Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Abavuganya bakyalina olugendo

File Photo: Abo mukago gwa TDA ngabali mu kutuula lwa bwe Omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti gukyalina olugendo luwanvu nyo okulangirira anabakwatira bendera mu kulonda kwa pulezidenti omwaka ogujja. Olunaku olw’eggulo ensisinkano wakatai w’abakulira omukago guno n’abakwatidde ebibiina ebyenjawulo bendera teyavuddemu kalungi. Ensisinkano eyolunaku olulamba batesezza ku byakuteekawo akakiiko akanatunula mu kwemulugunya kwa loodi meeya Eria Lukwago olw’ekisinde kye…

Read More

Byandaala ali mu kkooti

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo Minisita atalina mulimu gwankalakalira Eng. Abraham Byandala wakulabikako mu kkooti olwaleero bamusomere emisango gy’obufere. Kigambibwa nti omusango guno y’aguzza nga akyali minisita w’ebyenguudo. Byandala n’abaali abakungu b’ekitongole ky’ebyenguudo bakulabikako mu kkooti ewozesa abakenuzi mu maaso g’omulamuzi Julius Borore okumanya wa okunonyereza wekutuuse ku musango gwabwe. Emisango emirala kuliko okukozesa obubi ofiisi…

Read More

Asse mukyala we lwa kaboozi

File Photo: Fred Enanga asooka nga wandiika Omusajja asse mukyala we ng’amulanga kumumma kaboozi. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga omukwate amumenye David Kotosi omutuuze ku kyaalo ekimanyiddwa nga green pasture e Mbale. Enanga agamba nti omusajja ono mukyala we amusanze mu kiyungu n’amusaba akaboozi ky’agaanye n’abaka akambe akabadde okumpi. Ono wakuggulwaako misango gya ttemu

Read More

Omulambo gwa Aronda gukomezebwawo lwa kusatu

File Photo:Aronda ngali na bawandisa endaga muntu Pulezidenti Museveni agamba nti bakukola kyonna ekisoboka okumanya ekituufu ekyasse abadde minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga gen Aronda Nyakairima Bw’abadde akyaliddeko ab’enyumba y’omugenzi, pulezidenti agambye nti gavumenti yatandise dda ku ddimu lino yadde nga tekijja kuzza bulamu bwe. Agambye nti ekirungi nti Gen Aronda yabadde n’abantu abalala bana abagenda okuyambako okunyonyola…

Read More

Mulekere awo samwasamwaku Aronda- Kaihura

Gavumenti esabye abantu okusigala nga bakkakkamu nga bw’enonyereza ku kufa kw’omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Aronda Nyakarima. Kino kizze wakati mu biyitingana nti Gen Aronda yandiba nga yattiddwa. Gen Kaihura agamba nti kano kaseera kakukungubaga sso ssi kusonga nnwe mu bantu. Bbo abantu bakyagenda mu maaso n’okukungubagira Aronda bangi gwebogerako ng’omusirise kyokka ng’abadde mukozi. Ababaka aboogeddeko naffe bagamba nti Aronda…

Read More

Abe Kibaale babanja

Abatuuze be Kibaale ne Kasese bagumbye ku kooti enkulu, nga bagamba nti okuvaawo nga gavumenti  emaze kubaliyirira. Bano abasoba mu 500  bagamba nti baagobwa mu kibira ekigambibwa okubeera ekya gavumenti kale nga beetaga okubaliyirira  obukadde obusukka mu 300 Bano bagamba nti  gavumenti yali yabasuubiza okubawa obukadde 12 buli maka,wabula nga na guno gujwa nakaakano mpaawo nusu gyebali…

Read More

Bannamateeka n’abalondesa basibaganye enkalu

Akakiiko k’ebyokulonda kakalambidde nekategeeza nga bwewatali Muntu agenda kukkirizibwa kukuba nkungaana , okujjako ng’amaze okukakasibwa. Bino byogeddwa akulira akakiiko k’eby’okulonda Eng Badru Kiggundu bw’abadde awayaamu n’abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti ku kitebe ky’ekibiina kino. Kiggundu agambye nti abeesimbyewo baakima bukimi mpapula eziraga nti bagenda kuvuganya kale nga mpaawo yaabakakasizza. Ono agamba nti etteeka erifuga okulondebwa kw’omukulembeze w’eggwanga terimanyi…

Read More

Teri muntu yenna kukuba kampeyini- abalondesa

Akakiiko k’ebyokulonda kakiggumizza nga bwewatali Muntu yenna akkirizibwa okukuba enkungana , okujjako nga amaze okususunsulwamu nakakasibwa mukakiiko kano nti egenda kuvuganya. Bino byogedwa akulira akakiiko k'eby’okulonda Eng Badru Kiggundu bw'abadde awayaamu n'abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti ku kitebe kyekibiina kino. Kiggundu agambye nti abantu bonna kaakakano abeeyita abagenda okuvuganya baakima bukimi mpapaula, mpaawo yaabakakasizza, kale nga kimenya…

Read More

Gen Aronda afudde

Abadde minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen. Aronda Nyakairima afudde. Aronda afiiridde ku kisaawe e Dubai nga yakava e South Korea ng’abadde n’emyaka 56. Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategeezezza nti Gen Aronda afiiridde ku kisaawe e Dubai nga yakava mu South Korea era ng'abadde alinda nyonyi ndala. Yye Sipiika wa Palamenti omukyala Rebecca Kadaga agambye…

Read More