Bya Ruth Anderah ne Ben Jumbe .
Olunaku olwaleero ba- Puliida ba government nate bazeemu okuteeka wansi ebikola, nga kino kidiridde government okulemwa okutuukiriza byeyeeyama mu naku 90 zebakaanyako.
Kinajukirwa nti bono mu july w’omwaka guno oluvanyuma lw’okwekalakaasa okumala akabanga, Minister akola ku by’amateeka Gen Kahinda Otafiire yabasisinkana n’asuubiza okukola ku nsonga zaabwe mu naku 90 zokka.
Mubimu…
Bya Sam Ssebuliba
Police ye Nsangi etandise okunonyereza kungeri omukazi ategerekese nga Nakitende fatuma nomwana we omwemyezi 3 gyeyatiddwamu emirambo nejisulibwa mu lusaalu.
Okusinziira ku poliisi emirambo gisangiddwa mu lusaalu lutobazi lwe Kazinga mu ggombolola ye Nsangi mu distrct ye Wakiso.
Lucas owoyesigire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano agambye nti okunonyereza okusoka kulaga nti bano batemuddwa,…
Bya samuel ssebuliba.
File Photo: Museveni nga ayogera
Omukulembeze we gwanga akaladde n’awera okukuuma obwetwaze bwe gwanga, kko n'emirembe uganda byeyatuukako mu mwaka 1962, kko ne mu 1986 nga NRM ewambye.
President Yoweri Kaguta Museveni okwogera bino abadde ku mikolo gy’amefuga ge gwanga egy’omulundi ogwa 55 egibadde e Bushenyi.
Ono agambye nti waliwo obukundi bw’abanabyabufuzi obugenda bulinyirira eddembe ly'abalala…
Bya Ndaye Moses.
Gavumenti ya Uganda esiimye Naggagga , Aga Khan n’omudaali ogusingayo obukulu, mu Africa ogwa, Pearl of Africa medal.
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni yawadde Aga Khan omudaali guno , wamu nebanna-uganda abalala 10
President asiimyye Aga Khan olw’enkulakulana gyagasse ku gwanga okuyita mu by’enjigiriza, ebyobulamu, eby’amawulire n’ebyobusubuzi
Abalala abasiimidwa kuliko Major General Jim Muhwezi, omugenzi…
Bya kato joseph.
Police yakutte abantu abantu 10 mu bikujuko ebya Kampala City festival ebyabadewo akawungezi akayise.
Twogedeko n’aduumira police mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa n’agamba nti abaakwatidwa bonna baggalidwa wano ku Cps era nga leero lwebagenda okusunsulibwamu, abamu batwalibwe mu kooti.
Wabula ono awakanyizza ebibadde bigambibwa nti waliwo bus 3 ezijjudde abakwate ez’atwalidwa ku Police ye Naggalama…
Ba Benjamin Jumbe
.
Olwaleero uganda lw’ejukidde nga bwegiweze emyaka 55th bukyanga efuna bwetwaze okuva mu mikono gy’abakulembeze b’amatwale mu mwaka gwali gwa 1962.
Emikolo emikulu egy’omwaka guno gitegekedwa mu district ye Bushenyi , era nga ku luno omulangira Karim Aga Khan 1V ye mugenyi omukulu.
Kuguno omukolo emidaali 10 gyoka gy’egigenda okugabibwa, era nga kuno kw’ekulI n’ogwa Pearl…
Bya Ruth Anderah
Kooti yekibu etuula ku City hall etaddewo olwanga 20th October 2017 okutandika okwulira omusango gwomuwala owemyaka 20 avunanibwa okujjamu olubuto.
Mutonyi Vickie asimbiddwa mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka, Moses Nabende wabula omusango nagwegaana.
Muntonyi yewunyisizza kooti, bwebamubuzizza kyamanyi ku lubuto lwe, ngamba nti naye tamanyi obanga akyli lubuto.
Oludda oluwaabi lugamna nti mu mwezi gwa September omwaka…
Bya Sam Ssebuliba
Nga gavumenti eri mu ketalo okukuza amefuga ge gwanga agomulundi ogwa 55th, bbo aboludda oluvuganya bakyagenda mu maaos okwogerera emikolo amafukuule.
Emikolo gyomwaka guno emitongole gigenda kukwatibwa mu distrct ye Bushenyi ku Bbalaza ya wiiki ejja.
Kati okusinziira ku nampala waboludda oluvuganya gavumenti, omubaka Semujju Nganda, Uganda ssi yetekeddwa okujaguza kubanga obwavu bweyongera buli mwaka.
Ono…
Bya Damali Mukhaye
Eyavuganyako ku bukulembeze bw'eggwanga mu kalulu aka 2016, Helton Joseph Mabiriizi awakanyizza ennogosereza mu ssemateeka akawayiro 102/b akulubiridde okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Mabirizi abadde mu lukungaana lwabannamawulire olutedde e e Mengo, nalabula bann-Uganda nti ssinga banakiriza akawayiro kano, okujibwa mu ssemateeka egwanga ligenda kuba litundidwa mu mikono gyabanakyemalira.
Wano Mabiriizi agambye nti…
Bya Shamim Nateebwa
Wabaddewo okusaba okwenajawulo okwetolola obwakabaka bwa Buganda olwaleero, mu kwetegekera amafugga ga Buganda agokubawo ku Sunday eno.
Minister webyamawulire, Owek. Noah kiyimba yakikiridde obwaka bwa Buganda mu kusaba ku muzikiti gwa old kampala nga yasomye ekiwandiiko okuva mu office ya Katikkiro wa Buganda.
Okusaba kubadde kukulembedwamu Mufti sheik Shaban Mubajje ngasabye wabeewo empisa nga bwekirambikibwa…
