa okukola, okusikiriza abasajja okwetaba mu lutalo olwokulwanyisa akawuka ka mukenenya. Okusinziira ku kunonyereza okugya okwakoleddwa abekibiina, Rakai Health Science Program abalwadde bakawuka abakyala abali ku ddagala bakola 72% nga bali waggulu wabasajja abali ku 61% mu district ye Rakai mwokka. Okusinziira ku munonyereza omukulu Prof David Sserwadda, wetagisaawo enkola…

Read More

Olwaleero lunnaku lwa ssiriimu

Bya Ivan Ssenabulya Olwaleero 1st December, olunnaku olukuzibwako okwejjukanya ku kawuka ka mukenenya. Olunnaku luno lwabangibwawo ekibiina kyamawanga amagatte mu mwaka gwa 1988, okumanyisanga abantu ku kabi akali mu ssiriimu nokujjukira abanagi abaluguzeemu obulamu. Ebibalo okuva mu kitongole kyebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization biraga nti abantu obukadde 35 bebafudde ssiriimu, okuva ekirwadde ino lwekyakakasibwa mu…

Read More

Palamenti ekungubagidde omulamuzi Kikonyogo

Bya Kyeyune Moses Palamenti ekungubagidde eyali amyuka ssbalamuzi we gwanga, omugenzi Leticia Mukasa Kikonyogo eyafa wiiki ewedde. Mu lutuula olwenjawulo akakwungeezi ka leero, omumyuka wa speaker Jacob Oualanyah ayogedde ku mugenzi Kikonyogo ngomulamuzi abadde alafubanira enfuga eyamateeka, obukulembeze obulungi nokwetengerera kwe ssiga eddamuzi. Ekiteeso ekyokusiima omugenzi nemirimu amakula gyakoledde egwanga kireteddwa omumyuka wa Ssabaminisita General Moses Ali nekiwagirwa…

Read More

E Mukono gwebasanze nga’bba amatooke bamusse

Bya Ivan Ssenabulya Abatuuze bomu Kiwala e Lwanyonyi mu ggombolola ye Nama mu district ye Mukono, bakidde omusajja gwebasanze ngabba amatooke nebamukuba okutuuka okumutta. Omugenzi ngatemera mu myaka 28, nga musubuzi wamatooke, asangiddwa nga ayunja amatooke mu lusuku lwomutuuze, obudde bwebubadde busasaana. Omuddumizi wa poliisi e Mukono Rogers Sseguya, akaksizza ettemu lino, era navumirira nekyokutwaliira amateeka mu naglo. Wabula…

Read More

Ssabasajja akungubagidde omugenzi Kokonyogo

Bya Shamim Nateebwa Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omumyuka wa ssabamulamuzi wa Uganda . Mu bubaka bwa Ssabasajja bwawerezza omwami womugenzi Omwek. Joseph Kyagulanyi Kikonyogo nga busomedwa omumyuka wakatikkiro asooka Emmanuel Ssendaula wali mu lutiiko e Lubaga, bulambikidwa nokusaasira okungi. Ssabasajja atusizza okusasira eri ba mulekwa nabenganda bonna, mungeri eyenjawulo nakubagizza Eklezia katolika olwokufirwa omukiriza omugindivu eyaweebwa nekitibwa…

Read More

Eteeka ku bakazi abasobya ku basajja lijja.

Bya samuel ssebuliba   Ababaka ba Parliament abakyala abaludde nga balafubana okulaba nga eteeka ku kikolwa eky’okusobya ku bakyala liyisabwa, kati bagamba nti baagala kugatako n’akawayiro akalala akavunana abakyala abasoba ku basajja. E bago lye teeka lino elya sexual offences bill 2015, lirudde nga liwakanyizibwa abasajja nga abasinga bagamba nti liffa nyo kubakyala bokka, songa liyinza n’okusansula amaka. Kati…

Read More

Police ezudde omulambo wano mu Industrial Area.

Bya Andrew Baagala. Wano mu industrial area ku luguudo number munaana okumpi ne office za total, Police eriko omulambo gwezuddewo nga guzingidwa mu bokisi negusulibwa mu kidumu ekitwala amazzi Aberabideko nagaabwe bagamba nti omulambo guno gubadde gw’amusajja, wabula nga abaamusse bamutemyetemye nebamuteeka mu kibokisi olwo nebakiwagika mu mwala nga ekigendererwa. Kiteberezebwa nti abaakoze kino babade baagala amazzi  ag’enkuba…

Read More

Nigeria egobye abakozi 4,000 ebalanze kubeera bazembe.

Bya samuel ssebuliba. Mu Nigeria government etaamye  n’egoba abakozi  abasoba mu 4,000  mu saza lye Kaduna nga bano ebalanze kubeera bazembe. Abakulu mu government bagamba nti government ebadde efiirwa ensimbi nyingi mu bakozi nga bano abakungaanya omusala  kyoka bwekituuka mukukola nebaddira waka. Guno sigwegusoose government okugoba  abakozi balugojamye nga n’olwasoka abasomesa 22,000 baagobwa lw’okugwa bibuuzo byebaali bagenda okugabira…

Read More

Abalunzi aba-Turkana ababa ente mu Karamoja beraliikirizza amagye ga UPDF.

Bya Steven Ariong.   E Karamoja  abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo  olunaku olw’egulo baasibye mukafubo ak’enjawulo nga bateesa kubutya bwebagenda okulwanyisa  abalunzi aba Turkana abava mu Kenya nebanyaga ente mu  Karanoja. Olukiiko luno lwayitiddwa aduumira amaggye ge gwanga Gen. David Muhoonzi , minister we  Karamoja Eng John Byabagambi ,kko nabakulira ekibinja ky’amagye eky’okusatu e Moroto. Bano webaviirideyo  nga  abalunzi…

Read More

Mukome okusabiriza gavumenti- Pulezidenti akyomedde abakulira ebibuga.

Bya Malik Fahad. Omukulembeze we gwanga Yoweri kaguta Museveni awadde amagezi abakulembeze b’ebibuga eby’enawulo okufuba okulaba nga bayiiya engeri gy’ebafunamu ensimbi ez’okudukanya emirimo gyabwe, mukifo ky’okusabiriza government. Kuno okuwabula Museveni akukoledde masaka bwabadde agulawo tabamiruka w’abakullira ebibuga eby’enjawulo ebagatura mukibiina kyabwe ekya Urban Authorities Association of Uganda ababade bakunganidde wali ku Hotel brovad. President asabye abakulembeze bano okufuba…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play