Eyali ssabaminista w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi kyaddaaki yegasse ku mukago gw’abavuganya ogwa Democratic Alliance
Kiddiridde okussa emikono ku ndagaano emukkiriza okukolagana na bano.
Mbabazi yakulembedde kibinja kyeyatuumye Go Forward era olw'amaze okussa omukono ku ndagaano n’akwasibwa foomu ezimukkiriza okuyingira olwokaano lw’okulonda anaakwata bendera.
Ababaddewo nga bino bigenda mu maaso kuliko Wasswa Biriggwa, Asuman Basalirwa, Zac Niringiye n’abalala…
Abantu abawerera ddala 107 beebafudde n’abalala 230 nebalumizibwa ekimotoka kiwetiiye bwekikutuseeko ekikono nekigwa wakati mu bakkirizza e Mecca mu Saudi Arabia.
Ekikono kino kigudde wakati mu muzikiti ogusinga obunene mu nsi yonna era kino kibaddewo mu kusaala kwa Juma
Akulira ensonga z’ebyokwerinda mu Saudi Arabia ategeezezza nti omuyaga ogwmaanyi ogujjidde mu nkuba gwekuzadde ebizibu.
Kino kizze nga abayisiraamu…
File Photo: Lukwago ngali mulukumwana
Abantu basatu beebalumiziddwa mu kavuvungano akabaddewo nga poliisi esattulula olukungaana olukubiddwa loodimeeya Erias Lukwago.
Olukiiko luno lukubiddwa ab’ekisinde kya Truth and Justice e Buwama.
Luno lubadde lwetabiddwaako ababaka okubadde Moses Kasibante ne Muwanga Kivumbi
Wabula bano poliisi tebaganyizza kwogerako eri abantu omukka ogubalagala negulamula
File Photo: Palamenti nga eli mulutuula
Akakiiko ka palamenti akasunsula abalondeddwa, kakutuula ku bbalaza okusunsula abalamuzi abaalondebwa mu kooti ensukkulumu n’eyo ejulirwaamu.
Akakiiko kano era kakusunsula abakungu abatuula ku lukiiko lw’amafuta, n’ekitongole kirondoola ensimbi.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omuwandiisi wa palamenti, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde abantu bano basunsulwe mangu ddala.
Abalamuzi abagenda okusunsulwa kuliko Augustine Nshimye, Faith Mwondha,…
File Photo: Abawala abakwakibwa nga bakukusibwa
Abawala abasoba mu 20 beebanunuddwa okuva ku bantu ababadde babatwala okukola e Dubai ng’abakozi b’awaka
Bano babakwatidde mu distulikiti ye Kumi.
Abawala bano bataasiddwa poliisi nga nakati bakyaali ku poliisi ye Kumi.
Aduumira eggye ezzibizi mu bitundu bye Teso Maj. Robert Opolot agambye nti abawala bano babadde basuubuziddwa omusaala gwa mitwalo 25 buli…
File Photo: Besigye nga ayogeera
Agenda okukwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa pulezidenti omwaka ogujja Dr Kiiza Besigye ategezezza nga bwebatagenda kuzira kulonda kwa 2016.
Wabula Besigye ategezezza nga bwebagenda okugenda mu maaso n’okubanja ennongosereza mu mateeka g’ebyokulonda
Ekibiina kya FDC kibadde kyetemyemu ku nsonga y’enongosereza zino ng’eyali ssenkaggale w’ekibiina Dr Kiiza Besigye ayagala basooke kukola…
File Photo:Nakiwala Kiyingi ngali ne kabaka
Ab’ekibiina kya DP bamalirizza kamyufu k’omubaka omukyala owa distulikiti ye Kampala .
Eyali minisita wa ssabasajja akola ku nsonga z’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi y’agenda okukwata bendera ya DP mu mwaka 2016
Bino bituukiddwaako mu ttabamiruka w’abanna DP mu Kampala.
Nakiwala afunye obululu 41, nekuddako Stella Kiryowa Mukama afunye obululu 17 ate Shifra Lukwago…
File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be
Eyali ssabaminisita amama Mbabazi alina lwaleero lwokka okuzzaayo foomu z’okwesimbawo okuvuganya mu mukago gw’abavuganya obwa the Democratic Alliance
Nsalessale yabadde wa jjo kyokka olw’okuba nti Mbabazi yabadde mu ntalo e jjinja kale obudde nebuyita
Mbabazi ne Dr Kiiza Besigye basoose mu kafubo wali ku wofiisi z’omukago…
File Photo: Ekizimbe nga ki bulidde mu mazzi e'Japan
Abaddukirize bakyagenda mu maaso n’okunonya bakawonawo mu bitundu bye Ibaraki ne Tochigi oluvanyuma lw’amataba agagoyuezza eggwanga lya Japan.
Omuntu omu akakasiddwa nti yeyakafa oluvanyuma lw’ettaka okubumbulukuka mu kibuga kye Kanuma mu Tochigi.
Bbo abantu 22 bakyabuze oluvanyuma lw’omugga Kinugawa kumbi n’ekibuge kye Joso okubooga amataba negeera emmotoka n’okusanyawo amaka…
File Photo: Omusajja nga asindika ekigaali kye bikajjo
Abakozi mu bikajjo bya Metha e Buikwe balayidde nti bakulonda abakulembeze abanakwata ku nsonga ezibaluma.
Bagamba basasulwa bubi atenga ettaka lyabwe balibatwala mu mankwetu, naye gavumenti mpaawo
kyekoze okubayamba.
Bino byebigambo byebategeeza banabyabufuzi
abatalaga eno nga babanonyamu obululu nti atabitunulemu teri kalulu.
Kidiridde Dr. Lugudde Nabatanzi okutalaaga mu bitundu bye Bikajjo ngasaba abeeno…