File Photo: Aba Democratic Party
Ab’ekibiina kya Democratic Party bagasse ku ekeleziya okusonda ensimbi ezigenda okukola ku kukyala kwa papa wano mu ggwanga.
Omwogezi w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakande ategezezza nga bwebasoose okuwaayo obukadde 5 n’oluvanyuma baweyo endala.
Agamba okusonda ensimbi zino kwakukolebwa mu matabi g’ebibiina byonna.
Paapa Francis asuubirwa mu ggwanga okuva nga 27 okutuuka nga 29 November …
File Photo: Ebisero aba NRM mwebaretedde foom zabwe ku kiteebe kye byokulonda
Ab’ekibiina kya NRM bazizzayo empapula z’okusunsula anabakwatira bendera ku bwapulezidenti era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Abakungu b’ekibiina bakulembeddwamu amyuka ssentebe w’ekibiina Moses kigongo wamu n’omuwanika Rose namayanja .
Bano era bazze n’emikono gy’abasembye omuntu waabwe okuva mu disitulikiti ez’enjawulo.
File Photo:Munyagwa nga tambula
Meeya we Kawempe Mubarak Munyaggwa akwatiddwa.
Munyagwa bamukwatidde ku luguudo lwa Parliamentary avenue nga akulembeddemu ekibinja ky’abavubuka nga boolekera palamenti okuwaayo ebiteeso byabwe ku nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Abavubuka bano babadde bawogganira waggulu nti awatali nongosereza teri kulonda.
Poliisi ebazindukkirizza abasinga nebabuna emiwabo.
File Photo: Kagina ngali mu lukiiko
Abakozi abawerera ddala 890 beebagobeddwa okuva mu kitongole ekikola ku by’enguudo ekya Uganda National Roads Authority.
Mu bagobeddwa kwekuli abaddukanya amawoofisi, abagula ebintu, ebali mu byempuliziganya, ba yinginiya n’abalala bonna ababadde bakola mu kitongole kino.
Kino kikoleddwa okweruula okujjawo omujiji omukadde gwebalumiriza okulya enguzi okuzzaawo abapya abagenda okuwandiisibwa
Akulira UNRA Allen Kagina agambye…
File Photo :Kabaka nga samba omupiira
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi asiimye enteekateeka wamu n’obuganda okweyiwa obungi mu kisaawe e Namboole ku mpaka z’amasaza ez’omupiira ezakamalirizo ezaaliwo ku lw’omukaaga.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa minisita w’ebyemizanyo mu Buganda Herny Ssekabembe ,Omutanda atendereza abategesi olw’okukunga abantu mu bungi okweyiwa mu kisaawe e Namboole.
Omutanda era asiimye engeri abantu gyebatuzibwamu…
File Photo: Binaisa ngali mu kooti
Mutabani w’eyaliko omukulembeze wa Uganda Godfrey Binaisa kkooti ejulirwamu emujjeko omusango gwokukabasanya omwana atanaba kwetuuka.
Francis Birungi Binaisa, abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu Augustine Nshimye be basazizzaamu ekibonerezo eky’okumusiba emyaka 12 egyali gimuweereddwa kkooti enkulu wano mu Kampala.
Binaisa yali yasingisibwa omusango gw’okukozesa omwana ow’emyaka 12, mu mwaka gwa 2012…
File Photo: Abatuuze be nga bakumyamye
Ku kyalo Bunyagangasa mu disitulikiti ye Sironko,poliisi ebakanye n’omuyiggo gwa Taata akkidde omwana ow’emyaka 5 gyokka n’amutugga ekiso okukkakkana ng’amuse.
Agavaayo galaze nga James Jiga yabadde muganzi w’omukyala maama w’omwana ono, wabula bwebaafunyeemu obutakkaanya ekiruyi n’akimalira ku mwana.
Ayogerera poliisi ya Uganda Fred Enanga atubuulidde nti omusajja ono olumaze okuzza emisango n’adduka,…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Nsangi wano mu Wakiso eriko omukyala gw’eggalidde , nga ono emulanga ku lunga butwa mu mere okukkakkana ng’abantu babiri bafudde , ssonga bana bapookya.
Akwatiddwa ye Margret Babirye omutuuze we Nsangi ku kyalo Kivu, oluvanyuma lw’okujulira abaana be bataano emmere wamu ne kitaabwe wabula bano olwamaze okulya nebatandiika okusesema…
Kooti etaputa ssemateeka eragidde omubaka we Bukonzo East Yokasi Bihande Bwambale okwamuka palamenti era azze omusaala gwonna gw’abadde afuna.
Ono avunaanibwa kunyaga obukadde 20 ezaali ez’okukulakulanya ekitundu kye mu mwaka 2009-2010.
Tutegeezeddwa ng’abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma bwebakkaanyizza nti akageri kekiri nti kkooti ewozesa abalyake yakakasa nti Bwambale ono yalya ensimbi zino, mu kaseera…
Kyaddaaki ekibiina kya NRM kitaddewo olw’okusatu luno ng’olunaku kwebagenda okulondera abakulembeze b’ebyaalo mu gombolola ye Rubaga wano mu Kampala.
Kinajjukirwa nti okulonda kuno kwayimirizibwa oluvanyuma lw’abantu abawerako okwemulugunya ku mivuyo egyetobeka mu kulonda kwonna, era nga mu kaseera kano akalulu kakubibwa ku kitebe kya NRM ezisangibwa ku luguudo lwe Kyadondo e Nakasero.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr. Tanga…