Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Busoga ebanja byaayo.

Bya Abubaker Kirunda.   Katikiro wa Busoga Joseph Muvawala asabye  abantu bona abali mu bintu bya Busoga mubukkyamu okubyamuka. Owek.Muvawala  agamba nti obw’akyabazinga bulina entekateeka ez’okukozesa ebintu bino, kale nga kyetaga okubyamuka bikozesebwe. Ono agamba nti eby’obugaga gamba nga obutale, etaka, emyalo ko n’ebirara bikozesebwa abantu abatalina kyebazza eri obw’akyabazinga, kale nga bano bagwana okwesegula.

Read More

Abasawo abajanjabi oba ba Nurse nabo bakwekalakaasa.

Bya Damalie Mukhaye.   Abasawo abajanjabi bayite ba NURSE  abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda nurses and midwives union tutegeezeddwa nga bwebasazeewo okuwa government nsalesale wa saawa 11 zokka ekole ku nsonga zaabwe oba sikyo bateeke wansi ebikola. Kinajukirwa nti bano baludde ebanga nga baagala government ebongeze ku musaala, nga kwogasse n’okukola ku nsonga zakasiimo kaabwe, wabula nga…

Read More

Bamufuna mpola mu kenya bakuzimbirwa amayumba.

Bya Samuel  ssebuliba.   E KENYA: omukulembeze we gwanga Uhuru Kenyatta akakasizza nga bwagenda okufuba okulaba nga ateeka omulaka ku ky’okutondawo emirimo mu naku 100 zino ezisooka. Bino okutuukibwako kidiriidde ba Minister ba Kenya bonna okwevumba akafubo ak’enyawulo okumala ebanga nebakaanye ku kyebazaako. Bano mungeri yeemu basazeewo nti mu mwezi gw’okusatu mu mwaka 2018   government yakutema evuunike ely’okuzimba amayumba…

Read More

Katikiro avumiridde ebikolwa eby’okweraguzza.

Bya samuel ssebuliba. Katikiro wa Buganda Owek.Charles Peter Mayega  akalaatidde abantu ba Buganda okukomya  emize egy’okwelaguza , nadala kundwadde ezimanyidde , kino kitaase abantu okufa endwadde eziyinza okwewakalika. Katikiro okwogera bino abadde agulawo olukiiko lwa Buganda oluggalawo omwaka guno wano  mu Bulange e Mengo. Ku nsonga edala katikiro  ajukizza Abaganda okwebulirira ku nsonga Ssabasajja Kabaka gyaazze ayogerako, nga…

Read More

Govumenti yakwewola abasawo mu Cuba ne China.

Bya Emmanuel Ayinebyona.     Government etegeezeza nga bwerina entekateeka ey’okubaako abasawo  bereeta okuva mu mawanga nga China ne Cuba abasoba mu 200 bajanjabe banna-uganda. Mukaseera kano tutegeezeddwa nti government etadewo akakiiko ak’enjawulo  nga akulirwa ,minister w’ebyobulamu Dr Jane Achieng okukola ku  nsonga eno  mubanga tono ddala. Akakiiko kano kasubira okulambika emirimo gy’abasawoo bano abagenda okuletebwa,obukugu obubeetagibwamu,kko n’engeri gyebagenda okukolaganamu…

Read More

Muntu asomozza ne Amuriat nasubizza

Bya Damalie Mukhaye Presidenti wekibiina kya FDC omugya Patric Amuriat  Oboi asubizza nga bwagenda okunyweza ekibiina kya FDC bumu. Ategezeza nti alina enteakteka ezokutabaganya bana-kibiina abekutuddemu mu kaseera kano, nga waliwo nabatali bamativu olwebyo ebyava mu kulonda. Bino byebimu ku bibadde ebigambo bye, bwabadde yakalayira, nga presidenti wekibiina, okudda mu bigere bya Gen Muntu, omukolo ogubadde ku wosiis…

Read More

Amuriat alayidde olwaleero

Bya Dmalie Mukhaye Presidenti wekibiina kya FDC omugya Patrick Amuriat Oboi akubye ebirayiro byue olwaleero mu butongole. Amuriat alayidde wamu nabakulembeze bekibiina abagya abalondeddwa, omukulo ogukulembeddwamu munnamateeka Ladislous Rwakafuuzi ku kitebbe kyekibiina e Najanankumbi. Guno gwemulundi ogwokubiri, ono okulayira oluvanyuma lwokusazaamu ekirayiro kyeyasooka okukuba nga yakalondebwa e Namboole, olwamateeka agatagobererwa. Abalala abalayidde kliko Francis Mwikyukye nga ye muwanika omugya,…

Read More

Omuvuba asse kitaawe lwa ttaka

Bya Malikh Fahad Entiisa ebutikidde abatuuze mu ggombolola ye Kiseeka mu district ye Lwengo, omuvubuka owemyaka 18 bwakidde kitaawe namutta. Omugenzi ye Peter Katongole owemyaka 43, ngabadde mutuuze we Kyasonko mu gombolola yeemu. Omuvubuka ono poliisi emumenye nga John Ssemujju, nga bakaksizza nti  abali mu taano era wakuvunanwa. Okunonyereza kwa poliisi kulaga nti ono yakubye kitaawe akakumbi ku mutwe…

Read More

Emikolo gyo’kulayiza Amuriat gitandise

Bya Damalie Mukhaye Emikolo  egyokulayiza presidenti wekibiina kya FDC omugya Patrick Amuriat gitandise wali ku wofiisi zekibiina e Najjanakumbi. Abangenyi abayite nabawagizi bekibiina batandiose dda okweyiwa ku wofiisi zekibiina, okubaawo ngabasaale ku mukolo guno. Amuriat yalondebwa nga president wekibiina omugya ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, mu lutuula lwabakulembeze bekibiina e Namboole, okudda mu bigere bya Gen Mugisha Muntu. Okusinziira…

Read More

Ba nakyewa bagamba nti eddagala lya ssiriimu terimala

Bya Moses Ndaye Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunnaku lwa ssiriimu olwaleero, ministry yebyobulamu ekakasizza okwongera okubunyisa eddagala eriweweeza ku kawuka ka mukenenya okwetoola egwanga. Abalwadde bakawuka mukibiina kyobwanakyewa Uganda Cares bino webijidde nga balajana olwe ddagala eriweweeza ku kawuka lyebagamba nti lyafuuka lya kekwa. Wabula akulira ebyokulwanyisa mukenenya mu ministry yebyobulamu Joshua Musinguzi agamba nti…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play