File Photo: Mbabazi nga e Mbale
Kyaddaaki eyali ssabaminisita w’eggwanga nga kati ayagala bwa pulezidenti John Patrick Amama Mbabazi atuuse mu kibuga Mbale wakati w’okwanirizibwa namunji w’omuntu n'obukwakkulizo eri poliisi .
Poliisi eggadde enguudo bbiri ezoolekera Hotel Pretoria Mbabazi gy’asuubirwa okusisinkana mu bakakuyege be.
Enguudo zino kuliko olwa Republic Street n’olwa Naboa zonna nga ziri mu tawuni ye…
File Photo : Mao ngali mulukumwana
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao azizzaayo empapula z’okwesimbawo ku bwapulezidenti ku tikiti y’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa the Democratic alliance .
Mao abadde awerekeddwaako ssabawandiisi w'ekibiina Mathias Nsubuga n'omubaka Isa Kikungwe.
Azze akwataganye n'enkumbi ng'akabonero akalaga nti wa DP era nga ng'ono gy'ayagala okukiikirira mu lwokaano lw'okukwata Bendera y'abavuganya…
File Photo: Laddu esse abantu mu Buyindi
Laddu esse abantu 32 mu ggwanga lya Buyindi.
Enjego eno ebadde mu masaza okuli Andhra Pradesh ne Orissa.
Abasinga laddu eno ebakubidde mu nnimiro oluvanyuma lw’enkuba okubasanga nga balima.
Mu biseera by’enkuba laddu zikuba nyo abantu mu ggwanga lya Buyindi.
Yo gavumenti eyongedde okulabula abantu mu bitundu ebitali bimu okwegendereza enyo mu biseera…
File Photo: Abaana nga bazanyira munkuba
Abatuuze mu disitulikiti ye Agago basigadde bafumbya miyagi oluvanyuma lwa namutikkwa w’enkuba okuleka nga asudde amayumba agasinga.
Enkuba eno era esanyizzawo ennimiro z’entungo, omuwemba, ensuku z’amatooke n’ebirime ebirala mu gombolola ye Parabongo .
Ssentebe w’egombolola eno Augustine Oryem ategezezza nga yiiki z’ebirimu ezisoba mu 400 bwezononeddwa.
Oryemu agamba bakyatekateka alipoota ku bibamba bino…
File Photo: Bus nga efunye akabenje
Abantu 18 banyiga biwundu mu ddwaliro lye Lacor oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje ka baasi mu gombolola Minakulu mu disitulikiti ya Oyam.
Akabenje kano kaagudde ku luguudo oluva e Gulu okudda e Kamdini baasi ya kampuni ya Victory namba UAT 596H ebadde edda e Juba bw’eseredde n’eva ku luguudo neyevulungula.
Aduumira poliisi mu…
Nga olusoma olwokusatu luguddewo mu butongole olwaleero bingi ebitanaterera.
Mu disitulikiti ye Kamuli abamu ku bakulu b’amasomero gabyesibye olwa gavumenti okulemererwa okubawereza ensimbi zabonna basome.
Ssentebe w’abakulu b’amasomero mu disitulikiti eno Godfrey Samanya agamba amasomero agasinga tegalina bikozesebwa.
Ategeezezza nga abatunda ebikozesebwa nga empapula nabo bwebaganye okubawola kubanga bakyababanja ez’emabega.
Bbo abazadde bakyatwala abayizi ku masomero naye olubasaba ku…
Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga General Aronda Nyakairima akakasizza bannayuganda nga eggwanga bweritayinza kugwamu butabanguko mu biseera by’okulonda omwaka ogujja.
Nyakairima era alabudde emikutu gy’amawulire okukomya okusasanya amawulire g’obunkenke mu bannayuganda nga gitgeeza nga okulonda okujja bwekugenda okubeeramu ebirumira.
Agamba ebitongole ebikuuma ddembe byetegese bulungi kale nga mpaawo ayinza kutabangula ggwanga.
Bino Nyakairima y’abyogedde atongoza okugaba endagamuntu mu bitundu…
Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala gavumenti yesonyiyire ddala eby’okugaba ettaka ly’ebyobulimi bw’eggwanga erye Namulonge.
Ettaka lino lyali lyawebwa nagagga Sudhir Ruparelia alimireko ebimuli.
Akulira ekibiina ekirwanyisa obukenuzi ekya anti-corruption coalition Uganda nga ono ye Cissy Kagaba agamba ettaka lino lyankizo nyo mu by’okunonyerezeza ku by’obulimi mu ggwanga.
Kagaba agamba singa ligabibwa eby’obulimi byakukosebwa nyo sso nga biwa…
File photo: Omutti gwe ebinaazi
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni atabukidde abantu bonna abagezaako okuwakanya enteekateeka y’okulima ebinazi mu disitulikiti ye Kalangala n’ategeeza nga bwebasaana okukubwa amasasi .
Museveni okwogera bino abadde ku Kisaawe e Kibanga mu kwogerako eri abantu abenjawulo abaabadde bakungaanye oluvanyuma lw’okutongoza emirimu egikoleddwa mu disitulikiti eno omuli amasanyalaze, amazzi, enguudo , ebidyeeri ebikoleddwa ekitongole…
File Photo: A member ba NRM
Akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya NRM olwaleero lwekatandika okutegeka akamyufu kaba ssentebe b’ebyalo, abantu ab’ekikula ekyenjawulo ssaako n’abakulembeze b’ebyalo.
Okulonda kuno kwalina okukwatibwa olw'okutaano oluwedde wabula olw’ebyensimbi okukaluba nekwongezebwayo okutuusa olwaleero.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina Dr Tanga Odoi agamba okulonda kwakutandikira mu bitundu by’e Karamoja ate ku lwokusatu bajje mu Kampala.
Tanga agamba baalonze…