Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Ebitongole bya gavumenti ebitagasa byakugattibwa.

Bya samuel ssebuliba.   Ministry ekola ku nsonga z’abakozi ba government etegeezeza nga bwegenda okutandika okulongoosa , kko n’okugatta ebimu ku bitongole bya government obutasukka November omwaka guno. Kinajukirwa nti omwaka guno omukulembeze we gwanga aliko ebaluwa gy’eyawandiika nga agamba nti ebitongole bya government nga 40 byeetaga kutunulamu bwekiba Kisoboka  bigatibwe. Twogedeko ne minister akola ku nsonga z’abakozi ba…

Read More

Okulonda kwa kenya kwongedde okutabuka.

Bya samuel ssebuliba. Agavva mu gwanga lya kenya galaga nga eby’okulonda kweno bwebyongedda okukaluba, nga kino kidiridde nate kooti enkulu mu gwanga lino okukiriza omuntu ow’okusatu okw’egatta mu lw’okano lw’obwa president. Akiriziddwa ye munna-Thirdway Alliance Ekuru Aukot,nga mukaseera kano omulamuzi wa kooti enkulu Justice John Mativo alagidde nti  ono abeere omu kwabo abagenda okuvuganya kubwa president nga…

Read More

Abavunanibwa okutta Omugenzi Kaweesi babazizaayo e Luzira

Bya Ruth Anderah Abantu abavunanibwa okumula eyali omwogezi wa poliisi Andrew F. Kaweesi basindikiddwa ku alimanda e Luzira, nga tebategedde na wa okunonyererza ku misango gyabwe wekutuuse. Omuoamuzi we ddaal erisooka mu kooti ye Nakawa, Noah Sajjabi  abasindise ku alimanda okutuusa nga October 24th  2017. Abavunanwa 20 bavunanibwa okutemula AIGP Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth  Erau nomudereza…

Read More

aba Jobless Brotherhood bawawabidde ssabworerza wa gavumenti

Bya Ivan Ssenabulya Kooti enkulu e Mukono etandise okuwulira omusango gw’abavubuka abeyita aba The Alternative Movement  abejulula okuva mu kiwendo ekya Jobless Brother Hood gwebatwalayo nga bawabira abantu abenjawulo ku misango omuli ogw’okubasiba okusukka esaawa eziri mu mateeka ku poliisi e Naggalama. Banno nga bakulebeddwamu amyuka ssentebe wabwe  Bashiri Kazibwe nabalala 10 okuli Abel Mucunguzi, Johab Agaba, Edris…

Read More

Omusomo gwabataka gutuuse

Bya Shamim Nateebwa Ba Jjajja Abataka Abakulu b'obusolya banjudde enteekateeka y'omusomo gwa-Bazzukulu baabwe ogukwata ku nnono n'obuwangwa. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Bulange e Mengo, omukubiriza w'olukiiko lw'abataka Omutaka Kayiira Gajuule ategeezezza nti bagenda kusomesa ku bintu bingi omuli; okwejjukanya ku bikwata ku buwangwa bw'aBaganda, engeri gyetuyinza okukuumamu obutonde bwensi okuyita mu buwangwa n'enno, ensengeka y'obukulembeze mu…

Read More

Aba NRM e Mukono Beyawuddemu ku Byokujikwatako

Bya Ivan Ssenabulya Aba NRM e Mukono batabukidde banabwe ku kyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Obutakanya buli wakati wa NRM abeyita aba Tugikwatako Central Region Forum , nga bano babadde bayitiddwa Sam Fredrick Bemba akuliramu kawefubwe ono wabula  balemeddwa abamu nebafuluma, abamu bwebabiwakanyizza. Bano era bakubaganye empawa abamu nga bagamba nti kino kigenda okulemesa abaana abasomye okufuna emilimu kuba…

Read More

Omujaasi asangidwa nga atembeeya masasi.

Bya samuel ssebuliba Police mu district ye Kapchorwa ekutte omusajja  nga  ono asangiddwa nga atembeeya amasasi. Akwatidwa ye Charles Cherotich owe myaka 26 nga ono asangidwa mu Kapchorwa municipality nga alina amasasi mwenda mu nsawo. Ayogerera police mu kitundu kino ekye Sebei Rogers Tayitika agamba nti  omukulu ono abategeezeza nti  mujaasi wa UPDF akolera e kasese. Ono mukaseera kano…

Read More

Omulalu okubye omwana n’amutta.

Bya Malik Fahad. E kalungu entiisa ebuutikidde abatuuze, nga kino kidiridde omulalu okukwata omuggo naakuba omwana ku mutwe okukakana nga amuse. Omwana atiddwa ye Shanitah Navuga  abadde asoma ekibiina ekya nursery. Omulalu amukubye ye Deo Lwanga nga ono amusanze amakya ga leero nga agenda ku somero. Lameck Kigozi  nga yayogerera police yeeno akaksiza ebibadewo.

Read More

Eyalaama okuziikibwa ewala atuuyanzizza abatuuze.

Bya Eriya Lugenda. E Kayunga waliwo  abatuuze ku kyaalo Kaazi abakyasiitaana okutuukiriza eddaame ly’omusajja eyalaama okuzikibwa mu ntaana ya fuuti  50. Omugenzi John Naalabilaawo yaffa ku lw’akutaano ssabbiiti ewedde yaatadde abantu kubunkenke,bweyalaama nti yye alina kuziikibwa mu ntaana mpanvu okwewala abasezi okumulya. Okusinziira ku batuuze,bano basoose nebasima fuuti munaana,kyokka empewo  nezikwaata abazukulu 4 nga alabula nti singa tebaatukirize…

Read More

Abasawo bakwekalakaasa okutandika mu November.

Bya Emma Ainebyona.   Ate bbo abasawo wansi w’ekibina kyabwe ekya Uganda Medical Association basazeewo  nti okutandika nga November 6 bagenda kuteeka wansi ebikola okutuusa nga government etukiriza by’ebasaba. Bano bakaanya nti balina okwongezebwa ku musaala, kko n’obusiimo, kale nga singa kino tekikolebwa eby’okudda ku mirimo gov’t ebiveeko. Okwekalakasa kwabano kwabadde kwakutandika kawungezi kayisse, wabula Dr Ekwaro Obuku  nga…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play