Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Aba UPDF mu Somalia babanja kati emyezi 3

Bya Samuel Ssebuliba Amagye ga Uganda amakuuma ddembe mu gwanga lya Somalia kitegezeddwa nti, teganasasulwa akasiimo kati okumala emyezi. Okusinziira ku minister owabazirwanako Bright Rwamirama abaana battu basemba okusasulwa mu August owomwaka guno. Rwamirama abadde alabiseeko mu kakaiiko ka palamenti akebyokwerinda nensoga zomunda mu gwanga, ategezezza ababaka abatuula ku kakiiko kano nti kivudde ku mbaliirra yaabwe eyomwaka gwebyensimbi…

Read More

Bamusse lwakubba mwanyi

Bya Abubaker Kirunda Abatuuze abakaawu bakidde omusajja owemyaka 40 nebamukuba okutuka okumutta, nga bamulumiriza okubba emwanyi. Bino bibadde ku kyalo Nakawa mu town council ye Bowa mu district ye Bugiri. Omugenzi ategerekese nga Simon Pamba nga kigambibwa nti abadde aliko kiro ze mwanyi 15 zeyabbye okuva ku mutuuze omu ku kyalo kyekimu. Akolanga omuddumizi wa poliisi mu district ye Bugiri,…

Read More

Gwebatebereza okubba ente bamusse

Bya Malikh Fahad Police mu district ye Kalungu etandise okunonyereza kungeri abatuuze gyebatwalidde amateeka mu ngalo nebatta omusajja gwebabadde batebereza okubba ente. Omugenzi poliisi emumenye nga Asuman Mutumba omutuuze we Birongo mu ggombolola ye Lwabenge, mu district ye Kalungu. Kigambibwa nti Mutumba ono bamuguddeko lubona mu kiraalo kya Simon Peter Kalanzi ngabba ente, abatuuze nebamutandikako okumukuba okutuusa lwasizza…

Read More

Bamubbyeko emitwalo 2 nebamusalako amattu

Bya Shamim Nateebwa Abaziggu abatanaba kutegerekekka balumbye omusajja abadde ava okukola nebamusalako amattu nebamunyaggako ensimbi ze emitwalo 2. Patrick Hahebwa omutuuze we Matugga ali mu dwaliro ekkulu e Mulago anyiga biwundu nokwerarikirira obanga anasigala awuliira oluvanyuma lwabazigu abamukbye nebamukekejjulako namattu. Ono ategezezza nti akola gwakwettika miguggu mu Owino nga yabadde yakatuuka e Matugga wapangissa nebalyoka bamugwako ekiyiifu yiifu.

Read More

Essigga eddamuzi likungubagidde omulamuzi Kikonyogo

Bya Ruth Anderah Ssabalamuzi we gwanga Bart Katureebe akungubagidde omulamuzi, omugenzi Leticia Mukasa Kikonyogo, ngategezeza nti kya nnaku kubanga afudde tanafuna kasiimo ke, olwemyaka 39 gyeyamala ngawereza ekitongole ekiramuzi. Omugenzi mukama yamujjulula okuva mu bulamu bwensi ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde oluvanyuma lwokugwirwa ekimbe ekyomuima ekyamangu. Ssabalamuzib ajjukizza gavumenti okutukiriza obweyamu bwayo eri abalamuzi nabakozi bekitongole. Omugenzi amwogeddeko ngabadde…

Read More

Bannasayansi bayiiyiza akapiira akaliko compyuta.

Bya samuel ssebuliba.   Mu Bungereza abakugu mu by’okunonyereza baliko akapiira ka kalimpitawa kebayiiyiza nga kano omuntu bwakambala alina obusobozi obusoma ebyafaayo by’omuntu akambadde nadala abakyala beyakegatta nabo, amaanyi g’ekisajja gaalina, kko n’obukodyo bwakozesa, kko nebirara. Obupiira buno obutuumidwa i.Con, buliko ka Application akakwatagana ne simu y’omuntu aba akambadde, kale nga buli kyekazudde kigenda butereevu ku simu. Abakoze akapiira…

Read More

Gen Mugisha Muntu akakasizza nga bwatagenda kudduka mu FDC.

Bya Damalie Mukhaye.     Agava mu kibiina kya  FDC agavayo galaga nga abadde President w’ekibiina kya FDC Gen Mugisha Muntu bwakakasizza nga bwatagenda kuseguka okuva mu kibiina kya FDC nga abamu bwebabade balowooza. Gen Muntu agamba nti okusinziira kubyava mukulonda kuno okwakagwa munne Patrick Amuriat mweyamuwangulira, bingi ebyavaayo, era nga bimuteeka mukifaanayi ekibbi dala, wabula  nga bino…

Read More

Loodi meeya ne Musisi bakontanidde mu kakiiko ka palamenti

Bya Kyeyune Moses Akakiiko ka palamenti akensonga zobwa presidenti kanenyezza nnyo abakulu mu kitongole kya KCCA, olwobukambwe bwabakwasisa amateeka. Kino wabula bakitadde ku kwerumaruma wakati wakulira emirimu egyekikugu Jennifer Musisi ne Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago. Ababiri bano olwaleero balabiseeko mu kakaiiko kano, akakubirizbwa omubaka omukyala owa distrct ye Adjumani Jesca Ababiku  okunyonyola kun kola yabakwasisa amateeka.   Lukwago…

Read More

Palamenti etandise okunonyereza ku Bbanka enkulu

Bya Kyeyune Moses Akakiiko ka palamenti akuvunayizbwa ku kulondoola ebitongole bya gavumenti nebyobugagga ebigwa mu kkowa eryo, katandise okunonyereza ku Bank ya Uganda enkulu. Akakiiko akakubirizibwa omubaka we Bugweri, Abdul Katuntu kasisinkanye abakulu okuva mu Banka enkulu, ababdde bakulembeddwamu Governor, Prof Emmanuel Mutebile. Okusinziira ku Katuntu, betaaga okumanya ngakakiiko ssente mmeka eziri mu mikono gya banaka enkulu, era…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play