File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono
Paapa Francis alangiridde enteekateeka z’okulagayaamu ku mateeka agagobererwa ku kukkiriza abagattiddwa okuddamu okuwasa oba okufumbirwa ssinga badduka mu bufumbo.
Mu kadde kano, eklezia tekkiriza bafumbo kwawukana nga balina kuba bonna okutuuka kufa mu mbeera zonna
Kati ssinga abafumbo bombi basaba okugattululwa, kijja nga kubaawo
Kyokka ssinga omu ku bafumbo bano addamu…
Okulonda kw’abakulembeze ba NRM ku byalo wali ku Old Kampala kugudde butaka.
Kino kiddiridde abalonzi wamu n’abesimbyewo okwekengera enkalala z’abalonzi ezizze nga tekuli bufananayi bw’abalonzi.
Abakakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina basazewo abalonzi bawandike amanya g’abo bebaagala okulonda ku bupapula ekiwakanyiziddwa mbagirawo.
Mu nteekateeka eno atamanyi kuwandiika abadde wakuyambibwako wabula abalonzi nebategeeza nga bweruli olukujjukujju okubba obululu
Mungeri yeemu abatuuze ku kyalo…
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao kyaddaaki afulumizza enteekateeka ye ey’okwebuuza ku balonzi .
Mao agenda kuba ng’akuyega abantu okumuwagira okukwata bendera y’omukago gw’abavuganya ogwa The Democratic Alliance.
Omwogezi wa DP Kenneth Paul Kakande agamba nti Mao wakutandikira Masaka olwo ayolekere disitulikiti ye Gulu.
Eyali ssentebe wa SC Villa Chris Mubiru bamusingizizza omusango gw'okulya ebisiyaga.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza y’asingisizza Mubiru omusango guno oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi obwaleetebwa abajulizi nga bumulumika okuvuga empanka.
Omu ku baagwa ku kyokya Emmanuel Nyanzi yoomu ku baawa obujulizi.
Nabwekityo omulamuzi asazizzaamu okweyimirirwa kwa Mubiru n’amusindika ku meere e Luzira okutuusa nga 18 September…
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde wali ku luguudo lwa queens way.
Akabenje kano kavudde ku mmotoka ey’ekika kya super custom eremeredde omugoba waayo n’etomera omuti n’etta abantu 2 ku basatu ababadde okumpi.
Abamu ku berabiddeko n’agaabwe bategezezza nga dereva w’emmotoka eno bw’abadde agezaako okutaasa ow’ebigere abadde asala oluguudo wabula emmotoka n’emulemerera.
Wabula ye atwala poliisi ye Katwe …
Eyali ssentebe wa VIlla Chris Mubiru bamusingizizza omusango gw'okulya ebisiyaga.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza y’asingisizza Mubiru omusango guno oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi obwaleteebwa abajulizi nga bumulumika okuvuga empanka.
File Photo: Abawagizi ba NRM
Ba memba b’ekibiina kya NRM ku byalo okuli Nakahuka, Mukitoma, Butanda ne Kanyinya mu disitulikiti ye Kyenjojo batabukidde omuwandiisi we gombolola lwa manya gaabwe kubula ku nkalala n’obutawebwa bululu.
Bano balumiriza omuwandiisi ono okusangula amanya gaabwe mu bugenderevu wabula omuwandiisi Clovis Birungi byonna abyeganye.
Ategezezza nga abatuuze bwebavudde mu mbeera lwakutuuka ewalonderwa ku…
File Photo: Abo luuda oluvugamya nga batudde
Ab’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance bakutuula olwaleero bateese ku nteekateeka egenda okugobererwa mu kalulu ka 2016.
Okusinziira ku nsonda ezesigika olusirika luno lwakwetabwamu ba ssenkaggale b’ebibiina, abakulembeze b’ebisinde ebyenjawulo ssaako n’abakulembeze abalala okwongera okuteesa ku nsonga y’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Omukago mu kiseera kino gwetemyemu nga abamu nga…
File Photo: Mbabazi ngali nabawagizibe
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi olwaleero wakugenda mu maaso n’enteekateekaze ez’okwebuuza ku balonzi ng'ayolekedde Kapchorwa
Olunaku olw’eggulo Mbabazi yayuugumizza Mbale era yakubye olukungaana gaggadde ku kisaawe kya Cricket ewabadde namungi w’omuntu.
Omwogezi wa Mbabazi Josephine Nkangi ategeezezza nga mukama we bw’agenda okukuba olukungaana ku kisaawe kye Booma e Kapchorwa.
Nkangi agamba obuwagizi obwalagiddwa Mbabazi…
File Photo :Museveni ngayogerako eli abantu
Pulezidenti Museveni kyadaaki alonze abalamazi mu kooti ey’okuntikko n’eyo ejulirwaamu
Abalamuzi abasindikiddwa mu kkooti ey’okuntikko kuliko e Augustine Nshimye, Faith Mwondha, Hon. Opio Aweri, Eldad Mwangusya ne Prof. Lillian Tibatemwa nga bano bonna bajjiddwa mu kkooti ey’okuntikko.
Omulamuzi Alphose Owiny Dollo abadde akola ku misango gy’abatujju abagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010…