File Photo: Sekikuubo nga layiira
Omubaka we Lwemiyaga Theodore Ssekikubo aweze okulwanyisa obulyake mu mu kibiina kye ekya NRM.
Ssekikubo okwogera bino abyogeredde ku mukolo gw’okumwaniriza okudda mu kibiina kya NRM ogwabadde mu katawuni ke Ntusi mu disitulikiti ye Ssembabule.
Ssekikubo agamba ekibiina kya NRM okusigala nga kyamaanyi kilina okuleka bamemba okwanja abavumaganya ekibiina n’okubaleka okwogera ku bitagenda…
File Photo : Eyali sabaminisita we gwanga
Akakiiko k’ebyokulonda kazzemu okulabula abo bonna abesimbyewo ku bwapulezidenti okwewalira ddala okukuba kampeyini nga obudde obwessalira tebunatuuka.
Okuddamu okulabula nga eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi kyajje alemesebwe okukuba enkungaana e Jinja ne Soroti wiiki eno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga gyebuvuddeko y’ategezezza nga Mbabazi bweyabadde alina kwebuuza ku balonzi…
File Photo: bana kibiina kya FDC ngali mu tabamiruka
Abakulembera ekibiina kya FDC batuuse ku kitebe ky’ekibiina okwongera okuteea ku nsonga y’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Ekibiina kyetemyemu ku nsonga y’enongosereza zino nga eyali ssenkaggale w’ekibiina Dr Kiiza Besigye ayagala basooke kukola ku nongosereza zino nga tebanagenda mu kulonda sso nga ye ssenkaggale w’ekibiina Maj Gen Mugisha Muntu…
Akakiiko akalondesa kagaala abakozi baako baweebwe akakisa okulonda ng’okulonda kwa wamu tekunnatuuka.
Akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agamba nti mu ngeri yeemu n’abasawo balina okuweebwa omukisa okulonda kubanga ddembe lyaabwe
Kiggundu agamba nti bakola dda okusaba kwaabwe mu mwaka gwa 2005 kyokka nga tebaddibwangamu.
Ono abadde atongoze ekibinja ky’abantu abagenda okulondoola okulonda ng’abasinga bannakyewa
File Photo : Omugenzi Johhn
Omuvubuka Ivan Kamyuka agambibwa okutta munne Johnnie Ahimbisibwe mu baala ya Guvna omusango gwe gusindikiddwa mu kkooti enkulu.
Empapula ezongerayo Kamyuka zileteddwa omuwabi wa gavumenti Joyce Anyango n’aziwa omulamuzi w’eddaala erisooka Christine Nantege .
Obujulizi obwakaletebwa ku musango guno bulaga nga mukyala wa Kamyuka Nina Nyaraka n’omugenzi Johnnie bwebalina omwana .
Ku lunaku Johnie…
File Photo: Abaana nga bagabana emere
Abantu 5 bebakafa enjala omwezi oguwedde mu disitulikiti ye Moroto.
Kino kibikuddwa ssentebe w’ekyalo Kambisi Haji Pamita.
Abagenzi abamenye nga Mary Loumo, Alemus, Paul Lote, Anna Nakoroi, Tereza Akolong ne John Lomuria.
Pamita agamba abalala bangi banatera okutondoka mu mayumba gaabwe mwebefunyidde.
Ye ssentebe w’ekitundu kye Campshwaili chini Haji Akida Lokure ategezezza nga abatuuze…
File Photo: Akulira baloya ba Mbabazi
Ab’enkambi y’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bafulumizza ekiwandiiko ekiraga nga bwewaliwo olukwe lw’okutta omuntu waabwe.
Ekiwandiiko kino kifulumiziddwa munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema n’akulira ebyamawulire Josephine Nkangi era bategeezezza nga bwewaliwo abayaaye abefudde abaziyiza emisango ba crime preventers abaliwo okugotanya enkungaana za Mbabazi n’okumutusaako obulabe.
Kati bano basabye poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe…
File Photo : Mbabazi nga yogeera
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi aweze okugenda mu maaso n’olukungaana lwe olw’e Jinja.
Kiddiridde omuwandiisi wa distulikiti okuyisa ekiragiro ekiyimiriza olukungaana lw’alina okukuba e Kakindu.
Ono agamba ekisaawe ky’e Kakindu poliisi yakyesooka okutendekeramu abaserikale baayo sso nga ewalala mu kitundu kye Kazimingi abatuuze abaliranyewo tebagala kubatataganya.
Poliisi eweze okulinya eggere mu nkungaana zonna…
File Photo: Ekizimbe nga ki bulidde mu mazzi e'Japan
Abatuuze mu ggwanga lya Japan emitima gibewanise oluvanyuma lw’amataba okukwata olunaku olwokubiri nga gagoya ebitundu ebyenjawulo olw’omuyaga gwa Typhoon Etau okuddamu okukunta.
Gavumenti kati eragidde abali mu bitundu omuli amataba okwamuka amaka gaabwe olw’okutya nti essaawa yonna ettaka lyakubumbulukuka.
Omuntu omu y’akyabuze oluvanyuma lw’okwerebwa amataba gano.
Bbo abantu 15 balumiziddwa…
File Photo: Baddereva ba Taxi mu lukunmwana
Abagoba ba taxi ku stage ye Kasubi ne Kawempe bawanjagidde ekitongole kya KCCA okuvaayo mubwangu babafunire gyebaba bakolera basobore okuganyulwa mulimu gwabwe.
Bano abasangidwa mu paaka ya Namaiba bagamba KCCA yabagoba mu paaka nebasula mu paakaya Namirembe kyokka nga nabaliyo nabob babagobye mukulwanagaana okwalesse banabwe nga banyiga biwundu.
Abadereva bagaseeko nti…