Bya Sam Ssebuliba
Eyali amyuka wa Ssabalamuzi we gwanga, eyawumula, Leticia Mary Mukasa-Kikonyogo afudde akuwungeezi ka leero mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lwekimbe ekyamangu ekyamugwiridde.
Ono afiiride ku myaka egyobukulu 77.
Okusinziira ku Solomon Muyita omwogezi w'ekitongole ekiramuzi, Kikonyogo yadduisiddwa mu ddwaliro e Mulago ennaku ntono emabega oluvanyuma lwokusanyalala.
Alipoota zabasawo entongole tezinafuluma eziraga, kiki ekiviriddeko ono okufa.
Omugenzi…
Bya Abubaker Kirunda
Waliwo omukazi, eyali yakwatibwa ku misango gyobutemu, afunye ebissa okuzaala, mu kaddukulu ka poliisi, ngera amalirizza ngazalidde mu kalwaliro ka poliis.
Goroti Batenga omutuuze mu district ye Luuka yakwatibwa nga kigambibwa nti yalina omukono mu kutemula omusomesa.
Ono bamuleeta kupoliisi ye Jinja wabadde akumirwa, okutuusa lwazadde omwana owobuwala.
Omwogezi wa poliisi mu tundutundu lya Kiira, Dianah…
Bya Damalie Mukhaye
Abakiise mu nkiiko zekibuga Kampala, abagenda kwetaba mu musomo e Kyankwazi ogwategekeddwa minister wa Kampala Betty Kamya bagenda kubonerezebwa.
Ebibiina byobufuzi ebivuganya gavumenti byabadde bisazeewo okuzira olusirika luno, waddenga abamu balabiddwako nga bagenda.
Bwabadde ayogera ne banamwulire awo ku City Hall, Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago ategezeza nti ebibiina ababkiise bano, gyebava bibawandikidde babawe…
Bya Shamim Nateebwa
Abakulembeze mu Buganda basabiddwa okussa abavubuka ku mwanjo mu buli nteekateeka z’emikolo gy’obwakabaka okusobola okubatendeka n’okubamanyisa obuvo n’obuddo bwobwakabaka bwabwe.
Bino byogeddwa katikiiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabadde atongonza obukiiko obunateekateeka emikolo gya Buganda kwekwaffe diaspora day egy’okubaawo nga 28 mu December e Mengo.
Katikkiro ategezezza nti Ssabasajja alina abantu bangi abali emitala wamayanja…
Bya samuel ssebuliba.
Gavumenti ye gwanga lya Rwanda ekakasiza nga bweyetegese okubudamya banansi ba Libya 30,000 , nga bano babade batundibwa nga abaddu mu mambuka g’egwanga lino.
Minisita wa Rwanda akola ku nsonga z’amawanga amalala Louise Mushikiwabo, agamba nti Rwanda emanyi obulumi bw’okujonyesebwa, kale kyebavudde basalawo okuyamba abantu nga bano.
Mu gwanga lya Libya eno walabiseeyo enkola ey’okutunda …
Bya samuel ssebuliba
E Kabale agavaayo galaga nga Police bwetandise okunonyereza ku musajja agambibwa okwefuula omusawo n’atandika okukuba abantu empiso.
Akwatiddwa ategerekese nga Alex Arineitwe owe myaka 47 nga ono mutuuze we Kashakyi mu gombolola ye Bubare Rubanda district.
Okunonyereza okusooka kulaze nga omusawo ono bwabadde akozesa owa bodaboda okutabaala ebyalo nga ajanjaba abantu, kyoka ebintu okumwononekera…
Bya Shabibah Nakirigya
Omubaka we municipali ye Mukono omukyala Betty Nambooze tutegeezedwa nga bwasubirwa olunaku olwaleero okudda mu gwanga okuva mu India gy’aludde ebanga nga ajanjabirwa.
Omu kubakungu ba democratic party Elvis Kintu agamba nti Nambooze yalongosebwa enkizi, era n’awona bulungi, kale nga ekisigadde kudda waka ayongere okukikirira.
Kinajukirwa nt Nambooze ono yoomu kubabaka abaakubwa ebitagambika bwebaagezaako…
Bya Sam Ssebuliba
Police mu district ye Mpigi ezinzeeko amaka ga Nayiga Kasibante, maama woomu ku bateberzebwa okwetaba mu kitta bakulembeze babayisiraamu.
Nayiga kasibante ye maama wa Aisha Nakasibante abobuyinza gwebatereza okwetaba mu ttemu erizze likolebwa ku basiraamu songera ye nyazaala wa Dr Aggrey Kiyingi.
Poliisi eyungudde abampi nabawanvu, okuva mu kitongole ekitegulula bbomu bbomu, aba Flying squad,…
Poliisi mu district ye Moyo eriko eyali ssentebbe wolukiiko lwabazadde be ssomero lya Eremi P/S mu ggombolola ye Metu ku bigambibwa nti aliko omwana owekyomusanvu ku ssomero eryo gweyatikka olubutto.
Wabula kigambibwa nti oluvanyuma lwomwana ono okusoba, yamuwa eddagala egganda nalujjamu, ekyaviriddeko omwana okufuna ebirwadde.
Ono abadde ku poliisi ye Metu ngoluvanyuma bamujjeyo nebamwogerayo ku CPS e…
Bya Malikih Fahd
Poliisi ye Lugusulu mu district ye Sembabule etandise okunonyereza kungeri abatuuze gyebatwalidde amateeka mu ngalo nebalumba, amaka ga munaabwe nebonoona buli kyebasanze, nga byekuusa ku nkayana ze ttaka.
Abantu abatanaba kutegerekeka balumbye amaka ga Dennis Luzero nebakoona ennyumba yonna ppaka ku ttaka nebasaawa nolusuku yiika namba nomusobyo.
Wabula agamba nti abadde nenkayana ne mulirwana we…
