Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Aba Red Pepper basimbiddwa mu kooti

Bya Ruth Anderah Abakulu 8 okuva mu kampuni yamwulire eya Red pepper publication bavunaniddwa mu kooti ya Buganda Road, emisango 7 okuli okufulumya amawulire agatabangula ebyokwerinda bye gwanga, agatatana abakulembeze era agobulimba. Bano kuliko abakulu abokuntikko, Richard Tusiime, Johnson Musinguzi,  Patrick Mugumya, Arinatiwe Rugyendo, nabalala. Abalala kuliko banamwulire Richard Kintu, James Mujuni,  Ben Byarabaha ne Francis Tumusiime. Omuwaabi wa…

Read More

Abantu babbiri bafiiride mu Nyanja Nalubaale.

Bya Abubaker Kirunda. E Mayuge waliwo abantu 2 abafiiride mu nyanja nga kino kidiridde elyato mwebabade batambulira okubbira mu Nyanja Nalubaale. Abafudde kubadeko Alex Elumata ow’emyaka 35- ne Justin Onyong nga bonna batuuze be Kayanja mu gombolola ye Malongo. Ayogerera police yeeno James Mubi agambye nti bano babade bagenze kuvuba, kyoka omuyaga negukuba elyato okukakana nga bagudde mumazzi. Mukaseera…

Read More

Abantu babbiri battidwa e Bulenga.

Bya Ritah Kemigisa.     Wano e Bulenga mu Wakiso district agavaayo galaga nga bwewaliwo abatamanya ngamba abakedde okutta abantu 2 , nga bano babade bakozi ku sundiro ly’amafuta elya loris Oils. Bwabadde ayogerako ne banamawulire, ayogerera police ya uganda Emilian Kayima agambye nti abakwatiddwa kuliko Andrew Byonanebye nga ono abadde atunda mafuta kko ne Ibrahim Ssengooba nga…

Read More

E Rubanda abasse omuntu bayiggibwa.

Bya samuel ssebuliba. Oyo ye Elli matte ayogerera police ye Kigezi. Mu district ye Rubanda  Police  eyigga abasajja 3 nga  bano bagambibwa okukakkana ku munaabwe wa myaka 57 n’ebamutta. Bano bagambibwa  okutta David Bangomwabo  omutuuze we Gwakamu mu gombolola ye  Muko  nebamutematema nga ensonga  zeekusa ku nkayana za taka. Okunonyereza kwa Police okusooka kulaze nga ono bweyalina enkayana z’etaka…

Read More

E bukomansimbi abateberezebwa okubeera abazzi b’emisango 50 bakwatiddwa.

Bya Malik Fahad       E Bukomansimbi police ekutte abantu abasoba mu 50, wakati mu kaweefube owokulwanyisa obumenyi bwamateeka. Abakwatiddwa okusinga baggidwa mu bitundu nga Kagologolo, Kawooko, Butenga ne Bukomansimbi  newalala. Twogedeko ne Lameck Kigozi ayogerera Police yeeno gamba nti  obumenyi bwamateeka bubadde bususse mu kitundu kino, kale kwekusalawo okukola ekikwekweto nga kino. Ono agamba nti kyebazaako kwekusengejja abakwatiddwa, abanasangibwa nga…

Read More

Abalunzi aba Turkan emitwalo musanvu badukidde mu uganda.

Bya Steven Ariong.   Minister akola ku nsonga ze Karamoja Eng. John Byabagambi albudde abalunzi b’ente aba Turkana aba mu gwanga lya Kenya okwewala okuyingiranga nga balina emundu zaabwe. Byabagambi  okuvaayo okwogera bino kidiridde abalunzi okutandika okulwanagana nga e nsonga ziva kumuddo nadala mu district nga Kaabong  ne Kotido. Ono agamba nti newankubadde uganda kigikakatako okubudammya bonna abali…

Read More

President wa FDC alayira ku lwakuna.

Bya Damalie Mukhaye.   Oluvanyuma lw’ekibina kya FDC okulonda omukulembeze omugya Patrick Amuriat, ku lunaku olw’okutaano, tutegeezedwa nga entekateeeka z’okumulayiza bweziwedde era nga kwakubaawo  ku lunaku lwakuna. Kinajukirwa nti Patrick Amuriat ono yali mubaka wa Kuumi , nga ono yeyawangudde munne abadeko Gen. Mugisha Muntu  ku bitundu 57%, songa yye Muntu yafunye  41% Twogedeko n’amyuka ssabawandiisi wa FDC Harold…

Read More

Buganda ewaddeyo ebyuma byeyaguze okuddukirira ekirwadde kya Sickle cells

Bya Shamim Nateebwa Obwakabaka buwaddeyo ebyuma ebikozesebwa mu kujjanjaba endwadde ez’enjawulo naddala sickle cell oba Nalubiri eri ekitongole kya Uganda National Health Laboratory Services. Ebyuma bino byagulibwa mu nsimbi ezaava mu misinde gy’amazalibwa ga kabaka og’omulundi 62 egyali mu Lubiri e Mengo, omwaka guno. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde wano n'akubiriza abantu okusooka okwekebeza…

Read More

Omusango ogwawawabirwa abasawo kooti egugobye

Bya Ruth Anderah Kooti enkulu mu Kampala egobye omusango ogwali gwatwalibwayo ebekibiina kya Uganda Medical Union nga bawakanya ekya government okuteesa nekibiina kya Uganda Medical Association ekigamba nti kyekitaba abasawo abali mu kwekalakaasa. Bano okusinga baali bagaala kooti etekewo ekiwandiiko ekigaana bano okuteesa ne govt ku nsonga zabasawo abali mu kwekalakaasa. Kati bwabadde awa ensala ye ku msusango…

Read More

Omubaka Nambooze akomyewo mu gwanga okuva e Yindiya

Bya Ivan Ssenabulya Omubaka owa munispaali eye Mukono, Betty Nambooze akomyweo mu gwanga olwaleero okuva mu Buyindi gyetwalibwa okujanjabibwa nga bamulongosezza enkizi, eyakutuka. Nambooze ayaniriziddwa ssentebbe wekibiina kya DP mu Mukono munisipalite Haji Lukman Sseggayi, abadde akulembeddemu abawagizi okuva e Mukono nabenju yomubaka. Nambooze ayogeddeko ne banamawulire ku kisaawe Entebbe, nagamba nti waliwo essuubi waddenga tanawona naye waliwo…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play